TOP

Ebintu kwolabira takisi mwe babbira

Added 27th July 2016

ENNAKU zino ababbira mu mmotoka naddala takisi beeyongedde. Mu bukodyo obungi bwe bayiiyizza, mwe muli; okufuna mmotoka ezikola takisi ze bakozesa ne bawuddiisa abantu abaagala okubasaabaza ne babanyaga nga bazirinnye. Kw’omanyira emmotoka nti bagibbiramu.

 Emmotoka egambibwa okutambuliramu ababbi ng’eri ku poliisi y’e Kyebando Kisalosalo ku luguudo lwa Northern By Pass oluvannyuma lwa poliisi okugigoba abaalimu ne baduuka mu n’esalawo okugisika .

Emmotoka egambibwa okutambuliramu ababbi ng’eri ku poliisi y’e Kyebando Kisalosalo ku luguudo lwa Northern By Pass oluvannyuma lwa poliisi okugigoba abaalimu ne baduuka mu n’esalawo okugisika .

Bya HENRY KASOMOKO

ENNAKU zino ababbira mu mmotoka naddala takisi beeyongedde. Mu bukodyo obungi bwe bayiiyizza, mwe muli; okufuna mmotoka ezikola takisi ze bakozesa ne bawuddiisa abantu abaagala okubasaabaza ne babanyaga nga bazirinnye. Kw’omanyira emmotoka nti bagibbiramu.

NNYAMBA ONTEREREZE KU ENDABIRWAMU EYO;

Kano ke kamu ku bukodyo ababbira mu takisi bwe baatandika nabwo era bwe baakizuula nti abantu baabutegeera, ensangi zino bagenda bakadibya wabula waliwo abakyakakozesa. Endabirwamu eziraba emabega bazikyamya mu bugenderevu ggwe omusaabaze bw’olinnya mmotoka, bakulekerawo ekifo mu maaso ku luggi era oluba okusimbula nga ddereeva akusaba omuyambe otereeze endabirwamu asobole okulaba ebimuva emabega.

Bw’otakagwamu nti kakodyo k’ababbi n’okkiriza okutereeza endabirwa gwe obeera owoomye ng’enjogera yaabwe bw’eri.

Engeri endabirwamu gy’ebeera ewala, oba olina okukunukkiriza oba okusitukamu katono olwo abeera akuddiridde ng’afuna akakisa okusikamu essimu n’essente zonna mu nsawo era bavugako wano na wali nga bakugamba nti abasaabaze bababuze oba mmotoka efudde naye tebakuggyaako ssente.

Obutabagwamu nti bakubbye bakugamba olinnye mmotoka endala ssente ozireke.  

OKUBBISA ERYANYI;

Ababbi abasinga naddala abatta be babbye babbira ku nguudo empanvu okugeza; Mbarara, Hoima, Jinja n’endala.

Mu mmotoka babeeramu nga bana; kkondakita, ddereeva, omu mu ‘maaso n’omulala omu emabega ku mutto ogusembayo.

Omuserikale wa Flying Squad omu ku bayigga ababbi ab’ekika kino yategeezezza nti batikka abantu ne bajjula mmotoka n’esimbula era n’etambula olugendo oluwerako ne batuuka mu bifo ebyekusifu nga tewali ajja yenna k’ebeere emmotoka eyita mu budde obwo ne balyoka bagamba abasaabaze okubawa buli kye balina.

Ababbi ab’ekika kino batera nnyo okubba abasuubula mu bitundu eby’ewala bwe bamala okubabba n’engoye ne bazibambula ne beggyawo. Babeera n’ebissi era abagezaako okugaana okukola kye babalagidde bayinza okubatta.

Okusinziira ku muserikale wa Flying Squad ataayagadde kumwatuukiriza mannya, abamu bakozesa emmotoka ze baggye ku bagagga nga babalimbye nti bagenda kuvuga takisi ate abalala, bazipangisa ku baddereeva.

  Abaakwatiddwa mu bubbi bw’omu ttakisi nga bali ku poliisi ya CPS gye bakuumirwa.

