TOP

Taata oluusi antuma okumugulira bamalaaya

Added 21st September 2016

Nzuukuka ku makya ng’obudde tebunnakya ne tutegula ebikunta oluvannyuma taata bw’aba yeetewuulizzaako mu kaveera nkakwata ne nkasuula mu kipipa kya Kcca ekiri e busukkakkubo. kyokka oluguudo ndusala mmagamaga emmotoka zireme kunkoona.

 Nakasango ng’asindika kitaawe bagenda okusabiriza ssente.

Nakasango ng’asindika kitaawe bagenda okusabiriza ssente.

Bayizi banne b’asoma nabo baba banyumya amayumba mwe basula n’obuliri bwabwe, ye asirika busirisi kubanga tamanyi bw’ayinza kubanyumiza ku lubalaza w’asula ne kitaawe nga yeebisse akaveera akaddugavu nga bulangiti ng’eno mmotoka eziyita ku luguudo okumpi n’olubalaza bwe zibakubamu amataala.

Oyo ye Amina Jane Nakasango omwana ow’emyaka omunaana gyokka asula ne kitaawe ku lubalaza lw’ekizimbe kya GTZ awo ku lw’e Jinja ku siteegi eyakazibwako erya New Vision nga tonnatuuka ku Hotloaf.

Bano tumaze emyezi egiwera nga tubalinnya akagere era atuttotoledde ennaku gy’alabidde ku lubalaza omuli ne kitaawe oluusi okumutuma okumuleetera bamalaaya.

Embeera eno agibaddemu okuva mu 2012.

Bw’omubuuza ku nsonga ya kitaawe okumutuma okugula malaaya asooka kumagamaga ng’alinga alina kye yeekengera olwo n’alukuteerako naye ebimu abinyumya n’ebiyengeyenge bijja.

 

Emboozi ye yaginyumirizza DAPHINE SEMAKULA NE LAWRENCE KITATTA bw’ati;

Nzuukuka ku makya ng’obudde tebunnakya ne tutegula ebikunta oluvannyuma taata bw’aba yeetewuulizzaako mu kaveera nkakwata ne nkasuula mu kipipa kya Kcca ekiri e busukkakkubo. kyokka oluguudo ndusala mmagamaga emmotoka zireme kunkoona.

Bwe tuba twasuze n’amazzi tunaabako mu maaso era tunywako oluusi ne njolekera Kiswa gye nsoma mu P1.

Taata eyandibadde ampa ssente za bodaboda okuntwala ku ssomero ate nze mba nnina okumusindika ku kagaali nga tuva e Lugogo we tusula ku mulyango gwa GTZ.

Olumu ku ssomero anzigyayo ssaawa 4:00 ne tugenda ku kkubo gye tusabiriza. Olumu nsoma naye olulala nnemererwa.

Olusoma oluwedde nakola ebibuuzo era okuva olwo saaddayo kusoma. Buli lunaku tuzunga ekibuga kumpi okukimalako ne mpulira nga n’obugere bunfuuyirira.

Kasango ng’azingako akaveera akakola nga bulangiti e Lugogo okumpi ne siteegi ya New Vision, we basula ate Nakasango nga yeetereza batandike olugendo lw’okubuna ekibuga nga basabiriza.

 

Naye taata bw’atuuka ku kaserengeto olwo ng’anteeka mu maaso ng’akagaali kayiringita. Taata yangamba nti maama wange ye Nasim Namulondo abeera Iganga era gye yanzigya okundeeta e Kampala okutandika okusabiriza ku luguudo.

Enkuba bw’etonnya mu budde obw’ekiro olwo ne tuyimirira ku lubalaza we tusula olumu n’okutukuba etukuba naddala ng’erimu kibuyaga.

Obudde buli lwe buziba mba mu kweraliikirira. Taata oyo talina nsonyi antuma okumuyitira bamalaaya ekiro!

Omanyi bwe tuba twebase nsula ku ludda kw’assa ebigere wabula olumu ngenda okusisimuka nga mpulira anninnya mu maaso, ngenda okulaba nga mukazi.

Olumu mpulira n’amaloboozi ekiro naye nga sirina kyakukola. Bw’aleeta bamalaaya nga sinneebaka olwo nsituka busitusi ne ntuula ku kkubo mu kayumba ka siteegi ya New Vision okutuusa lwe bamaliriza naye ate olumu nneekanga nsuze awo. Olumu antuma e Nakawa ngule sooda.

Wano nga beetegeka okugenda.

 

TAATA YANZIBA AWAKA

Bwe yali yaakandeeta okunzigya mu kyalo ng’annyambaza nnyo engoye z’abalenzi nga tayagala bamulaba kumanya nti ndi muwala naye kati nange nnyambala ngoye z’abawala.

Nzijukira nali mbeera ne maama wange ne jjajja, twali tuzannya ne baganda bange be twabeeranga nabo awaka, abakulu tebaaliwo kw’olwo taata yajja awaka n’anzibawo n’antwala ewa jjajja omulala.

Ono kirabika ye maama we amuzaala wabula nga naye saamwetegereza bulungi era simumanyi. Taata bwe yawulira nti gye yanzigya baali batandise okunnoonya kwe kunzigyayo n’andeeta e Kampala.

Kye nzijukira twatuuka kiro era ekkubo eryatuleeta sirimanyi naye angamba nti ewaffe Iganga we wali ekyalo kyaffe.

