TOP

KCCA ereeta emisolo emipya mu Kampala

Added 7th September 2016

ABA KCCA batudde ne bakkiriziganya okuddamu okwetegereza emisolo balabe egyetaaga okukendeeza n'okwongeza.

ABA KCCA batudde ne bakkiriziganya okuddamu okwetegereza emisolo balabe egyetaaga okukendeeza n'okwongeza.

Mu lukiiko olwatudde ku Royal Suits e Bugoloobi eggulo, bakansala baatumye minisita wa Kampala Beti Kamya ewa Pulezidenti awe ekiragiro abatundira ku nguudo baveeko.

Baateesezza okutandika okusasuza bodaboda, loole, Pickup, ebipande bya bizinensi emisolo.

Sam Sserunkuuma dayirekita w'ebyemisolo mu KCCA, yagambye nti emisolo egireetebwa gibadde tegisasulwa nga ogwa bodaboda.

"Ebidduka ebiyingira mu kibuga wakati birina okutandika okusasula atasobola kusasula tumuwa amagezi mmotoka agireke e Nakawa”, Sserunkuuma bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti baagala okufuna langi ey'enjawulo enaasigibwa mmotoka ezikola sipesulo mu Kampala.

"Omwaka oguwedde twasolooza obuwumbi 84, omwaka guno twagala obuwumbi 122 nga tumaze okutereeza ebibadde biremesa. Twagala okukola zooni okusinziira ku basuubuzi baffe omuntu atasobola bbeeyi ya musolo ku Kampala Road aveeko babeere mu bifo we tunaabagerekerera omusolo gwe basobola”, Sserunkuuma bwe yagasseeko.

Yagambye nti ekibadde kiremesa omusolo okusoloozebwa mu bungi, ebizimbe 1,200 ebyazimbibwa okuva mu 2009, bibadde tebibalibwanga era nga tebiggyibwako musolo.

Beti Kamya yagambye nti omulamwa guno mukulu, gwa kutema mpenda ku ngeri gye bayinza okwongeza ku bungi bw'emisolo egisoloozebwa.

Hajati Sarah Kanyike amyuka Loodi Meeya yategeezezza nti abantu obutawa musolo bubadde bunafu bwa KCCA kubanga tesomesangako bantu lwaki balina okuwa omusolo.

Wabula ebimu ku byabadde biteesebwako, abamu ku bakansala tebakkiriziganyizza nabyo nga bagamba nti mwabaddemu okunyigiriza.

Kkansala Ismail Ddamba Kisuze yagambye nti baabadde bateseezezza okuyisa ekiteeso ky'ebipande ebitonotono okusasula 650,000/- buli mwaka ate ekinene ddala nga kisasula 2,500,000/- n’ategeeza nti zino ssente nnyingi ku bantu ssekinnoomu, amasomero n’amalwaliro.

Ate Mohammad Ssegiriinya ow'e Kyebando yagambye nti tayinza kuyisa biteeso ebyo kubanga okwo kulyamu bantu lukwe.

Ebirala bye bakkiriziganyizzaako kuliko okuteekawo akakiiko akanaasomesa abantu ku misolo, okukola ebintu ebirabwako ebiva mu musolo, okuteekawo akakiiko akakunga abantu okusasula omusolo, okwetegereza engeri obutale bw'obwannanyini gye buddukanyzibwamu, okukoma ku bawooza omusolo mu bukambwe n'okukubiriza abakulembeze okukolagana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?