TOP

KCCA efuumudde abakolera mu Kikuubo

Added 18th August 2017

ABATEMBEEYI abakolera mu luguudo lw’omu Kikuubo basattira oluvannyuma lwa KCCA okubawa wiiki emu nga bavuddewo.

 Town Clerk wa Kampala Central Theo Tibihika ngalagirangirira ebyasaliddwawo mu lukiiko lwa basuubuzi b'omu Kikuubo. EKIF: PONSIANO NSIMBI

Town Clerk wa Kampala Central Theo Tibihika ngalagirangirira ebyasaliddwawo mu lukiiko lwa basuubuzi b'omu Kikuubo. EKIF: PONSIANO NSIMBI

Town Clerk wa Kampala, Theo Tibihika mu lukiiko lwe yatuuzizza mu Kikuubo ku Lwokusatu nga lwetabiddwaamu abasuubuzi, poliisi, bannanyini bizimbe, RCC wa Kampala n’abatembeeyi, yagambye nti abatembeeyi tebasasula layisinsi kyokka ab’amaduuka bagamba nti bakola okubasinga ate nga baleeta n’akalippagano k’ebidduka.

Baagambye nti abasuubuzi baasabye abatembeeyi bave mu kukuubo kuba babalemesa okukola ng’ate balina okusasula omusolo.

Aba bodaboda nabo baabagaanyi okuddaamu okuyingira mu Kikuubo, n’emmotoka ezitambuza ebyamaguzi zijja kuweebwa essaawa mwe zirina okuyingirira okwewala akalippagano.

Ssentebe w’abasuubuzi b’omu Kikuubo, Hajji Mohammed Katimbo yagambye nti baagoba dda abatembeeyi mu Kikuubo naye KCCA ye yabalemezaamu kuba waliwo abakozi baayo ababasoloozaamu ssente ez’okukolera mu kifo kino.

Abatembeeyi abakolera mu Kikuubo abagenda okugobwa

Yagambye nti aba KCCA balina enkola ey’okusuubiza ne batassa mu nkola n’agamba nti baabasuubiza okulongoosa emyala egyazibikira kyokka ne batakikola.

Yanennyezza bannannyini bizimbe abasasuza abapangisa ssente za kaabuyonjo n’agamba nti kino kisibye obucaafu mu Kikuubo kuba abantu abamu bamansa obucaafu.

Samu Muyomba, omwogezi w’abasuubuzi mu Kikuubo yasabye KCCA okubawa amataala ga sola okubayambako ng’amasannyalaze gavuddeko n’okubateeramu kaabuyonjo ezitali zakalakkalira(Mobile toilets) okuyambako mu budde bw’ekiro ng’ebizimbe biggaddwa.

Muyomba yagambye nti ebizimbe bwe biggalwa abantu abamu bawalirizibwa okweyambira mu buveera ne bamansa kazambi ekiziyinza okuvaako eddwadde eziva ku bucaafu okulumba abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...