
Ppaaka ya Namayiba Bus Terminal gye baasengulidde bbaasi ezibadde mu ppaaka ya Qualicel.
Kkampuni ezibadde zikolerawo ze zikyalagirira abasaabaze ababadde batamanyi paaka ya Namayiba Bus Terminal gy’esangibwa. Paaka eno esangibwa mabega w’akatale ka Kisekka okumpi ne Kampalamukadde.
Okusenguka kiddiridde Gavumenti okulagira kkampuni za bbaasi ttaano okusenguka amangu ddala ng’ekiseera kya Ssekukkulu kiweddeko.
Oluvannyuma lwa Qualicel okusenguka , paaka endala ttaano okuli eya Horizaon ku Namirembe Road, eya Posta ku Kampala Road, Volcano ne Simba nazo zaakusengulwa.
Okunoonyereza okwakolebwa KCCA ne minisitule y’ebyenguudo n’entambula byazuula nti paaka zino tezirina bisaanyizo ate ne paaka zennyini bannannyini zo baazissa mu bifo bikyamu.
Aggrey Wakabi atwala poliisi ya Qualicel yategeezezza ku Lwokuna nti wadde abasaabaze embeera eno baabadde tebagitegeddeeko, kkampuni za bbaaasi ziriko abantu be baaleseemu okubalagirira gye bazze.
John Mutenda, ssentebe w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) agamba nti enkyukakyuka mu ppaaka za bbaasi zikoleddwa lwa bulungi bw’abasaabaze n’abantu abalala okutwalira awamu.
Akulira paaka y’e Namayiba, Nelson Ssekandi yategeezezza nti paaka baagizimba ku mulembe era buli kimu ekiyamba abasaabaze ne bannannyini bbaasi baakiteekamu.
“Tulina poliisi, amataala ekiro kyonna, wooteeri y’abasaabaze, ebifo we balindira mmotoka ssaako kaabuyonjo n’amaduuka ag’omulembe,” bwe yagambye.
Ppaaka eno ebadde akoleramu bbaasi ezidda mu bitundu by’obuvanjuba nga kkampuni za bbaasi ezibaddemu mulimu eya Teso Coach, YY Coaches, Kampala Hopper, Gate Way , Yabot ne Kakise.