 

Simon Mudoola omutuuze w'e Lugazi eyali abbiddwaako mu ngeri eno yategeezezza nti waliwo n'abakozesa mmotoka za buyonjo ne beefuula abagenda eηηendo empanvu bwe batuuka mu kkubo ne beefuulira abasaabaze.

"Nze mmotoka ekika kya Noah nagirinnyira ku Yard okuliraana Hotel Africana nga mu maaso waliyo omusajja omulala, ddereeva n'emabega nga waaliyo abasajja abalala babiri. Bajja ku siteegi ne bayita abagenda e Jinja- Kawolo era ne ntuula mu mmotoka n’abasaabaze abalala. Nalina ensawo eyalimu ssente ne laptop.

Baatuula omusajja omu n'ava we yali atudde n’asaba tweyongereyo ye atuule ku mulyango nti waliwo by’agenda okufuna mu maaso." Mudoola bwe yannyonnyodde.

Yagasseeko nti mmotoka olwagisimbula bwe baatuuka e Lugogo nga waliwo jjaamu ddereeva kwe kwambuka ku bitaala by'e Nakawa ne babagamba nti bagenda kuyita mu kkubo ddala ne badda ku Lugogo Bypass ne baambuka e Nagulu nga balowooza bagenda kuddayo e Nakawa wabula baayambuka bwambusi ne bayita ku kitebe kya poliisi ne badda ku ky'e Ntinda ne babayisa mu bikubo eby'ettaka okutuusa lwe baatuuka mu kifo awatayita nnyo bantu ne babalagira buli muntu aleke by’alina munda afulume ne basimbula emmotoka.

 

NYWEZA OLUGGI;

John Peter Katumba omutuuze w’e Kisaasi asuubula ‘tayiro’ mu katale e Nakasero eyabbibwa mu May agamba nti; Nali nzira waka e Kisaasi ku ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi. Nalinnya takisi nnamba UAT 904K eyali edda e Kisaasi nga nnina ensawo omwali laptop.

Mu mmotoka mwalimu abantu abalala wabula bwe natuuka we nviiramu ne ηηamba kkondakita nti nvaamu n’antegeeza nti we nali mugamba okuviiramu tebabakkiriza kuyimirirawo. Banvuga ne bampisa we nali nviiramu obusungu ne bunkwata ne ntandika okuyomba.

Nali ntudde mu maaso bwe nayomba ennyo nga bwe tuwanyisiganya ebigambo ne ddereeva ne kkondakita, baafuna we bayimirira ne nvaamu mu busungu ne ssente ne bazizira wabula saamanya nti mu kuyomba baali banziba.

ηηenda okutuuka okukebera ensawo nga laptop teriimu, mulimu oguyinja ogunene gwe banteereddemu naye ekirungi mmotoka nali ngirabye era kye nakola nafuna booda ne ngoba mmotoka nga bwe nkuba enduulu n’aba bodaboda ne batwegattako.

Ababbi baava ku kkubo ne bakwata e Bukoto ne nkubira abaserikale naye mu kubagoba, mmotoka yaabwe yafuna akabenje abalala ne badduka naye ddereeva ebyuma ne bimukwatiramu era poliisi n’emukwata n’ayogera omu ku banne.

Twaggulawo omusango ku fayiro SD 61/20/05/2016 Phiona Orama Oryema omutuuze w’e Namugongo akolera e Bukoto ye agamba nti; Ku ssaawa 10:50 ez’olweggulo nava e Namugongo nga bampise ku mulimu mmotoka ne ngirinnyira ku Northern Bypass ng’eneetera okujjula kubanga mwalimu abantu 10 nga mu maaso wabulayo omu n’emabega nze ne ntuula mu maaso.

Nalina essimu kika kya Samsung Galaxy mu kasawo ne ssente enkalu 200,000/- n’essimu endala ennene kika kya Asus. Bwe natuuka okuliraana essomero lya Bethany High School, kkondakita n’aηηamba nnyweze oluggi olw’okuba nali simanyi kakodyo kano, nata bye nalina ne nzira ku luggi ndunyweze. Ddereeva yaηηamba nti oluggi bwe lutanywera nja kuyitamu ngwe. Saamanya nti baali banzibye.

