TOP

KCCA etadde obuwumbi 60 mu malwaliro gaayo

Added 8th July 2015

KCCA ebadde efubye okuddaabiriza n’okuzimba amalwaliro amapya wadde nga wakyaliwo ebyetaaga okulongoosaamu.

Bya HANNINGTON NKALUBO NE POSIANO NSIMBI

KCCA ebadde efubye okuddaabiriza n’okuzimba amalwaliro amapya wadde nga wakyaliwo ebyetaaga okulongoosaamu.

Amalwaliro ga KCCA musanvu agakola ekiseera kino gonna gaatereezebwa ne gassibweemu ebikozesebwa n’okwongerwaamu obujjanjabi obwenjawulo omuntu bw’ateekeddwa okufuniramu.

Amalala abiri okuli ery’e Kawempe ne Kiruddu gakyazimbibw era gakyusiddwa okuva ku ddaala eritandikirwako kati gazze ku ddaala erikunuukiriza eddwaaliro lya Mulago.

Kati agakola kuliko erya Kisenyi, Kitebi, Kiswa, Kisugu, Kawaala, Komamboga ne City Hall.
Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti buli lunaku bajjanjaba abalwadde 800. “Guno omuwendo munene naye bonna tubakolako.

Tusuubira ng’amalwaliro agazimbibwa okuli; Kawempe ne Kiruddu nga gawedde omuwendo gugenda kweyongera ate
n’obujjanjabi bwe tugaba bweyongere,” Kaujju bwe yagambye.

Yagasseeko nti obumu ku bujjanjabi obuli mu malwaliro gaabwe kuliko;obwabulijjo ng’omusujja, okukuula n’okutereeza amannyo mu malwaliro gaabwe gonna naddala erya Kisenyi Healthy Centre.

Okuzaazisa abakyala, okugaba ebitanda ng’omuntu ali mu mbeera mbi, okukebera n’okujjanjaba ensigo, omwana azaaliddwa nga tannaba kutuuka tumussa mu byuma ne tumubikka.

Tulina ebyuma ebikebera endwadde nga kkansa, tukebera akafuba n’okugaba obujjanjabi obutonotono. Tulina abakugu mu byendiisa y’abaana.
Tulina ebifo omusomesezebwa abavubuka n’okujjanjaba endwadde ezibakwata.Tulina ebifo omukomolerwa abaana n’abantu abakulu.

Tusomesa abafumbo ku bya kizaalagumba. Tujjanjaba amatu, ennyindo n’obulwadde obwenjawulo obukwata ebitundu
by’omubiri ebyenjawulo.

Twazzeemu enkola y’okugaba kaadi za Yellow Fever mu ssaawa ntono ng’omuntu asasudde ssente 100,000/-. Buli ddwaaliro liriko ambyulensi eyamba abalwadde.

Abalwadde nga balindirira okubakolako ku ddwaaliro lya KCCA e Kitebi.

AMALWALIRO AGAZIMBIBWA;

Kaujju yagambye eddwaaliro lya Kiruddu ne Kawempe tugenda kugaggulawo omwaka ogujja ogwa 2016 era omulimu gugenda bukwakku.

Erya Kiruddu ligenda kuba lya myaliiro 11 waggulu nga gyonna gya kujjanjabiramu balwadde. Kaujju yagambye nti ligenda kubeeramu ebitanda 170 ne badokita abatendeke obulungi nga bwe kiri e Mulago n’amalala ag’obwannannyini.

Yagambye nti Kiruddu ligenda kumalawo obukadde bwa doola 12 (mu za Uganda ezisoba mu buwumbi 39) ate ery’e Kawempe obukadde bwa doola 11 (obuwumbi 36).

Yagambye nti olw’okuddaabiriza amalwaliro n’okwongera okugagaziya, kati abalwadde bava mu bitundu bya Wakiso ebiriraanye Kampala, Mpigi, Mukono ne bagenda okufuna obujjanjabi mu malwaliro g’e Kampala.

