TOP

Akakebe ka ttiyaggaasi kasattizza abakolera mu paaka ya bbaasi e Kisenyi

Added 28th December 2017

AKAKEBE ka ttiyaggaasi abakuumi ke baazudde mu mugugu gw'omusaabaze kasattizza kasattizza paaka ya bbaasi mu Kisenyi emirimu ne gisannyalala.

 Poliisi ekola ku bbomu ng'ekozesa embwa ezaayazizza ebintu by'abawala oluvannyuma lw'omuserikale eyakwatiddwa n'akakebe ka ttiyaggaasi (mu katono) okudduka. EKIF: HANNINGTON NKALUBO

Poliisi ekola ku bbomu ng'ekozesa embwa ezaayazizza ebintu by'abawala oluvannyuma lw'omuserikale eyakwatiddwa n'akakebe ka ttiyaggaasi (mu katono) okudduka. EKIF: HANNINGTON NKALUBO

Wakati mu kukaggya mu mugugu buli muntu yabadde ku bunkenke nga balowooza nti ekiseera kyonna kagenda kwabika era abaserikale abakola mu kibinja kya bbomu baayitiddwa bukubirire okuzuula ekika kya bbomu ekwatiddwa.

Abaserikale abakola ku miryango gya paaka be baakakute n’omuvubuka eyagambye nti ye Fred Matsiko ng'ono yabadde akakukulidde mu kisawo.

Akulira ebyokwerinda bya paaka ya bbaasi mu Kisenyi, Paul Satade Muwhezi yategeezezza nti ku Lwomukaaga baayisizza ebiragiro ku buli alinnya bbaasi okwazibwa.

Yagambye nti wakati mu kwaza, omukyala eyabadde akola ogwokwaza abasaabaze ng'alina akuuma akakebera ye yawulidde ng'akuma kakaaba nnyo.

Yagambye nti omukyala yalemeddeko okukebera Matsiko omujaasi era wakati mu kwaza n'amuwaliriza okuggyayo byonna ebikaaba mu kisawo.

Yakebedde n'azuula akakebe ka ttiyaggaasi abakulira ebyokwerinda ke baayise bbomu.

Omuvubuka baamukute nga bagamba nti y'omu ku batujju abaabadde bategeka okutuusa obulabe ku bantu mu nnaku za Ssekukkulu.

Baamutwaliddewo butereevu ku poliisi etwala paaka ya bbaasi mu Kisenyi kyokka baabadde batambula ne yeemulula n'abaddukako.

Abatwaala ebyokwerinda baasazeewo okunyweza abawala basatu be yabadde atambula nabo era bonna ne batwalibwa ku poliisi y’e Kampalamukadde nga bwe bayigga Matsiko.

Muwhezi yagambye nti wadde kaabadde kakebe ka ttiyaggaasi era nti eyabadde akalina yabadde mujaasi bateekwa okumanya gye yabadde akatwaala era ensonga bo baazikwasizza poliisi.

Abawala baatwaliddwa ku poliisi y’eKampala mukadde nga  okunonyereza ku Matsiko bwe kugenda mu maaso ku kifo gyeyabadde atwaala akakebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...