Wabula okuva lwe natandika okubeera ne taata embeera tebeerangako nnyangu kuba ennaku ezisinga tusiibirira capati n’amazzi emmere tugirya lumu na lumu ate tugirya Kataza Bugoloobi kuba we wali eya layisi gy’asobola okugula.

 

 

Eno ku 1500/- tufuna ebijanjaalo n’akawunga ate ennyama ya 3,000/- naye ennyama emirundi gye nnaakagiryako mbala mibale ate essowaani tugigabana.

Emirundi gye nnaakabula sigimanyi!

Taata oyo ayomba nnyo! Waliwo olunaku lwe sisobola kwerabira. Yasuula engatto ye gye saamanya naye n’anvuma olunaku lwonna.

Kino tekyamumalira yansindika ne ngwa ku kolaasi ne nnuubuka nga kw’agasse n’okunkuba nga bw’andaalika nga bw’ajja okuntuga ansuule ku kkubo.

Ekyo buli lwe nkirowoozaako mmubulako olwo n’atandika okunnoonya ng’alaga nti anjagala nnyo kyokka ng’ansuza mu mpewo buli lunaku.

Ekisinga okunnuma ssente azifuna ezisobola okupangisa ennyumba naye azigulamu bamalaaya olwo nze ne mbonaabona.

Bamalaaya abasausla 5,000/- buli kiro. Waliwo Omuzungu atuwa 50,000/- buli kiseera ate ono olumu amusaba 70,000/- naye ezisinga azimalira mu bamalaaya b’agula.

Nze bw’antwala ku ssomero tandekera ssente za buugi ate angamba nti talina wadde za yunifoomu. Wabula ez’ebigezo batusaba 8,000/- era yali tazirina naye omusomesa ku ssomero ye yannyamba ne mbituula.

  Nakasango ne kitaawe nga bava we basula.

NNOONYA MMANGE

Ekizibu ekiriwo gye nava simanyiiyo. Nsaba maama Nasim Namulondo ow’e Iganga ankime kuba nkooye okuba mu mbeera embi. Ebbanga lye nsuze ku kkubo mpulira nkooye.

Olumu mbeera awo ne nneebuuza oba olunaku lulikya ne nzirayo ewaffe ne mbeerako ne baganda bange. Kati taata namudduseeko era nsula ku mbalaza mu kibuga naye annoonya buli wamu w’ansuubira okuba naye saagala kumulaba.

Taata alina ekifaananyi kye yeekubisa nga tuli babiri. Kati akwata akagaali ne yeefuula atalaba era omulema ennyo nga bw’abuuza buli gw’asanze oba amulabiddeko ku muwala we.

Ekyandeetedde okumubulako yankubye n’okunvuma ng’agamba nti nja kukola bwamalaaya oba mu bbaala. Bwe twamaze okulya capati n’andagira okugenda okusuulayo ebisaaniiko mu kasasiro bwe nafunye oluwenda kwe kudduka.

Wabula waliwo abakyala okuli Aunt Mather, Jane bano bandabirirako bwe namuddukako omulundi ogwasooka singa basobola okunkima bajje bankime bantwale kuba bo balina empisa era bandabirira bulungi nnyo kuba baali bampa n’ebiteeteeyi n’engatto naye taata yabavuma n’anzigyayo,’’ Nakasango bw’alojja.

Wabula ku Mmande ya wiiki eno Nakasango yalabiddwaako ng’ali ne kitaawe ku Spear Motors ku Jinja Road ng’amusindika mu kagaali. Kirabika yamaze n’amuzuula.  

Wano Kasango ng’ayomba n’ababodaboda ng’ali ku kagaali ne muwala we.

 

EMBEERA Z’OMUSAJJA ONO

MUSA Kasango mukambwe okukira ennumba. Akolima, muyombi ate awemula nnyo. Abamumanyi bagamba nti teyazaalibwa nga mulema wabula alina ekizimbe kye yali akolako e Lugogo n’ava waggulu n’amenyeka okugulu era okuva olwo n’atandika okutambuza omuggo.

Wabula ng’asobola bulungi okutambula n’omuggo nga tali mu kagaali, naye eno embeera agiteekawo basobole okumusaasira bamuwe ssente.

Abeera ne ssente eziwera era Nakasango agamba nti bagenda ne bagula eddagala mu ‘famasi’ buli lunaku bagula ‘air time’. Ate awuliriza nnyo ne leediyo era bw’oyita we basula aba agitaddeko.

Nakasango agamba nti n’olumu banaaba ku ttaapu e Luzira oba waggulu e Kololo. Kigambaibwa nti alina n’enju gy’apangisa e Iganga mu Busoga ejjudde ebintu era nga mu kiseera kino ekuumibwa landirodi ng’olw’olumu agenda n’asulayo.

Kyokka waliwo eyatubuulidde nti alina akati ke yalonda nga kali mu kasawo, kano k’alomberako dduwa era ke yeesiga ng’emmundu emmenye okumulwanira entalo. “Nze ndi mulema naye ndi mukambwe, ekyokulwanyisa kye nneesiga jjinja.

Nja kuliimisa omuvubuka oyo eyankubye ebifaananyi mmukube; bwe yeeweredde abaamawulire. Nakasango y’omu ku baana ng’amaka ge bamanyi gali ku nguudo kwe basula.

Tebamanyi kitanda wadde amasuuka, wabula amaloboozi g’emmotoka ezibayitako ku nguudo kwe basula ge gababeesabeesa okutuusa otulo lwe tubatwala.

Abaana bano abatamanyi bitanda abatasulangako mu nnyumba ye Uganda y’enkya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?