TOP

70 abaava mu bwa Kifeesi banyumya bwe babbanga!

Added 8th March 2017

Kibadde kizibu nnyo okulaba essimu oba laptop mu mmotoka n’ennemwa okugibba ng’omuntu waakiri mugoberera okutuuka gy’abeera.

 Abamu ku baabadde ababbi (bakifeesi) abeewaddeyo eri poliisi era nga kati bakola mirimu egy’enjawulo mwe baggya ssente.

Abamu ku baabadde ababbi (bakifeesi) abeewaddeyo eri poliisi era nga kati bakola mirimu egy’enjawulo mwe baggya ssente.

Bya RONALD MUGENYI

ABAVUBUKA abaava mu bwakifeesi balojja bye bayiseemu n’emirundi gye basimattuse amagombe!

Omu baamukuba eriiso ne baliggyamu kati wa ttulu, gwe baakwata n’emmundu ne bamusiba emyaka etaano baamutulugunya n’akomayo.

Ebyabatuukako babinyumya bwe bati;

NNAWANGULANGAMU ABANTU AMANNYO

Moses Katongole 28, kati wa ttulu: Nze benkubye ne mbawangula amannyo n’okubayiwa amaaso sibamanyi muwendo.

Natandika okubba mu 2004 oluvannyuma lwa KCCA okunkwata nga nkola ogw’obutembeeyi.

Bansiba e Luzira ne nsangayo abaali ababbi nga babasibye. Bano banjigiriza obukodyo bungi nga ndi mu kkomera.

Olwakomawo nga sirina we ntandikira ne nkung’aanya abavubuka okuva e Katwe ne tuyingira ekibuga ne tutandika okubba.

Mbadde nteegera mu jaamu ku Shoprite, e Kibuye, ku Radio One Kampala Road, Kamu Kamu Plaza ku lw’e Ntebe.

Kibadde kizibu nnyo okulaba essimu oba laptop mu mmotoka n’ennemwa okugibba ng’omuntu waakiri mugoberera okutuuka gy’abeera.

Omubiri gwange gujjudde enkovu n’amakomera ge bansibiddemu sigajjukira.

Olumu nanyakula essimu mu kivvulu ku Freedom City kye nnagwako kyanteekako obulemu bw’olubeerera. Bankuba ne banzigyamu eriiso.

Embeera y’obubbi ngikooye kwe kwegatta ku Respect Family era kati nnunda enkoko ne bansasula.

Wano nga bali mu bbajjiro mu Respect Family.

 

OMWANA WANGE NAMUKWEKA NGA POLIISI EMUNOONYA:

Godfrey Magezi 27 yeeyita Wisdom ye yasooka okuva mu bubbi n’akung’aanya banne:

Kirabika sandibadde mubbi naye embeera gye nayitamu oluvannyuma lwa taata okufa nga ndi muto ate nga maama teyeesobola ye yampaliriza.

Mu 2009 neegatta ku bannange abaali babba ng’ate nakula nabo ne ntandika ekibiina kya Respect Family ekiri mu Beesi Zooni e Katwe, era wano tupangisaawo emitwalo 30 buli mwezi.

Nafuna ensisi nga bannange Bbanga ne Kiyemba abannyingiza mu bubbi babasse.

Mbadde nzibira mu Kampala wakati wabula mu March 2015 neekuba mu kifuba kubanga mbadde nkuze nga nzadde n’abaana naye nga maama asula akaaba olw’ebyo bye nkola.

Hamidah Kyomuhendo nnyina wa Magezi; Saayayitanga ku mulambo nga ne bwe mpita mu kifo ng’abantu bakung’aanidde ku mubbi nga nkyama ndabe oba ye mutabani wange.

Poliisi yamala ebbanga ng’emuyigga naye nga mukwese sisobola kuwaayo mwana wange.

Nali nnumwa nga nkaaba ng’omuzadde, nagezaako n’okumubuulirira naye nga tawulira ne mmukwasa Katonda.

Ndi musanyufu okulaba nga kati omwana wange yava mu bubbi era alina ky’akola afuna akasente mu mirembe.

Nsaba Gavumenti ebakwatireko baleme okuddayo mu mize gye baalimu.

 

BANJIWA AMAFUTA MU NNYINDO:

John Nsamba 32, alina abaana babiri n’omukyala: Nze natandika okubba mu 2008.

Nnali njagala nnyo okuyimba naye nga sirina ssente zikwata nnyimba ku ntambi ne nsalawo okwegatta ku bannange ne tukola ekibiina.

Mbadde nnywa enjaga olwo ne nnumba nga sirina gwe ntya. Buli ekibadde kinsala mu maaso nga nkitwala.

Nga mpummulamu emisana naye olusisimuka nga ntandikira we nnakomye.

Olumu nnali nziba essimu ku USAFI ne bankuba nagenda okudda engulu nga ndi Mulago okwali okunsiibula bantwala e Luzira.

Omulundi ogumu banjiwa amafuta mu nnyindo naye Katonda yannyamba nasimattuka okufa.

Bankuba ne bammenya okugulu kati ntambula mpenyera so nga nazaalibwa ndi mulamu.

