TOP

Bameeya ba munisipaali batabukidde Lukwago

Added 23rd August 2016

LOODI MEEYA Erias Lukwago yasanze akaseera akazibu eggulo, bameeya ba Munisipaali be yayise mu lukiiko bwe baamutabukidde oluvannyuma lw’okumusaba abasembe baweebwe obuyinza okwekolera ku bizibu byabwe kyokka n’abasindika ewa minisita wa Kampala ne Gavumenti eya wakati nti gye balina okutwala ensonga zaabwe.

 Loodi Meeya Erias Lukwago

Loodi Meeya Erias Lukwago

LOODI MEEYA Erias Lukwago yasanze akaseera akazibu eggulo, bameeya ba Munisipaali be yayise mu lukiiko bwe baamutabukidde oluvannyuma lw’okumusaba abasembe baweebwe obuyinza okwekolera ku bizibu byabwe kyokka n’abasindika ewa minisita wa Kampala ne Gavumenti eya wakati nti gye balina okutwala ensonga zaabwe.

Bameeya bano okuli; Nganda Mulyannyama (Makindye) , Ronald Balimwezo (Nakawa), Emmanuel Sserunjogi (Kawempe) ne Charles Musoke Sserunjogi (Central) be baayombye nti Loodi Meeya n’olukiiko lwe baayagadde kweggyako buvunaanyizibwa na kwagala kubeesamba nti kuba bo bakimanyi bulungi nga lukkirizibwa okubasemba ne bafuna obuyinza.

Bino okubaawo, meeya omulala owa Munisipaali ya Lubaga, Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo yabadde agenze.

Mu lukiiko luno olwabadde mu City Hall nga lwetabiddwaamu n’ababaka ba Palamenti ab’omu Kampala okuli; Allan Ssewanyana (Makindye West), Moses Kasibante (Lubaga North) ne Kato Lubwama (Lubaga South), Loodi Meeya yasoose kulayiza bakkansala babiri abakiikirira ebitongole by’abakugu okwabadde Julius Ddamulira (Bakubi ba pulaani) ne Willington Amutuhirwe (basawo).

Oluvannyuma Loodi Meeya yalagidde ssentebe w’akakiiko k’ebyamateeka mu KCCA, Bruhan Byaruhanga (NRM) ayanjule lipoota eyogera ku kuwa bameeya ba Munisipaali obuyinza omuli; okusolooza emisolo, okukuba pulaani, okuddukanya ebyobulamu, okukola enguudo, okwesasulira abakozi, okwekolera ku mbalirira, okuyoola kasasiro, okubeera n’akawunta ezeetongodde n’ebirala.

Lipoota ya Byaruhanga yalaze nti etteeka lya KCCA terikkiriza kubawa (bameeya) buyinza n’ewabula nti balina okusooka okuwandiikira minisita wa Kampala (Beti Kamya) ensonga zaabwe azongereyo mu lukiiko lwa baminisita (Kabineeti), luzanjule mu Gavumenti olwo yo ewandiikire Dayirekita wa Kampala (Jennifer Musisi), olwo ate ye addemu okugyanjula mu lukiiko.

Kino kyatabudde bameeya nga bagamba nti Loodi Meeya ababuzaabuza n’okuwanvuya ensonga y’okubawa obuyinza nti mu kulaba okwabwe amateeka gamukkiriza.

Lukwago yasazeewo ensonga ezzibwe mu kakiiko kaddemu keetegereze okusaba kwa bameeya bonna kubanga waliwo abaabadde batawaddeeyo kusaba kwaabwe mu butongole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...