
Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko. Ku kkono ye meeya Sserunjogi Oweddembe, omubaka Munyagwa, Meeya Mulyanyama ,Meeya Serunjoji , meeya Nabbosa n'omubaka Ssebaggala.
Lukwago yabadde abayise eggulo bamuwe ebirowoozo ku ngeri KCCA n’ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo gye basobola okutereezaamu omulimu guno mu Kampala ng’abagukola batambulira ku mateeka.
Bammemba okuva mu biwayi ebyenjawulo bajjumbidde olukiiko olwagguddwaawo Lukwago yennyini.
Yasoose kubategeeza nti ebbaluwa ezibayita okubawandiisa zonna nfu. “Tewali tteeka mwe mugenda kulondera wadde okwewandiisiza.
Olukiiko lwange ffe abateekeddwa okubikola era luno lwe lumu ku nkiiko ze twagala mutuweeremu ebirowoozo amateeka tugatereeze mukolere bulungi mu kibuga,” Lukwago bwe yabagambye.
Yakkirizza ebirowoozo omwabadde nti baagala babategekere okulonda era nga kutandikira wansi ku siteegi kwe bakolera okutuuka ku bukulembeze obwa waggulu ku nkiiko za munisipaali ne disitulikiti.
Wakati mu kuteesa, aba bodaboda beeyawuddemu ebibinja okusinziira ku bibiina ebibagatta era aba CENTURY baasaanikidde olukiiko nga tebaagala kulaba wadde okuwuliriza ekiteeso ky’omuntu aludde ng’amanyiddwa nti wa bodaboda 2010 ebadde ekulemberwa Abdallah Kitatta eyaggulwako emisango.
Francis Nyarwaya yatabudde abatayagala kuwulira ku linnya Kitatta bwe yategeezezza nti bakoze ekibiina ekigatta aba bodaboda bonna mu nteekateeka y’okutereeza omulimu gwabwe.
Ono yatabudde aba CENTURY ne bategeeza nti tebasobola kuteesa na batemu nti era loodimeeya Lukwago yakoze nsobi okubayita ne batuula wamu.
Olukiiko lwayagadde okutabuka ng'aba bodaboda bavumagana n’okukwatagana amataayi kyokka abaserikale abaabadde bayitiddwa okukuuma emirembe ne bakkakkanya embeera.
Wakati mu kuteesa, abamu ku ba bodaboda baatwaliddemu ne loodimeeya Lukwago nti naye abamalira budde.
“Wano tewali kyetugenda kugyawo okuggyako nga loodimeeya okwataganye ne minisita Beti Kamya ne Dayirekita wa Kampala kubanga meeya abakulu bali buli kye balaba ng'akoze nga bo bakiyimiriza.
Omu ku ba bodaboda Jibril Matovu yakikubiddewo ddala n'ajjukiza Lukwago ku byaliwo bwe yalagira aba loole obutava we baali bakolera kyokka ne bikkakkana naye nga bamutwalidemu.
Kuno ne Charles Ndugwa kwe yasinzidde n'asaba Loodimeeya abayambe ateese ne Beti Kamya kubanga ebintu ye nga bwe yabadde alaba ebigenda mu maaso, baabadde boogeramu bwogezi nga tewali kigenda kukola kubanga waliwo abalala abatunula mu loodimeeya byaba asazeewo ne babiremesa.
Sadat Katabira (omukulembe w'ekibiina kya CENTURY) yagambye nti tebagenda kuddamu kwetaba mu lukiiko lwa Lukwago lwonna okuggyako ng'asoose kuyita minisita w’ebyokwerinda Henry Tumukunde, Beti Kamya ne Jennifer Musisi.
‘ Ffe aba CENTURY, baminisita be batuyambye era enkiiko zo tetugenda kuziddamu,” Katabira bwe yagambye.
Wabula aba bodaboda abalala okwabadde Fred Iga baalumbye aba CENTURY okutinkiza ne baminisita nti be babayamba.
Baategeezezza nti ekizing'amizza bodaboda kwesigama ku bakungu mu Gavumenti abatalina buyinza butereeza bodaboda okuggyako nga KCCA .