TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Musisi akwasizza Katikkiro ettoffaali lya bukadde 14: Lukwago agaaniddwa okuyingira City Hall

Musisi akwasizza Katikkiro ettoffaali lya bukadde 14: Lukwago agaaniddwa okuyingira City Hall

Added 2nd April 2015

DAYIREKITA wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula akyazizza Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku City Hall n'amukwasa ettofaali lya bukadde 14 n'ekitundu wakati mu by'okwerinda eby'amaanyi.

BYA HANNINGTON NKALUBO

DAYIREKITA wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula akyazizza Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku City Hall n'amukwasa ettofaali lya bukadde 14 n'ekitundu wakati mu by'okwerinda eby'amaanyi.

Poliisi yagadde enguudo ezimu n'eyiwa n'abaserikale baayo okwebulungula ekifo kyonna okutangira Loodi meeya Erias Lukwago eyabadde azze naye okwetaba ku mukolo gwa Katikkiro ogwategekeddwa mu lugya lwa City Hall ku Lwokuna.

Afande Sam Omara eyabadde atemezeddwaako nti Lukwago ategese okwetaba ku mukolo, yalagidde mmotoka za poliisi omwabadde n'emmamba ssaako eza KCCA okuggala enguudo era Lukwago teyakkiriziddwa wadde kusemberera ggeeti ya City Hall .

Abaserikale bagaanye Loodi Meeya Erias Lukwago okutuuka awaabadde wategekeddwa KCCA okukwasa Katikkiro Mayiga ettofaali . Wano nga Lukwago eyabadde agaaniddwa okuyingira ng'ayomba.

Lukwago yabadde akyenyoola n'abaserikale , Katikkiro n'amuyitako. Yayaniriziddwa Jennifer Musisi Ssemakula wakati mu

kusindogoma kw'engoma n'okubiibya amazina okuva mu bakozi ne bakansala ku lukiiko lwa Lukwago.

Musisi yalambuzza Katikkiro Mayiga City Hall ne ofiisi ye oluvannyuma ne batuula mu weema eyabadde etimbiddwa.

Yasiimye enkolagana ennungi eriwo wakati wa Mmengo ne KCCA nga eva ku bukulembeze bwa Katikkiro obulungi naddala ku by'ettaka.

"Twassaawo emmeeza ekola obutereevu ku nsonga z'ettaka lya Mmengo era batuyambye nnyo" Musisi bwe yagambye .

N'ategeeza nti basobodde okuzimba oluguudo lwa Kabakanjagala ne balutereeza bulungi ."tukoze n'oluguudo lwa Kabaka e Banda , tuzimba enkulungo ya Kabaka eyitibwa Nantawetwa ate tuzimba n'embalaza ezissiddwa ku kizimbe kya Masengere," Musisi bwe yagambye.

Abakungu ku lukiiko olukung'aanya Ettoffaali nga bali ku City Hall.

KCCA ekyazizza Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n'emukwasa ettoffaali lya bukadde 14 n'ekitundu. Wano be bamu ku bakansala abeetabye mu mukolo guno ku City Hall mu Kampala.

Charles Peter Mayiga yasiimye Jennifer Musisi Ssemakula n'ategeeza nti akyusizza Kampala.

"Enguudo muzikoze , amataala mugataddeko, kasasiro mumuyodde kati ekibuga kiyonjo. Omuddo n'ebimuli mu bisimbye, amateeka mugakwasizza Bannakampala," Mayiga bwe yagambye.

N'ategeeza nti bingi bikyetaagisa okukola naye ndyebaza ndya tagunjula munafu. ''Twebazizza bye mukoze kubanga bingi tubiraba," Mayiga bwe yayongeddeko.

Yagambye nti KCCA erina entegeka y'okutuuma enguudo amannya mu mwaka guno kyokka n'asaba nti eziriwo enkadde zireme kukyusibwa kubanga waliwo ensonga lwaki abaaliwo baazituuma amannya ago.

KCCA ekyazizza Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n'emukwasa ettoffaali lya bukadde 14 n'ekitundu. Wano be bamu ku bakansala abeetabye mu mukolo guno ku City Hall mu Kampala. Ebifaananyi byonna bya Hannington Nkalubo

Yagambye nti n'akabonero k'ensolo eziyitibwa 'IMPALA' ezavaako erinnya Kampala basaana bakaleke ku kabonero k'ekibuga.

Omu ku bakansala Idah Nakuya yaloopedde Katikkiro nti Loodi Meeya asibiddwa ebweru era ayambe abatabaganye kyokka n'ategeeza nti ebya Lukwago byonna abimanyi tasobola kubimala kati.

Yasabye KCCA okwongera enkolagana n'abasuubuzi  n'anokolayo aba paaka empya be yayamba n'ebawa liizi era kati bakola kinnawadda. Yasabye KCCA okuyamba ne ku basuubuzi ba Shauriyaako kubanga liizi yaabwe yaggwaako, n'asaba eddizibwe buggya babongere emyaka 49.

Oluvannyuma lw'omukolo gwa okuggwa, Loodi meeya eyabadde ne Allan Ssewanyana yanenyezza abaamugaanye okwetaba ku Ttoffaali n'ategeeza nti erire aliwadeyo mu nkola y'okwerumya bw'amaze essaawa ezisoba mu ssatu ng'ayimiridde mu musana ppereketya.

 

Musisi akwasizza Katikkiro ettoffaali lya bukadde 14: Lukwago agaaniddwa okuyingira City Hall

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...

Pulogulaamu y'ebigezo bya P...

GAVUMENTI efulumizza kalenda y’amasomero. Abayizi ba P7, S4 ne S6 bwe banaddayo nga October 15, olwo UNEB etandikirewo...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo guzzeemu okutojjera

Speaker Kadaga asanyukidde ...

OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by’emizannyo olw’ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe...