TOP

Ppaaka ya USAFI ekaabya!

Added 29th March 2017

Baddereeva beewuunya engeri abakulu mu Gavumenti naddala KCCA gye balagajalidde zzaabu n’ekirowoozo ekirungi Dayirekita wa KCCA Jennifer Musisi Ssemakula kye yassa mu nkola bwe yalengerera ewala n’agula ettaka lya Usafi ku buwumbi bwa ssente 39. Ettaka lino liweza yiika mukaaga.

 Eno ye Ppaaka ya USAFI ebeeramu takisi ntono ng’esinga zaasenguka ziri ku nguudo.

Eno ye Ppaaka ya USAFI ebeeramu takisi ntono ng’esinga zaasenguka ziri ku nguudo.

Bya HANNINGTON NKALUBO

Baddereeva beewuunya engeri abakulu mu Gavumenti naddala KCCA gye balagajalidde zzaabu n’ekirowoozo ekirungi Dayirekita wa KCCA Jennifer Musisi Ssemakula kye yassa mu nkola bwe yalengerera ewala n’agula ettaka lya Usafi ku buwumbi bwa ssente 39. Ettaka lino liweza yiika mukaaga.

BUKEDDE yalambudde Ppaaka baddereeva ne bamwanjulira ebizibu ebibalemesezza okufuna ssente n’okusitula omutindo gwayo okuva lwe baagigula ku mugagga Omar Nasoor Ssekamatte.

Bagamba nti we baayingirira mu ppaaka eyo nga yonna nnyonjo, amaduuka ganyirira, koolansi mwali nga toyinza kulaba ku kasasiro ate nga ne siteegi zonna mweziri.

Joseph Luyimbazi; Aba KCCA be battattanye ppaaka eno.

 

EMBEERA BWERI KATI; Ku siteegi za takisi 29 ezaali zitegekeddwa era nga mmotoka zijjudde mu ppaaka eno, musigaddemu siteegi mwenda zokka ate nga ne takisi ku siteegi zino ezimu zisimbamu nga bwe zirinda ennamba zaazo ku nguudo zituuke nazo zifulume.

Siteegi mwenda kuliko; Lukuli , Ndejje, Busaabala, Muyenga, Gaba, Kasenyi, Buziga, Zzana ne Makindye.

Kino baddereeva baakitadde ku bakulu mu Gavumenti omuli; minisita wa Kampala Beti Namisango Kamya, aba KCCA naddala ekitongole ekikwasisa amateeka n’ekitegekera ekibuga ssaako poliisi n’obubinja bw’abakulembeze ba takisi abayoola ssente ku siteegi z’oku nguudo takisi gye zeeyunira okufuna abasaabaze.

OBUJAMA; Murushid Ntale ddereeva yagambye nti emidumu gya kazambi gyayabika dda.

Ebitundu bya paaka ebimu bitubidde mu kazambi era ekivundu baddereeva n’abasuubuzi kibatadde ku bunkenke.

Kasasiro n’enfuufu mu biseera by’omusana ate ebitoomi mu biseera by’enkuba biteekawo embeera enzibu mu ppaaka eno. Ebitundu ebimu koolansi yavaawo dda.

Kasasiro tayoolebwa mu budde naddala mu ppaaka era baddereeva bagamba nti byonna bwe byegatta biraga nti entegeka za KCCA ku ppaaka zino zaakyuka dda okuva we baagigulira ku mugagga Ssekamatte.

 

EBYOBUFUZI

Baddereeva n’abasuubuzi bagamba nti bannabyabufuzi ekifo tebakirumirirwa.

Minisita Beti Kamya yakubayo olukiiko ne Loodi meeya Lukwago n’abakozi ba KCCA nabo bazze batuuza enkiiko ez’enjawulo naye tewali kikolebwa.

Ddereeva George Nsubuga yagambye nti boogedde ensonga zonna n’ebbaluwa ne baziwandiika kyokka tewali kikolebwa okuggyako ppaaka okufa.

Yagambye nti kati paaka ya USAFI baagikwasizza Katonda abayambe kubanga nabo bategeka kugifuluma bagiveemu.

