TOP

Atalina sitamina tasenga mu Katanga!

Added 15th March 2017

Bw’otuuka mu Katanga oyinza okwewuunya engeri abantu baayo gye batambuzaamu obulamu kubanga ebintu nga kaabuyonjo, amazzi amayonjo n’ebifo awasuulibwa kasasiro bitono ddala.

 Abakozi ba KCCA nga balongoosa ogumu ku mwala egisangibwa mu kifo kino.

Abakozi ba KCCA nga balongoosa ogumu ku mwala egisangibwa mu kifo kino.

Bya Moses Kigongo

KATANGA kye kimu ku bifo ebyenzigotta ebisangibwa mu munisipaali y’e Kawempe era nga kiri mu kikko ekyawula ettendekero ekkulu ery’e Makerere n’eddwaaliro ly’e Mulago.

Omukyala atunda obuugi ng’agezaako okuyita ku mwala ogusangibwa mu kifo kino abuutwalire bakasitoma be.

 

Ekitundu kino kirimu nnyo bamufunampolamu era nga kigatta kumpi abantu ab’amawanga gonna naddala ababeera baze mu kibuga Kampala okutandika okuyiiyiizaayo obulamu.

Omukyala ng’abuuka omwala okuva ku nnyumba ye.

 

Wabula bw’otuuka mu kitundu kino oyinza okwewuunya engeri abantu baayo gye batambuzaamu obulamu kubanga ebintu nga kaabuyonjo, amazzi amayonjo n’ebifo awasuulibwa kasasiro bitono ddala.

Abamu ku baana nga bali mu Katanga.

 

Kyokka bw’otunuulira omuwendo gw’abantu abasulayo n’okukolerayo oyinza okwewuunya engeri gye bamalako.

Maama w’abaana ng’afumba kacaayi k’atunda.

 

Eno mu Katanga gy’osanga obuyumba obwakazibwako erinnya lya “ maama yingiya poole” kyokka nga buli kumuukumu okufaananako bbalakisi z’abaserikle kyokka nga bwonna bwetolooddwa emyala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...