TOP

Abaagobeddwa mu Park Yard babawadde gye bakolera

Added 1st March 2017

Omugagga Ham ayogedde

 Hamis Kiggundu

Hamis Kiggundu

 Bya JOSEPHAT SSEGUYA

ABASUUBUZI bangi ababadde bakolera mu katale ka Park Yard baddukidde mu butale obuliraanyewo naddala aka St. Balikuddembe (Owino) ekireetedde emidaala gyammwo okupaazibwa ebisale.

Godfrey Kasiita omu ku bakulira abasuubuzi mu Owino yategeezezza nti, emidaala girinnye ebbeeyi na ddala egy’engatto kubanga ababadde mu Park Yard baddukidde mu Container Village ate nga yajjula dda olwo ne bagenda mu Owino.

Abasuubuzi nga bawujja munaabwe eyazirise.

 

Agamba nti Owino ekola nnyo ate wakyaliyo emidaala kyokka bannanyini midaala olwawulidde okuggala kwa Park Yard ku Mmande, ne balinnyisa ebisale byagyo.

Akwanaganya emirimu gya Owino, Badru Kavulu yategeezezza nti, bannannyini midaala essaawa eno abagirina mu bifo ebisava ebikola ennyo giri wakati wa 200,000/- ne 500,000/-.

Egimu ku midaala gino giri mu kiyumba ku ludda olwakazibwako Kampala Road (olw’abasuubuzi abangi), era we basalira engoye ng’oyingidde akatale kano ku ludda lw’oluguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Omusuubuzi ng'atwala embaawo ezokuzimba omudaala gwe ku Ham Shopping Center waggulu gyebabawadde

 

Abatundira wansi, basasula bannanyini midaala 100,000/- kyokka waliwo abasiba waya wakati w’emidaala ebiri n’eva eno n’edda ku mulala ng’esala mu lukuubo omusuubuzi n’awanikako engoye era ow’ekika ekyo asasula wakati wa 30,000/- ne 50,000/- omwezi kyokka enkola eyo ab’akatale bagivumirira olw’okulemesa abatambula n’enkaayana mu basuubuzi.

Abasuubuzi omuli Brenda Nakimuli baategeezezza nti, omudaala gubadde ku bbeeyi ntono wakati wa 100,000/- ne 400,000/-.

Omwetissi ng'ajjawo emmaali y'omusuubuzi mu Parkyard

 

Abasuubuzi ba Park yard baaweereddwa emidaala egy’obwereere;

Emidaala gibaweereddwa ku Ssegawa House okuliraana olubiri lwa Kabaka e Mengo ku kikubo ekigguka ku Mbuzi nga baakumala emyezi ebiri nga tebasasudde, abalala ne baweebwa emidaala 1,000 ku kizimbe kya Ham ku Park Yard, mu Usafi emidaala 700 n’emidaala emirala mu katale k’e Wandegeya nga bano baakumala emyezi mukaaga nga tebasasudde.

Ekizibu, ebitundu ebyabaweereddwa nga ku Ham bibadde tebiriimu basuubuzi kubanga bye bisemba waggulu mu kalina abagula gye batatera kutuuka. Akatale ka Usafi kaludde nga tekakola kimala n’ake Wandegeya kyokka essuubi lya kubeera nga bagenda kumala ebbanga nga tebasasula. Abaagala egya Usafi ne Wandegeya basooka kujjuza ffoomu za KCCA ne bagibawa.

Omusuubuzi ono omulema yalabiseeko nga gamwesibye kubanga waggulu ku bizimbe gyebasengulidde abasuubuzi tasobola kulinnyayo

 

Ham ayogedde

OMUGAGGA Haji Hamis Kigunddu owa Ham yategeezezza nti ye yakwataganye ne KCCA ssaako gavumenti n’awa abasuubuzi ababadde bakolera mu Park Yard emidaala 1000 ku kizimbe kye, 700 mu Usafi n’abalala n’abapangisiza e Wandegeya mu katale ka KCCA.

