
Bya Samuel Balagadde, Hannington Nkalubo, ne Ponsiano Nsimbi
KCCA agobye paaka za bbaasi ez'enjawulo wakati mu kibuga lwa butaba ku mutindo gukkirizibwa mu mateeka n'okuleeta obulippagano bw'ebidduka.
Direkita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula yawandikidde ekitongole ekikola ku bidduka ebisaabaza abantu mu ggwanga ekya Transport Licencing Board [TLB] ng'akiragira okuyimiriza obutaddamu kuwa lukusa lwonna bbaasi kukolera mu paaka wa Qualicel.
Ebbaluwa yalagidde bbaaasi zokka enkadde ezibadde zikolera mu paaka eyo ze ziba zigenda mu maaso n'okukoleramu . Musisi era yalagidde ne bbaasi zonna ezibadde zitikkira ku nguudo za Arua Park ziveewo.
Yagasseeko ne kkampuni ya Obumwe Transporters, kkampuni ya ZAWAD , Onatracom ezibadde zitikkira mu bibangirizi byazo okuvaawo.
Mu bbaluwa, Musisi era yategeezezza nti KCCA yalaga dda ebifo ebipya abagagga abalina bbaasi gye bateekeddwa okukolera n'amenya ebifo okuli; Nateete ku bbaasi eziva e Masaka , Mbalala , Mityana ne Rwanda mwe ziteekeddwa okukolera. Eziva ku luguudo lw'e Bombo yaziragidde zikome Matugga ne Bwaise. Eziva ku Luguudo lwa Jinja Road , yalagidde zikome Banda.
John Mutenda ssentebe wa TLB mu lukiiko lwa banannyini bbaasi olwatudde ku ofiisi z'ekitongole ky'ebyenguudo mu ggwanga ekya UNRA e Nakawa ku Lwokusatu yagambye nti okuggala ppaaka zino kikoleddwa lwa bulungi bwa basaabaze.
“Twakola okulambula kwa paaka za bbaasi zonna mu Kampala ne tukizuula ng'ezimu tezirana kabuyonjo, eby'obulamu n'ebyokwerinda nga biri mu lusuubo, teziriiko mataala , ebifo abasaabaze we batuula nga n'endala zassibwa mu bifo ebikyamu,” Mutenda bwe yagambye.
Kyokka bannannyini bbaasi baalaze okutya nti KCCA yazuukuse buzuukusi okubawa ekiragiro ekibagoba mu paaka mwebakolera nga tebawadde budde bumala .
“Twetaaga obudde obumala okusobola okunoonya gye tulaga, KCCA gy'etusindika teriiyo ttaka kwetugenda kukolera, “ Jaseph Masinde oMu ku bannannyini bbaasi abeetabye mu lukiiko bwe yagambye.
Ye omugagga Drake Lubega, nnannyini paaka ya Qualicel yagagambye nti tebawakanya KCCA naye baagala kubalaga ebifo ebituufu gye baba bagula okuzimba paaka kuba ssente ssi nsonga, bazirina.
“Tubadde tumanyi nti byetukola KCCA ebisiimu naddala mu kiyamba eggwanga mu by'entambula naye nga bwesazeewo , ffe tetuli bamenyi ba mateeka ettaka tugenda kukikoleramu birala,' Lubega bweyagambye.
KCCA eweze paaka za bbaasi mu Kampala