TOP

Loodi meeya Erias Lukwago alayira June 1

Added 21st May 2016

KYADDAAKI ekitongole kya KCCA kirangiridde enteekateeka z’okulayira kwa Loodi Mayor, bakansala abatuula ku City Hall, bameeya ba Munisipaali ettaano ezikola Kampala ne bakansala baabwe.

KYADDAAKI ekitongole kya KCCA kirangiridde enteekateeka z’okulayira kwa Loodi Mayor, bakansala abatuula ku City Hall, bameeya ba Munisipaali ettaano ezikola Kampala ne bakansala baabwe.

Okulayizibwa kw’abakulembeze bonna abatuula mu City Hall kwakubaawo ku Lwokusatu nga June 1, okutandika ku ssaawa 3:00 ez’oku makya mu kibangirizi kya City Hall.

Ku lunaku lwe lumu ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo kugenda kubeera kulayira kwa bameeya ba Munisipaali ne ba kansala ng’emikolo gyakubeera ku bitebe by’amagombolola okuli Nakawa, Kampala Central, Lubaga, Makindye ne Kawempe.

Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okulangirira abakulembeze mu Kampala mu Gavumenti ekitongole ekya (Uganda Gazette).

Peter Kaujju, omwogezi w’ekitongole kya KCCA mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa ku Lwokuna yagambye nti enteekateeka zigenda mu maaso okulaba ng’emikolo gy’okulayiza Loodi Meeya, bameeya ku Divizoni, ba kansala bonna kugenda bulungi.

Yagambye nti okumanyisibwa ebisingawo be kikwatako balina okutuukira ofi isi ya Town Clerk wa KCCA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...