TOP

Bannakampala balaze bwe beeyiiya ekiro nga kaabuyonjo ziggaddwa

Added 23rd March 2016

OTAMBULA mu Kampala ekiro ng’abantu batambula ku nguudo, waliwo abakola bizinensi ezitali zimu okukeesa obudde. Naye wali weebuuzizza abantu bano gye beeyambira kuba kaabuyonjo za KCCA nez’omu akeedi ez’okusasulira zibeera nzigale.

 Kaabuyonjo ya KCCA esangibwa ku Constitutional Square mu Kampala, eyasangibwa nga nzigale ku ssaawa 3:00 ez’ekiro. Ono ng’asobeddwa talina waakulaga.

Kaabuyonjo ya KCCA esangibwa ku Constitutional Square mu Kampala, eyasangibwa nga nzigale ku ssaawa 3:00 ez’ekiro. Ono ng’asobeddwa talina waakulaga.

OTAMBULA mu Kampala ekiro ng’abantu batambula ku nguudo, waliwo abakola bizinensi ezitali zimu okukeesa obudde. Naye wali weebuuzizza abantu bano gye beeyambira kuba kaabuyonjo za KCCA nez’omu akeedi ez’okusasulira zibeera nzigale.

Akeedi z’omu Kampala ezisinga ziggalawo ku ssaawa 2:00 ez’ekiro, ate nga muno mwe musinga okubeera kaabuyonjo eziyimirizaawo bannakampala kuba eza KCCA zibalirwa ku ngalo.

Bukedde yatambudde mu kaabuyonjo za KCCA eziri mu masekkati g’ekibuga n’ekizuula nga baziggala okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi, ng’ezisembayo bazisiba ku 3:00 ez’ekiro.

Kyokka wadde mu budde bw’emisana kaabuyonjo ezimu ng’eri ku Constitutional Square ne ya Park Enkadde zibeera nzigale mu busenge abantu we balina okukolera ppupu. Abantu bakoma ku kufuka, era abazirabirira baagambye nti kino kiva ku bbula lya mazzi lye balimu.

Buli kafo konna akalimu akazikiza mu Kampala, kafuuka kifo kya kweteewululizaamu era osanga abantu nga basimbye lwa kasota okwesogga naddala enkuubo z’ebizimbe. Abamu bw’afuna akakebe akatundirwamu amazzi abeera amaze.

Abakulira ekikuubo balaajanye

Sam Muyomba, omwogezi w’ekibiina kya Kikuubo Business Community yagambye nti Ekikuubo kye kimu ku bifo ebisinga okukoleramu abantu abangi mu Kampala, kyokka kyewuunyisa okubeera nga temuli kaabuyonjo ya KCCA.

Yagambye nti ekikuubo bakisiba ku ssaawa 2:00, olwo ne musigalamu abantu abatono abakuuuma, awamu n’abaleetamu ebyamaguzi ekiro. Bano basanga obuzibu kuba tebabeera na buddukiro, anti n’ebifo ebiriraanyewo nga Arua Park, Nebbi Park, Baasi za Baganda, William Street tebalina kaabuyonjo.

Muyomba agamba nti ku makya enguudo zonna ziba zicuuma ekivundu ekiva mu musulo ne kazambi. Enkuba nga yatonnye mu myala byonna gye biggweera.

Yagasseeko nti Nakivubo Parish yonna temuli kaabuyonjo ya KCCA, wadde nga we wasinga okubeera bbize.

Muno muzingiramu ebitundu bya Kikuubo, Nabugabo, Ben Kiwanuka Street, Johnson Street, William Street, Nakivubo ku mwala, Qualicel Bus Terminal ne William Street.

“Abantu abakola ekiro bokka si be banyigirizibwa, kuba kati emirimu gyakyuka. Abantu bakeera ssaawa 10 ez’ekiro okujja mu kibuga, kyokka akeedi baziggula ku ssaawa 1:00 ey’oku makya. Kati bano bakola batya?” Muyomba bwe yabuuzizza.

Abalongoosa ekibuga batenda

Omukozi wa KCCA ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti olumu ku makya embuto zibaluma nga beera enguudo ate amakubo gonna gabeera gacuuma ekivundu ekiva mu musulo.
Obukebe obusinga bubeera bwafukiddwaamu, ate ng’ebipapula ebimu bazinzeemu ‘ppupu’. Yagambye nti embeera eno yasooka kumulwaza nga yaakafuna omulimu kyokka mu kiseera kino yeegulirayo enkampa z’ayambala mu ngalo awamu ne kye yeebikka ku nnyindo.
James Male, omuvuzi wa booda ku paaka enkadde ng’akola kiro, bwe yabuuziddwa gy’alaga ekiro, yakkirizza nti ekituufu bagenda ku mabbali ga kkubo kubanga babeera tebalina we bayinza kulaga. Yagambye nti alaba abantu abakulu nga beeteewuliriza ku makubo mu ttumbi.
Omusawo alabudde ku ndwadde
Dr. Ali Bamuna Moses akolera mu ddwaaliro e Mulago yategeezezza nti abantu okweyambira ku makubo ekisooka kireetera ekibuga kyonna okucuuma.Tekikoma wano kyokka kiviirako n’okuleeta endwadde eziva ku bucaafu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...