TOP

Museveni asonyiye aba takisi emisango gya KCCA

Added 6th October 2015

PULEZIDENTI Museveni awadde aba takisi mu Kampala obukadde 200 n’abasonyiwa n’emisango gy’ebidduka egyabaggulwako KCCA ne Poliisi era n’alagira n’okuyimbula abasibe abaggalirwa e Luzira n’amakomera ag’enjawulo olw’emisango gya takisi.

 Bya HANNINGTON NKALUBO NE JOSEPH MUTEBI

PULEZIDENTI Museveni  awadde aba takisi mu Kampala  obukadde 200 n’abasonyiwa  n’emisango gy’ebidduka egyabaggulwako KCCA  ne Poliisi era n’alagira n’okuyimbula  abasibe abaggalirwa e Luzira n’amakomera ag’enjawulo olw’emisango gya takisi.

Omukulembeze w’eggwanga era yaweze mbagirawo ssente ezibadde ziggyibwa ku ba takisi mu ppaaka ne ma kkubo gye bayita nga batikka n’okujjuzaawo abasaabaze.

Bino byabaddewo ku Ssande mu nsisinkano ya Pulezidenti  n’ebibinja by’aba takisi ebibiri  ebitalima kambugu okuli ekya  Uganda Transport Development Agency (UTRADA) ekya Musitafah Mayambala n’ekya Kampala Operational Taxi Stages Association (KOTSA) ekya Yasin Ssematimba.

Ensisinkano eno yabadde yaakubiri ng’omulundi ogwasooka, aba takisi baasisinkana Pulezidenti nga September 1, 2015 ne balema okukkiriziganya ng’ekibinja kya UTRADA kiwakanya enteekateeka za KCCA  okubasoloozaamu emitwalo 12 ate ng’ekibinja kya KOTSA kiwagira Jennifer Musisi era ebibinja byombi byatabukira mu maaso ga Pulezidenti. 

Ku Ssande nga October 4, 2015, Museveni yazzeemu okubasisinkana era mu nsisinkano eno eyabadde mu maka g’obwapulezidenti e Ntebe, buli kibinja kyakiikiriddwa abantu 50 okwawukanako n’ensisinkano eyasooka,  Mayambala bwe yatwala abantu 500 ate Sematimba n’atwala 1,300.

Ensisinkano eno yeetabyemu, omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura, omuwabuzi wa pulezidenti ku by’obutale, Winnie Twine, ssentebe wa NRM mu Lubaga, Abdul Kitatta, omubaka w’abakozi mu Palamenti, Dr. Sam Lyomoki n’abayambi ba 

Pulezidenti abalala.

Ensonda mu lukiiko luno, olwagaaniddwaamu abaamawulire, zaategeezezza nti Museveni eyabadde omukambwe teyawadde buli muntu mukisa kwogera okuggyako abakulembeze baabwe bokka era n’awera n’ebibiina by’abakozi okuddamu okweyingiza mu nsonga za takisi mu ppaaka. Yagambye baddereeva nti bino bwe binaakolebwa, teri kigenda kuddayo kutawaanya mulimu gwabwe ogwa takisi oba okulowooza okubagoba mu kibuga Kampala.

Mayambala yagambye nti ye mwetegefu okuddamu okwesimbawo ku bwassentebe era ayagala baddereeva bonna bakkirizibwe okuddamu okulonda.

Yagambye nti KCCA ebadde n’oludda kyokka kati ebintu bikoleddwa nga baddereeva bonna bali bumu era ssinga bagoberera Museveni bye yabagambye, omulimu gwabwe gwa kutereera.

Okukkiriziganya kuno kwamenyeewo okwaliwo ku bya bbaasi, Pulezidenti n’alagira biddemu byeetegerezebwe.

KCCA ky’egamba

Amyuka omwogezi wa KCCA, Robert Kalumba yagambye nti tebannafuna kiwandiiko kyonna ku byatuukiddwaako n’agamba nti ssente endala ng’oggyeeko emitwalo 12 aba takisi ze basasula buli mwezi, ensimbi endala bo nga KCCA tebazimanyi.

Ku kya ppaaka ez’obwannannyini, Kalumba yagambye nti KCCA ezimanyi era ye baazikkiriza okukola  nga ziriwo mu mateeka. Ezimu ku zo kuliko; Namirembe Bus Terminal, Namayiba ne Kisenyi.

Omukwanaganya w’emirimu mu ppaaka ya Namayiba ne Kisenyi, Saadi Lukwago yagambye nti KCCA bwe yali ekyakola Ppaaka Empya, yapangisiza baddereeva awalala nga y’ebasasulira kyokka bwe yamaliriza okuddaabiriza Ppaaka Empya n’eva ku by’okubasasulira.

Yagambye nti kino kibawalirizza okusolooza takisi ezikolera mu ppaaka nga Namayiba ne Kisenyi kubanga KCCA tekyasasula za bupangisa.

Ebyasaliddwaawo

1. Obuvunaanyizibwa  bw’okuddukanya takisi mu Kampala yonna Pulezidenti yayongedde okubukwasa KCCA era n’alagira baddereeva bagende mu maaso nga bawa 120,000/- eza buli mwezi.

2. KCCA okweddiza ppaaka z’obwannannyini zonna mu Kampala  okulaba nga bazigula oba bazipangisa okwewala okuggya ku ba takisi ssente ennyingi. Ku nsonga eno, ekituufu bakisalawo wiiki ejja.

3. Museveni yaggyeewo ssente ezibadde zisoloozebwa ku ba takisi mu makubo gye bayita buli kabuga abakwata ttenda gye babadde basinziira okukasuka bulisiiti mu mmotoka zaabwe.

4. Yalagidde aba takisi okuddamu okwerondamu obukulembeze ku siteegi wansi nga bali wamu obutayawulamu bibinja bya njawulo era nga kino nakyo kisalibwawo wiiki ejja ku tteeka ki lye bagenda okulonderamu oba lya KCCA oba lya minisitule y’eby’entambula.  Kino ba kukikolera mu ppaaka sso si bisaawe.

5. Emisango gyonna egibadde givunaanibwa aba takisi mu kkooti ne ku poliisi ssaako abasalirwa ebibonerezo, biveewo. 

6. Ebibiina  by’abakozi yabiragidde bive mu ppaaka za takisi babaleke bakole byabwe era ne ba Kitatta aba bodaboda basigale mu pikipiki zaabwe n’aba takisi bakole ebyabwe.

7. Ssente ze yabawadde zonna yalagidde ziyitte mu Sacco zaabwe era zino bagenda kuzifunirawo mu bwangu; aba Ssematimba zigenda kuyita mu “United Hornet Drivers & Conductors Savings Cooperative” ate Mayambala nabo mu Sacco yaabwe eyitibwa Kampala Metropolitan Taxi Operators Sacco.

8. Pulezidenti yabalagidde bagatte ebiwayi byonna baddemu balonde abakulembeze. Baddereeva bonna basobola okuddamu okulonda oba ebiwayi bisobola okwerondamu ku buli ludda ne bafuna olukiiko lumu.

 

9. Museveni yalagidde nti ebya bbaasi ezibadde zireetebwa bisooke biyimirizibwe kubanga Gavumenti eteekwa kukolagana butereevu n’aba takisi okwewala okubanyigiriza n’okugobwa.

 

Museveni asonyiye aba takisi emisango gya KCCA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...