Gye buvuddeko Pulezidenti Museveni yalambula eddwaaliro lya Kisenyi n’asiima omulimu n’ebyuma ebyassibwamu.
Abakulembeze mu Kisenyi okuli Salim Uhuru ne bassentebe ba LC okuli, Ganga Nsubuga, baategeezezza nti eddwaliro liyambye nnyo ekitundu.

“Ekifo kinyirira ate abantu bajjanjabibwa bulungi. Tusiima gavumenti era tusaba eyongere okutuyamba' Nsubuga Ganga bwe yagambye.

Leeba y’omu ddwaaliro ly’e Kitebi yagguddwaawo wiiki ewedde. Ku ddwaaliro ly’e Kiswa, Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi yayongera okuwa abasawo ebiragiro nti anaageza n’alagajjalira omulimu n’obutayamba bulungi balwadde agenda
kumusitukiramu.

Ekiragiro kino kikola ku buli ddwaaliro era kati amalwaliro ga KCCA gakola kinnawadda.
Wabula omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yagambye nti gye bakomye okuddaabiriza amalwaliro gaabwe era abalwadde okuva mu bitundu bya Kampala ne disitulikiti ez’omuliraano gye bakomye okugeeyiwamu.

Kati tukola okulaba ng’erya Kawempe ne Kiruddu gamalirizibwa embeera yeeyongere okutereera.
Gye buvuddeko, ekirwadde ky’omusujja gw’omu byenda kyalumba Bannakampala kyokka abasawo baasobola okukikolako era bonna abaakozesa amalwaliro ga KCCA mu budde nga baakalaba obulwadde bajjanjabibwa ne bawona.

Kaujju yategeezezza nti abasawo baabwe basobola okwang’anga embeera yonna eyinza okutuukawo mu malwaliro gaabwe nga tebafunye kutaataaganyizibwa.

Eddwaliro lya Kisenyi Health Centre liri wakati mu Ghetto erya lyongedde okusitula embeera y’ekitundu nga lijjanjaba obulwadde obusinga obuba buluma omuntu.

Abatuuze b’omu Kisenyi omuli Abasomaali, bannansi n’abasuubuzi ba kasooli bonna bajaganya olw’obujjanjabi bwa KCCA era bangi tebaagala abagambira ku Jennifer Musisi.

Eddwaaliro lino lyatandikwa okuzimbibwa ku mulembe gwa Ssebaggala kyokka n’atalimaliriza. Jennifer yalimalirizza era
lyaggulwawo Muky. Janet Museveni.

EBIZIBU EBIRI MU MALWALIRO
ABAMU ku bakulembeze mu kitundu omusangibwa amalwaliro gano bategeezezza nti KCCA ebadde ekoze bulungi okuddaabiriza amalwaliro gonna era gasikiriza mu ndabika y’ebizimbe naye kyannaku abasawo tebayambye kimala balwadde.

Ow’abavubuka mu Kisenyi Rabson Kijjambu yategeezezza nti abalwadde bamukubira amasimu nga bayomba.
Essaawa ziwera ennya 4:00 ez’oku makya nga tewali mulwadde yakoleddwaako.

Abasawo batuuka ku mulimu ku 4:00 ez’oku makya ate batuukira mu kutereeza bikola. Batandika
okukola ku balwadde essaawa 5:00 ez’emisana. Abamu ku balwadde kibayitirirako ne basalawo okugenda
mu malwaliro amalala. Mu Kisenyi okufuna eddagala kuba kusimba kaggo ate olumu n’otolifuna.

Ate eyali Kansala w’e Nakawa Ronald Balimwezo Nsubuga yagambye nti KCCA yakyusa nnyo endabika y’eddwaaliro lya Kiswa kyokka kati lisigazza ekizibu ky’abasawo okuba abatono ate nga n’eddagala temuli.

 

 

KCCA etadde obuwumbi 60 mu malwaliro gaayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...