ABAPANGISA MU MADUUKA;

Abapangisa amaduuka bagamba nti engabanya y’obuyumba teyali ntuufu kubanga abamu ku bannannyini buduuka obwo si basuubuzi.

Balumiriza nti bassaawo akakiiko katunuulire ku ngabanya y’amaduuka kyokka ne kalemesebwa.

Kati omwaka mulamba nga tekalina kye kakoze era tebakasuubira kukyusa kintu kyonna.

Muky. Dafini Kirabo yagambye nti obukulembeze bw’abasuubuzi nabwo bulemesezza nnyo enzirukanya y’ekifo ekyo.

Batuleetera abakulembeze be tutayagala ate tebaagala tulonde baffe. Kino Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi, Loodi meeya Lukwago ne Beti Kamya bakimanyi.

Amaduuka mangi KCCA we yagulira akatale kano gaalimu abapangisa kyokka ekiseera kino baagasuulawo makalu ate abalala baalemererwa lwa butafuna baguzi.

Baddereeva, abasuubuzi mu maduuka n’akatale embeera embi bagitadde ku KCCA kulemererwa kukwasisa mateeka ku nguudo, mmotoka ne zigaana okuyingira mu ppaaka.

Eno ye Ppaaka ya USAFI bweti bw’efaanana.

 

SITEEGI Z’OKU NGUUDO;

Baddereeva bagamba nti ekizibu ku paaka ya USAFI kiva ku siteegi ezaatandikibwaawo ku nguudo. Siteegi zonna okuli ezigenda e Gaba, ezassibwa ku Shoprite, ezitikkira ku Royal Complex, ku Conrad ssaako ku Ben Kiwanuka ne ku luguudo lwa Nakivubo ne ku luguudo lw’e Ntebe zandibadde mu ppaaka ya USAFI.

Omuntu otandika otya siteegi kati kumpi egenda kufuuka Paaka okumpi ne poliisi y’essaawa ya Kwiini? KCCA eveeyo bataase paaka yaabwe.

KCCA bakaaba nti tebalina ssente naye bw’otereeza ppaaka ya USAFI, amaduuka n’akatale ne bikola bulungi lwaki oba toyoola ssente?

EBISOBOLA OKUTEREEZA EKIFO;

Bagamba nti ekkubo eryangu okugoba takisi ezitikkira ku nguudo naddala ku biwologoma, ku Shoprite, ku lugenda e Gaba, ku Ben Kiwanuka ne Kafumbe ssaako oluguudo lw’e Ntebe ne ku Nkrumah.

Bagamba obudde bw’oku makya n’akawungeezi mu paaka ya USAFI temusigala takisi.

Ssentebe wa baddereeva mu kibiina kya UTRADA, Mustafa Mayambala yagambye nti yeewuunya KCCA.

”Bategekera ekibuga naye tebalina kye bassa mu nkola. Bw’oba osengudde takisi ate lwaki oziremeza ku nguudo.

Basobola okulekawo ezimu naye kati ppaaka eringa eyafa. Poliisi terina ky’esobola kukola okugyako nga KCCA yeesazeewo,” Mayambala bwe yagambye.

Ate Ssentebe wa bannannyini takisi mu ggwanga Gad Mugisha yagambye nti entegeka za KCCA ne minisita, ku takisi mu kampala tezisobola kukola okuggyako nga bannannyini mulimu bayingiziddwa mu ntegeka ezo.

“KCCA ebintu ebikola yokka nga tetwebuuzaako ffe bannannyini mulimu. Tosobola kutegekera bannannyini mulimu nga bo tebakuwadde birowoozo byabwe.

Twagala buli kintu naffe batwebuuzeeko embeera bw’eneesobola okutereera” Mugisha bwe yagambye.

KCCA evuddeyo Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju, yategeezezza nti baagula ettaka eryo nga balina ebigendererwa bingi era babitwala mu nkola.

Ekizibu kya mmotoka ezikolera ku nguudo tugenda kukimalawo. “ Tutegeka kikwekweto ekyamaanyi ku mmotoka zonna ezikolera ku nguudo. Tubadde tukyali ku bakolera ku nguudo oluvannyuma tugenda kuddako takisi zonna ku nguudo.

Baddereeva bagumiikirize byonna tugenda kubitereeza” Kaujju bwe yagambye.