“Kino nkikoze okuyamba abantu bano obutagamba nti bamaze gagobebwa era mbawadde emyezi mukaaga nga tebasasula wadde ekikuumi, Wabula mu maaso eyo nga bamaze okwetereeza ngenda kubasasuza akassente akasaamusaamu,” bwatyo Ham bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti enkulaakulana bw’ejja tebeerako kulowooza ku ani agikulembedde, nze njagala kulaba nga buli kintu kitambula bulungi mu Kampala era omulimu gw’okuzimba ekisaawe ogugenda okuwemmenta obuwumbi bwa 176,400,000/- nga gutandika ssaawa yonna ng’amaze okulaba nga buli musuubuzi afunye omudaala walaga.

Abamu ku basuubuzi ababadde bakolera mu Park Yard nga basibye engugu ate abalala nga bali mu nnaku.

 

Yasabye bannabyabufuzi okukomya okulowoolereza mu kukuuma mu bantu omuliro ng’ate ekituufu bakimanyi ekintu ekiremesezza Kampala okugenda mu maaso nga bali mu ntalo ezitayamba bantu baffe. Ssentebe w’akatale ka Park Yard Kasimu Ssebadduka yakakasizza ebyayogeddwa Ham.

Yagambye nti wadde babadde sibeetegeefu kuva mu Park Yard naye ate tebayinza kulemesa nteekateeka ya kukulaakulanya kibuga era ekirungi kasita babawadde we balaga.

Ye omumyuka we, Godfrey Busuulwa yagambye nti abasuubuzi baabwe bagenda kubayambako okulaba nga bafuna emidaala era buli muntu afuna omudaala wadde gwa bwereere balina kumala kubawandiika ng’enkola ennuηηamu era n’asaba buli muntu agumire embeera gye bayitamu.

Abasuubuzi nga bapanga emidaala waggulu ku Ham Shopping Ground.

 

HAM YANI?

HAJI Hamis Kigundu 34. Mutabani wa Haji Haruna Ssegawa muganda w’omugagga John Ssebalamu ne John Bosco Muwonge abamu ku basinga ensimbi mu Kampala era ye mukulu wa Haruna Ssegawa owa Haruna Towers 32.

Yasomera Ndejje S.S gye yava nayingira Makerere yunivasite n’asoma amateeka g’alinamu diguli.

Yatandika obusuubuzi ng’ali mu S.6 wabula agamba nti yagwa emirundi musanvu oluvannyuma n’aloka era kati yafuuka w’amaanyi.

Alina ebizimbe bisatu ebyamaanyi mu Kampala okuli Ham Shopping Grounds ku Nakivubo, Ham Towers e Makerere ne Ham Shopping Centre era e Makerere.

Ekizimbe ekyokuna ky’abadde yaakazimba ku Market Street e Nakaseero yakitunze n’akiguza omugagga wa Capital Shoppers, Ngabirano.

Alina amaka agamu ku gasinga okuba ag’ebbeeyi mu Uganda agasangibwa e Kawuku Bbunga ku mazzi agali ku yiika munaana era gabalirirwamu obuwumbi 25, Alina poloti ggaggadde ya yiika nga ttaano awali Social Center e Mengo gy’amaze okukuba ekibaati okutandika okuzimba.

Yagenda okuzimba ekisaawe ky’e Nakivubo Stadium ekigenda okuwemmenta 176,400,000,000/-.

Omugagga ono si mufumbo era tanoonya naye alina omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...

Dorothy Nambi ng’ayigiriza omwana alina obukosefu okulabirira ennimiro.

Kw'olabira omwana alina obu...

Alwawo okwogera. Tasobola kuyiga bintu bya bulijjo ng’okuseka, okuba n’emikwano. lAtya nnyo naddala abantu abatali...

HAJJ SABIITI MUYIMBWA W’E KAYUNGA: Puleesa yanziba amaaso Kati emyaka 15 siraba.

Engeri okulonda ne Covid - ...

ABAAWANGUDDE n’abaagudde mu kalulu akaakaggwa bangi baakavuddemu balwadde entunnunsi. Ku bano bw’ogattako abo okweraliikirira...

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...