Mu July omwaka oguwedde, munnange Magezi gwe twabbanganaye yambuulirira okuva mu bubbi n’aηηamba nzireyo mu kuyimba kati ndi mu kibiina kya Respect Family nnyimba.

 

SIYINZA KWERABIRA LWE BANKWATA N’EMMUNDU:

Moses Ssennono 31: Waliwo munnnage twali tubba naye n’aηηamba nti waliwo omugagga alina ‘masiini’ tusobola okugikozesa.

Bwe twagenda okumusisinkana yaggyayo mmundu, nasooka kugitya naye ne nguma.

Nasula nayo okumala ennaku bbiri olwokusatu ne mmalirira ne ηηenda ekiro ne nteega abantu mu kifo ekimu ne tulaba.

Ssente ze nnaleeta nazanjulayo ne banjawulizaako.

Olunaku olwaddako, poliisi n’amagye baazinda we nnali nsula e Katwe Kinyoro ne bankwata. Bantwala mu kkooti y’amagye ne bansiba emyaka etaano.

Okutulugunyizibwa kwesiyinza kunyumya kwansukkirirako era olwanta nayingira Owino ne ntandika okwetikka emigugu.

Ekiseera kino nkeera kukima mazzi ga nkoko ze tulunda mu Respect Family w’enva okugenda mu Owino.

Nkyasigasizza kulwanyisa kunywa njaga era buli kiseera ηηenda ew’omusawo annyambe.

 

 ABAANA BANGE BABIRI BAABATTA NDABA:

Betty Kabanda, nnyina w’abavubuka babiri be baakuba amasasi: Abaana bange babiri baayingira mu bubbi naye ng’omutima gunsula ku mutwe.

Olumu batabani bange babiri baateega emmotoka nga ziri mu kalippagano e Kibuli ne baggula emmotoka y’Omuzungu ne babbamu ensawo.

Bwe badduka simanyi yabagoberera ne babakuba amasasi mu kifo we baabakubira tebaavaawo.

Omulenzi omu yali ayingidde mu kipipa nga yeekwese, eyo gye baamukubira amasasi n’afa.

Mutabani wange eyasigalawo naye abadde mubbi naye ndi musanyufu nti kati yava mu bubbi akola gwa kubajja n’okusuna endongo mu Respect Family.

 

OMWANA YASUKKA OKUNSWAZA:

Thomas Ssemmambo taata wa Daniel Ssemmambo: Buli lwe baakubanga ebifaananyi by’ababbi mu mawulire ng’ekya mutabani wange kibeerako, nga bannange gye nkolera banjeeya nga bwe nazaalira eggwanga ekizibu.

“Nasalawo ekyana nkinoonye nkitte nkiwone ne mmala emyaka musanvu nga nkiyigga ne kimbula.

Olumu waaliyo emikolo e Kololo ne kigenda kibba ne bakikuba bubi nnyo ne bakitwala e Mulago.

Nafuna ekirowoozo okusasula abasawo bamutte waakiri aleme okuva ku kitanda naye nagenda okutuukayo nga banne beyali abba nabo bamubbyeyo mu ddwaaliro.

Olulala nnali wano n’ankubira essimu ng’agamba nti akola, nagendayo mu bbajjiro ne musanga ng’abajja akatebe n’anneegayirira musonyiwe ne yeetonda era nafuna essanyu okulaba ng’atandise okukola.

 

ATWALA POLIISI ANYUMYA BWE YEEZOOBANGA N’ABABBI BANO:

Ekiseera ekiyise tubadde tufuna emisango mingi okuli okukuba abantu, okubabba n’okubatulugunya okw’enjawulo.

Buli mwezi twafunga emisango egiwera 400 naye kati okuva lwe baakola ekibiina ne bava mu bubbi gyakendeera okutuuka ku 150 ate ng’egisinga si gya bubbi n’okutuusa obulabe ku bantu nga bwe kyali emabega.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga yajja n’abalaba nga bavudde mu bubbi n’abawa enkoko 1,000.

Twasooka kulowooza nti tebaazisobole naye bazirunze era olumu tubakwatizaako okubafunira emmere y’enkoko n’eddagala.

Okunyweza enkolagana nabo tukola emizannyo egy’enjawulo.

Abamu ku Bakifeesi abattibwa nga babba.

 

BASABA BUYAMBI

Bayimbi basaba bafune ababateekamu ssente, ababajja basaba ebyuma eby’okukozesa, beetaaga ne bakansala bongere okubabuulirira.

Ekifo we bakuηηanira okwegezaamu okuyimba, okulunda n’okubajja bakipangisa ku 300,000/- ate wafunda, zibakaluubirira era bakyayagala nnyo okuyambibwa.

Luno okukuubo lwe bagamba nti bwe kaakutandanga ne bakutwalayo nga kizibu okuwona okubbibwa oba okukuttirayo. Luli mu Beesi Zooni e Katwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...

Emiranga n'ebiwoobe bisaani...

Emiranga n'ebiwoobe bisaanikidde ekkanisa y'omusumba Yiga eyavudde mu bulamu bw'ensi. ...