TOP

Okwekalakaasa ku paaka yaadi: Lukwago ne Munyagwa babatutte entyagi

Added 22nd February 2017

Okwekalakaasa ku paaka yaadi: Lukwago ne Munyagwa babatutte entyagi

ABASUUBUZI ba Park Yard beezoobye ne poliisi nga balwanirira akatale kaabwe Minisita wa Kampala, Beti Kamya ke yataddeko ekiragiro ng’agamba nti bakaveemu mu nnaku 30.

Wakati mu lutalo, Loodi Meeya Erias Lukwago n’ababaka ba Palamenti basatu okuli; Allan Ssewanyana [ Kawempe West]  ne Mubarak Munyagwa bakwatiddwa ne baggalirwa ku CPS nga balangibwa kukuma muliro mu basuubuzi.

Olutalo lubaddewo emisana gya leero ku Lwokusatu mu katale abasuubuzi bwe batabuse ne bakaggala nga bawakanya Beti Kamya okuwandiika ebbaluwa ebagoba mu katale ako mu bbanga lya nnaku 30 .

Wabula Erias Lukwago n’ababaka ba Palamenti bonna abakwatiddwa babadde bawakanya ekiragiro kya Minisita  nga bagamba nti teyakiyisizza mu mitendera mituufu.

Bagambye nti Minisita teyagoberedde mitendera mituufu  giyitibwamu  kugoba basuubuzi  bano kubanga ensonga ebadde yasalibwaawo dda mu lukiiko lwa Loodi Meeya Erias Lukwago nti abasuubuzi tebasengulwa okutuusa nga bafulumizza lipooti.

Ababaka okuli Moses Kasibante [ Lubaga North , Allan Ssewanyana [ Makindye West ] ne Mubarack Munyagwa [Kawempe South] batudde mu ofiisi ya Lukwago ne basalawo nti bagguddewo olutalo ku Minisita Beti Kamya .

Ababaka baagenze mu katale bannyonnyole abasuubuzi kyokka ekifo kyonna nga kyebulunguddwa abaserikale era baabadde baakatandika okwogera Lukwaago , Allan Ssewanyana ne Munyagwa  poliisi n'ebasikayo waggulu ku kadaala n'efulumya nga n'ebatwala nga tabalinnya yogaayoga ku Poliisi ya CPS mu Kampala gye baggaliddwa.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 EBIFAANANYI BYA HERBERT MUSOKE, HANNINGTON NKALUBO NE ERIA LUYIMBAZI

 Laba vidiyo wansi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...