TOP

'Musisi tugobere abatembeeyi'

Added 27th February 2016

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya Kampala City Traders Association (KACITA), Evarest Kayondo, yagambye nti embeera ebasobedde kubanga buli olukya bafuna okwemulugunya okuva mu akeedi ez’enjawulo nga baagala babayambe okuggya abatembeeyi ku nguudo.

 Abatembeeyi nga bali ku nguudo mu Kampala. kU DDYO, YE Jennifer Musisi gwe balaajanira

Abatembeeyi nga bali ku nguudo mu Kampala. kU DDYO, YE Jennifer Musisi gwe balaajanira

ABASUUBUZI abatundira mu maduuka basabye KCCA egobe abatembeeyi abazzeemu okutundira ku nguudo be bagamba nti bavuddeko obucaafu n’obulippagano bw’ebidduka okweyongera.

Baalumbye abakulembeze baabwe aba KACITA ne babasaba batuuze olukiiko lw’abasuubuzi bonna basalewo mu bwangu eky’okukola kubanga akalulu kaawedde naye abatembeeyi buli olukya beeyongera okweyiwa ku nguudo.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya Kampala City Traders Association (KACITA), Evarest Kayondo, yagambye nti embeera ebasobedde kubanga buli olukya bafuna okwemulugunya okuva mu akeedi ez’enjawulo nga baagala babayambe okuggya abatembeeyi ku nguudo.

“KCCA eyatuyise enkya ku Lwokutaano tuteese ku busuulu bw’amayumba n’ekubala ebizimbe kyokka olukiiko olwo hhenda kulukozesa okubategeeza embeera embi gye tulimu mu Kampala.

Kayondo yagambye nti abatembeeyi ebintu babiyiwa mu miryango gy’amaduuka ne balemesa abaguzi okuyingira munda, olwo abasuubuzi abatundira mu maduuka ne babalemesa okukola.

N’agamba nti abasuubuzi bategeka okuyimiriza okusasula layisinsi z’amaduuka ne ssente za kasasiro kubanga abasinga okucaafuwaza ekibuga be batundira ku nguudo era n’asaba KCCA okuvaayo etunule mu nsonga zaabwe ng’embeera tennaba kusajjuka.

EMBEERA ERI MU KIBUGA:

Abatakisi batikkira mu luguudo wakati aba bodaboda buli omu waayagala w’asimba ng’embeera eri ku Mini Price yeeraliikiriza.

Abasindika ebiggaali n’abavuga obugaali maanyi g’ekifuba we basanga we basimba awatali ku bakuba ku mukono.

Abatembeeyi ebintu baabiggye ku mabbali g’oluguudo gye baasooka okubissa nga kati babiyiwa mu kkubo.

Okuvuga emmotoka okuva ku kisaawe ky’e Nakivubo okutuuka ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero ku luguudo lwa Luwum kikutwalira eddakiika ezitakka wansi wa 30, wakati mu bunkenke bw’ababbi b’obutaala n’abasazi b’ensawo.

Obucaafu obuli mu kibuga naddala abatembeeyi we bbali bususse kyokka abatembeeyi bakitadde ku KCCA, gye bagamba nti tayagala kukola mulimu gwayo.

Moses Luutu omu ku batembeeyi agamba nti okuyonja ekibuga KCCA ekukola ku ssaawa 5.00 ez’ekiro ng’abatembeeyi bamaze okunyuka okutuusa ku ssaawa 12.00 ez’oku makya nga we batandikira okukola ekibuga kyandibadde kiwedde okuyooyoota.

N’agamba nti ennaku entono ze babadde ku nguudo za ndibadde tezikaabya bakolera mu maduuka kubanga n’ebintu bye bantunda be babibaguza.

Kayondo yagambye nti, dayirekita wa Kampala abadde tabeerangako mu mbeera eno kubanga mu kulonda kwa 2011, abatembeeyi beeyiwa ku nguudo ng’okubagobako lwali lutalo lwennyini.

Yagambye nti baalina okwegatta ng’abasuubuzi mu kibiina kyabwe ekya KACITA okusobola okubawangula.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti tewali yakkiriza batembeeyi kuyiika ku nguudo era byonna bye bakola bamenya mateeka.

“Tugenda kubagobako kubanga amateeka weegali ge tugenda okukozesa era entegeka egenda mu maaso.

N’asaba abasuubuzi obutava mu mbeera kubanga ensonga zaabwe zigenda kukolebwako mu bbanga eritali lye wala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...