TOP

Poliisi ekutte 2 ababbira mu takisi ne babotola ebyama

Added 8th October 2018

Bano okukwatibwa kyaddiridde munnaabwe Aziz Ssekimuli eyakwatibwa poliisi gye buvuddeko ku musango gy’okubbira abayizi mu takisi okubalonkoomayo ng’agamba be bakama be era be bamutuma n’agamba nti asasulwa emitwalo 150,000 buli lw’abbye.

Kayiira ne Lukwago abaakwatiddwa lwa kubbira bantu mu takisi

Kayiira ne Lukwago abaakwatiddwa lwa kubbira bantu mu takisi

BYA NAKALIRI ROSEMARY

POLIISI ekutte abavubuka; Joseph Lukwago ne Wilber Kayiira ababadde beefudde mmo mu kubbira abasaabaze mu takisi.

Joseph Lukwago  (31) ne Wilber Kayiira (30) abatuuze b’e Katwe ku luguudo lw’e Ntebe baakwatiddwa poliisi y’e Makerere  - Kikono B.

Bano okukwatibwa kyaddiridde munnaabwe Aziz Ssekimuli eyakwatibwa poliisi gye buvuddeko ku musango gy’okubbira abayizi mu takisi okubalonkoomayo ng’agamba be bakama be era be bamutuma n’agamba nti asasulwa emitwalo 150,000 buli lw’abbye.

Lukwago ne Kayiira baategeezezza nti babadde basinga kukozesa kakodyo ka kutuga abasaabaze mu takisi ne babaggyako ssente n’ebintu byabwe ebirala nga bano basinga kukozesa luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa e Makerere.

Bombiriri Poliisi yabakwatidde Katwe nga beefudde bakondakita nga balina abasaabaze be batuuzizza mu takisi be bateekateeka kubanyaga ng’enkola yaabwe bw’eri.

Baayongeddeko nti takisi ze bakozesa okubba bazipangisa emitwalo 150,000 olunaku kyokka bannannyini takisi bazibawa tebamanyi nti bagenda kuzeeyambisa mu bubbi era bakubibwa ssimu okuva ku poliisi okubategeeza nga takisi zaabwe bwe zikwatiddwa mu bubbi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...