Oluvannyuma ne batugamba nti tebagenda kutuuka Kyebando, tufune emmotoka endala. ηηenda okukebera akasawo nga temuli kantu wabula waliwo omutuuze eyakwata ennamba ya mmotoka eyannyamba ne tugenda ku poliisi ne tuggulawo omusango ku fayiro SD 21/11/07/2016 ku poliisi y’e Kyebando poliisi n’ekwata mmotoka UAJ 861L ababbi ne badduka.

 

OKUYOMBERA CCENGI;

Omusaabaze gwe batuuza mu bifo by’emabega bamubbira mu kakodyo ka kuyomba. Steven Sande akulira poliisi y’e Kira agamba nti abantu bangi ababbiddwa babeera balina ssente nnene.

“Abamu batugamba nti yabadde atudde wakati w’abasaabaze babiri n’awa kondakita ssente nga nnene n’atandika okuyomba.

Yagasseeko nti omusaabaze naye bw’atandika okuyomba ng’ebirowoozo byonna abiteeka ku kkondakita ne ddereeva olwo bano abamuddiridde nga basowola buli ky’alina mu nsawo.

Brian Wimana omutuuze w’e Kamwokya Kifumbira agamba nti; Ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo nali ηηenda Kisaasi ne nninyira mmotoka ku ttaawo ly’e Kyebando Nsooba nga nnina ensawo omwali essimu kika kya Huawei ne kkamera wabula mmotoka bwe yatambula ne tutuuka mu kifo ekiziyivu ku Northern Bypass ne banziba kkamera n’ebyali mu nsawo naye mmotoka nnali ngirambye.

Yaliko ebigambo nti ‘Jesus Is Coming’ ebivvuunulwa nti Yesu akomawo era nali ndi ku poliisi y’e Kyebando nalaba mmotoka ng’esimbye mu luggya lwayo nga waliwo abalala abaali bagiroopye nti yabaddemu abantu abaababbye nange we nagisanga ne nzigulawo omusango ku fayiro SD 21/11/07/2016.

POLIISI BAGIREMESA

Poliisi wadde efubye okusomesa abantu okwegendereza nga tebannalinnya mmotoka naye wakyaliwo okusoomooza kungi olw'abantu abasinga obutakwata nnamba za mmotoka mwe babeera bababbidde ne kizibuwaliza poliisi okulondoola ababbi.

Omuduumizi wa poliisi ya Kira Road, Michael Kasigire yagambye nti olumu ekiremesa ababbi okukangavvulwa, bwe baba bakwatiddwa, ababbiddwa tebawa poliisi mukisa ne basalawo nti baagala kuteesa n'ababbi babaddize ebyo bye baba bababbyeeko.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, bwe bakwata mmotoka z'ababbi bano, oluusi abazibeeramu babaddukako ne basigaza mmotoka zokka bannyinizo bwe bazikima ku poliisi ne babasaba okubatwalira ddereeva eyabadde mu mmotoka bo babatwalira be baawa mmotoka tebabatwalira babbi baazibaddemu.

Steven Sande akulira poliisi y'ebidduka ku poliisi ya Kira Road yagambye nti "Mu mateeka omuntu bw’abbibwaako ebibye mu mmotoka ekibuuzo ekisooka nga waakatuuka ku poliisi kwe kukubuuza nti emmotoka ogikutte ennamba?

Naye abantu baffe obunafu Buno bakyabulina ng'omusirikale olumubuuza tasobola kujjukira nnamba ya mmotoka emubbye poliisi n’ezibuwalirwa okukola omulimu gwayo obulungi" Sande bwe yategeezeza.

Yagambye nti bbo kasita babannyonnyola oluguudo mmotoka lw'ebaddeko nga bafunye n'ennamba yaayo bakozesa leediyo ya poliisi okuloopa emmotoka eyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...