TOP

Omugagga Kirumira ayogedde ku bya Kasiwukira

Added 14th June 2017

OMUGAGGA Godfrey Kirumira agambye nti ensonga z’omu ku baana b’omugenzi Kasiwukira okukaayanira emmaali ya kitaawe baazituulamu ng’abakuza ne bazigonjoola era kimwewuunyisizza okuwulira nti ate omwana asitudde buto.

 Omugagga Kirumira

Omugagga Kirumira

“Ekituufu Herman Kalungi yafuna obutakkaanya ne kitaawe Ggayi gye buvuddeko emabega ng’amutiisatiisa wabula ffe ng’abakuza ne tuyingirawo ne tubimala era kati sisuubirawo mwana yenna kubaako ky’ayogera ku byabugagga bya kitaawe.

Ne bannyaabwe buli omu ali mu maka ge era ne Nabikolo yafuna ebibye ali mu maka ge amakulu e Muyenga okuva lwe yadda okuva mu kkomera era naye ali bulungi.

Naffe tetukyalina mulimu okuggyako nga waliwo omwana ayagadde okujja n’atwebuuzaako.

Nze nnali besitimaani wa Kasiwukira ng’awasa Nabikolo era nz’omu ku bakuza abaalondebwa okukuza abaana bano okuli Joseph Yiga owa Steel & Tube ne Ggayi era nnaliwo nga buli mwana agabirwa ebintu bye kubanga kitaabwe yafa amaze buli omu okumuwa ebibye, ffe twateeka kiraamo kye mu nkola.”

Kwe kwongerako nti;

“Wadde Kalungi muvubuka akuze asussa emyaka 18, nkimanyi nti bw’aba avuddeyo n’ayogera bino nti alina obutakkaanya ne kitaabwe Ggayi ku byobugagga bya kitaabwe kirabika akyali muto mu ndowooza,” Kirumira bwe yategeezezza.

Yagambye nti buli mwana wa Kasiwukira ebintu bye byakyusibwa dda ne bidda mu mannya ge era emmaali yaabwe eno ne bwe baba baana bato abasembayo, abawala baaweebwa ebyabwe era maama waabwe Namakula y’abirabirira.

“Buli mwana ali bulungi, abasinga bamaze n’okusoma okuggyako abawala ababiri abato, gattako omuvubuka wa Nabikolo asembaayo ali ku yunivasite.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...