Yaluhhamizza nti kasasiro bamuyoola mu budde naye oyo alimu omutonotono aba avudde mu takisi.

Ate ekitongole ky’amazzi n’emidumu kye kivunaanyizibwa ku kazambi era baddereeva basaana bategeeze ekitongole ekyo.

Yagambye nti ppaaka bagenda kugizimba n’akatale bakakulaakulanye katuuke ku ddaala eryomulembe era tebaagalamu bannabyabufuzi abayinza okutabula ebikolebwa. Kyokka omu ku bannannyini maduuka, Moses Luutu yagambye nti yeewuuunya KCCA.

“Ekitongole kigamba nti tekirina ssente kyokka nga ziri mu ppaaka n’akatale mpitirivu. KCCA ssinga efuula ekifo kino ekikola, mmotoka ne ziyingira, abasuubuzi ne bakola n’abasaabaze ne balinnyira muno, esobola okukuhhanya obukadde obusoba mu 400 buli mwezi.

Ekifo kino kisobola bulungi okweyimirizaawo naye tebamanyi ndabirira yaakyo” Luutu bwe yagambye.

Gyebuvuddeko Beti Kamya yawandiikidde Dayirekita wa Kampala ebbaluwa ng’amutegeeza nti ayongere ku bungi bwa siteegi ebweru wa ppaaka era n’emmotoka ezimu ezibadde zitikkira ku nguudo naddala oludda lw’e Nateete ziyambibwe.

Kino abamu ku baddereeva baakirabye ng’ayongedde okunnyika emirimu gya ppaaka era ne basaba abavunaanyizibwa batuule ne Beti Kamya batunuulire embeera ya ppaaka bwerabika kati.

Takisi okutikka n’ejjula abasaabaze mu ppaaka ya USAFI, kigitwalira essaawa nnamba n’okusoba naddala mu ssaawa z’amalya g’ekyemisana.

Akatale ka Usafi bwe kafaanana.

 

Kino kifudde baddereeva abatakola ne basiiba nga beebase mu mmotoka zaabwe okulinda ennamba ate abamu ne bazifulumya.

Akatale kano, KCCA yakagula mu 2013 ku mugagga Omar Nasoolo Ssekamatte ku buwumbi bwa ssente 39.

Bangi baawakanya omuwendo guno kyokka Palamenti n’ebitongole bya Gavumenti ne bakkiriza KCCA okukasasula.

Omugagga baamusasulako obuwumbi 14 nga kati akyabanja obuwumbi 23 era gye buvuddeko yakuba KCCA mu mbuga ng’asaba bamusasule era entegeka zaggwa okumusasula.

Kyokka yeevuma okuguza Gavumenti ettaka lye kubanga baluddewo okumusasula ate nga buli kimu yakibakwasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekizimbe kye bazimbisa ebyuma.

Zimba ennyumba ng'okozesa e...

OKWETOOLOOLA ensi  yonna okugula ettaka n'okuzimba kufuuse kwa buseere. Ye bwe byegasseemu ekirwadde kya COVID...

Ssemugenyi mu nkoko ze ez’amagi z’alunda.

Okulunda enkoko kunnyambye ...

OBULUNZI bw'enkoko mulimu ogwetaagamu obuyiiya bw'oba waakugufunamu. George Ssemugenyi, 60, omutuuze e Mpangala-Buddo...

Kigongo.

Gwe nnafuna okuwona obuwuul...

BW'OSANGA omuvubuka ng'alemedde mu buwuulu tomunenya. Abakazi abamu tebaafuna kubuulirirwa era tebamanyi ngeri...

Amurit (ali mu bigere) mu mmisa gye yeetabyemu mu Eklezia ya Christ the King e Kabaale.

Amuriat alumbye Museveni ok...

PATRICK Oboi Amuriat, avuganya ku bwapulezidenti ku kaadi ya FDC alumbye Pulezidenti Museveni olw’okweggyako egimu...

Dr. Brian Ddumba.

Muto wa Paasita Bugembe ale...

Paasita Bugembe mukulu wa Dr. Ddumba. Ddumba aleese vidiyo y'oluyimba lwe Akalulu, akake akawadde Yesu Dr. Brian...