TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Abanyaga abagudde ku bubenje poliisi ebakutte ne babotola ebyama: ''Emizimu gitubanja ebibbe''

Abanyaga abagudde ku bubenje poliisi ebakutte ne babotola ebyama: ''Emizimu gitubanja ebibbe''

Added 6th April 2015

POLIISI egudde ku nfo y''abanyagulula abagudde ku bubenje ku nguudo ez’enjawulo mu ggwanga ne boogera ebyama gattako n''okuwera obutaddamu kubba kuba emizimu gisusse okubabanja okubabanja omunyago.

BYA MOSES LEMISA

POLIISI egudde ku nfo y'abanyagulula abagudde ku bubenje ku nguudo ez’enjawulo mu ggwanga ne boogera ebyama gattako n'okuwera obutaddamu kubba kuba emizimu gisusse okubabanja okubabanja omunyago.

Okunyagula ababa bagudde kikolwa ekisaasaanidde eggwanga lyonna kyokka e Kawempe abavubuka baatuuka n'okwekolamu ekibiina kye baatuuma "mutusonyiwe " nga kino kirimu abavubuka abasoba 30, abamu batambulira ku boda boda ng'ennamba ziwanikiddwa wagulu tosobola kuziraba bulungi so nga abandi bakozesa bigere.

Fred Baijanebera, omusirikale w'eggye ezzibizi, akola ku kunooyereza mu ofiisi y'omubaka wa Pulezidenti e Kawempe yategeezezza nti ekibinja kino kisibuka mu Mayinja zooni nga balina ababakubira amasimu singa wabaawo akabenje akagudde mu Kawempe n'ebitundu ebirala.

Yagambye nti okusobola okuzuula ekibinja kino buli awagwa akabenje abavubuka bano babadde tebalutumirwa mwana,  nga beefuula abazze okuwa obuyambi nga beenaanise yunifoomu za Red Cross so nga ekigendererwa kyabwe kya kunyagulula abagudde ku kabenje.

Yayongeddeko nti abamu ku bavubuka bano bakolera ku mmotota za 'Kasiringi' zsiyite 'Breakdown'  ewa Kibe, abandi basiiba mu Mayinja zooni we baakuba ebibaati nga balina ne Boda Boda ze bakozesa okutuuka amangu awaba wagudde akabenje kyokka poliisi buli lw'egenda okubakwata bayita mu bituli by'amabaati ne badduka .

Wiiki ewedde waliwo akabenje akaagudde ku luguudo lwa Nothern Bypass mmotoka ekika kya Fuso nnamba UAT 987R eyabadde ettisse kasooli ng'eva Kibaale okudda e Busia bwe yaremeredde omugoba waaayo n’agikuba ekigwo , abavubuka bano baayanguye ne batandika okusomba ensawo za kasooli poliisi we yatuukiddewo n'ekwatako Ibrahim Kasibante abalala ne badduka.

Ono ye yalonkoomye banne n'ategeeza nti akabinja kalimu abantu bangi n'aggyayo ne bwiino okuzimbiddwa emboozi eno!.

 Buli awakung'aanira abadduukirize n'ababbi mwe bajjira

Ku Lwomukaaga akabenje akalala kaagudde ku luguudo lwa Mawanda takisi nnamba UAL 551N eyabadde eva e Kampala ng'edda e Kanyanya mu Kitala bwe yatuuse ku makubo agaawulamu okuli eriva ku Kaleerwe okudda e Kamwokya n’erisalamu okuva e Mulago okudda e Kyebando, teyasibyemu olwo n'ayambalagana ne loole nnamba UAH 914R eyabadde eva ku Kaleerwe ng'edda e Kamwokya ng'etisse kolansi,  abavubuka bano n'era baalabiddwaako ne batandika okwefuula abaduukirira abagudde ku kabenje kyokka nga banyaga balumiziddwa!

Emizimu gy'abantu ababbibwa giraajana

Junior Musisi, omu ku babbi ab'ekika kino yategeezezza abasirikale nti ekibiina kyabwe kimaze emyaka 3 nga tebakimanyiddwa mu bantu n'agamba nti abamu ku bannaabwe baakivuddemu nga naye kati akyabulidde olw’emizimu egimwesibyeko agiddize ebintu bye yagibbako, yagambye nti abamu ku bannaabwe baali mu kasolo group, Musisi yagambye nti basinga ku bbira ku nguudo z'omu Kampala ng'enguudo ezifuluma Kampala bakoma ku mayiro 20 zokka .

"Mwana waliwo akabenje akaagwa ku luguudo lw'e Luwero ekiro munnaffe abeera e Matuga n’atukubira essimu ne tugendayo twasanga poliisi tennatuuka ne tukyambuwa emirambo naye waliwo omulambo ogwalina ensawo omwali olubugo n'essimu kati nze naggyamu essimu ensawo ne ngisuula naye buli lwe ntekawo omutwe omuzimu gunsaba nsawo era Katonda n'amala annyamba ne gunvako, sijja kuddamu kubba mirambo.

Simanyi oli wa mawulire nze obwedda mmanyi mbulira mbega wa Poliisi! Ggwe ffala tonteeka mu mawulire nnina omukyala n'abaana era bakimanyi ndi muvuzi wa Boda Boda " Musisi bwe yategeezezza.

 

Abanyaga abagudde ku bubenje bakukkulumidde emizimu egibalumba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...