
Omugagga Kiggundu ng’alaga Pulezidenti Museveni pulaani y’e Nakivubo gye yamutwalira gye buvuddeko. Ku ddyo kye kiwandiiko ekikkiriza Ham okuzimba
Bakkaanyizza wabeewo endagaano ey’awamu wakati w’abagagga abana: Hamis Kiggundu owa Ham Enterprises Ltd, Moses Kayongo owa Futureland (U) Ltd, Tom Kitandwe owa Bestin Ltd ne Bosco Muwonge owa Nterenfune General Enterprises Ltd.
Endagaano egenda kulambulula enkolagana ya kkampuni ennya ku pulojekiti y’ekisaawe kya Nakivubo okwewala okusika omuguwa okubaddewo okuva nga March 31 2014, akakiiko akaddukanya ekisaawe aka Nakivubo War Memorial Stadium Board of Trustees lwe kaagaba kontulakiti ey’okukulaakulanya ekisaawe.
Janet Museveni okuyingira mu bya Nakivubo, kiddiridde obutakwatagana wakati wa Minisita wa Kampala Beti Kamya n’olukiiko lwa KCCA olwa Loodi Meeya Lukwago n’abagagga abasatu; Kayongo, Kitandwe ne Muwonge ababadde basika omuguwa ne Hamis Kiggundu.
Olukiiko lwabaddewo ku Lwokutaano kyokka Beti Kamya teyalubaddemu . Lwetabiddwaamu Minisita w’ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi, Hamis Kiggundu, Bosco Muwonge ne Moses Kayongo, omukungu okuva mu ofiisi y’omuwabuzi omukulu owa gavumenti mu by’amateeka.
Tom Kitandwe teyabaddewo, n’asaba Kayongo okumukiikirira kubanga bwe babadde bakwatagana ku misango gye baatwala mu kkooti nga bawawaabira ab’ekisaawe ky’e Nakivubo okubeefuulira ne bawa Ham ekisaawe so nga baali baakola endagaano ekisaawe kikulaakulanyizibwe kkampuni nnya.
Ebiwandiiko Bukedde bye yalabyeko biraga nti nga March 31 2014, akakiiko ka Nakivubo akagaba kontulakiti kaatuula ne kalonda kkampuni ssatu (3); Bestin Ltd, Futureland (U) Ltd ne Nterenfune General Enterprises Ltd oluvannyuma lw’okumatira nti pulaani zaazo ze zaali zisinga ku z'amakampuni amalala agaali gasabye okukulaakulanya Nakivubo.
Olukiiko lwa Nakivubo olwatuula nga April 7, 2014 lwaweereza kontulakiti ezo eri Ssaabawolereza wa gavumenti okuzikakasa.
Bakkaanyizza nti pulaani ya Ham Enterprises nga bwe yayisiddwa KCCA y’ebeera ekozesebwa era pulojekiti yonna ekolebwe kkampuni ya Ham eyakakasizza Janet Museveni nti ssente ez’okuzimba ekisaawe zonna ezirina.