
Tonny Kakembo, omu ku basuubuzi b’engatto ng’annyonnyola ku nsonga z’abasuubuzi b’e Rwanda.
Ebibiina okuli; ‘William Street Shoe Traders Association’(WSSTA) ne G7 omwegattira abasuubuzi b’engatto be baalaajanye.
Abasuubuzi b’e Rwanda gavumenti yaabwe kigambibwa yabagaanye okuddamu okubasuubulako engatto mu maduuka g'omu Kampala ne Uganda.
Bano abaakulembeddwaamu Agnes Nyiransenga, ssentebe wa WSSTA balumiriza gavumenti y’e Rwanda okussa ku basuubuzi baayo obukwakkulizo obukakali n'emisolo egya waggulu n'ekigenderera ky’okubalemesa okusuubula engatto mu Uganda.
Okubabinika omusolo ogukubisaamu emirundi ebiri kw'ogwo gwe babadenga basasula emyezi etaano emabega kye bagamba nti kigenderedwamu kubalemesa kusuubula mu Uganda.
Ebataddeko ebiragiro ebibagaana okuddamu okusuubula engatto mu Uganda waakiri bagende e Kenya.
Tusaba Gavumenti yaffe eyingire mu nsonga z’abasuubuzi ababadde batugulako okuva e Rwanda kubanga okusinziira ku bye tuwulira biraga nga gavumenti yaabwe yavuddeyo butereevu n’ebagaana okuddamu okulinnya ekigere mu Uganda era n'ewa n'abamu ababadde bakyalemeddeko okuzisuubula wano kapito ow’okugenda obutereevu e China okutandika okuzeesuubulirayo,” Penina Batamuliza omu ku basuubuzi b'engatto ku Boost House ekimu ku bibadde bisinga okuguza Abanyarwanda engatto bwe yategeezezza.
Ono yawagiddwa Tonny Matovu akulira G7 wamu n'abasuuubuzi b’engatto abakolera kukizimbe kya Boost eyasabye minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero, Amelia Kyambadde okuyingira mu nsonga eno okusobola okuzzaawo enkolagana wakati wa Uganda ne Rwanda.
Abasuubuzi bagamba nti embeera eno ebakoseza nnyo kubanga abasinga baali basuubula ebika by'engatto ebyenjawulo ebitera okwettanirwa Abanyarwanda kyokka nga kati bakonkomadde nabyo mu maduuuka.
MINISITA AMELIA ABAWADDE AMAGEZI
Kyambadde yabawadde amagezi okuteeka okwemulugunya kwabwe mu bbaluwa bagimutwalire alabe engeri gy’ayinza okubayambamu okumalawo okusoomoozebwa kuno.