TOP

Abasuubuzi bakayidde abaserikale ba KCCA

Added 20th November 2018

ABASUUBUZI abokolera mu maduuka g’ebizimbe ebyenjawulo okwetoloola ekibuga wakati bakedde kuva mumbeera olwa kye bayise abaserikale ba KCCA okubatulugunyiza obwerere nga bakola emirimu gyabwe.

 Abamu ku basuubuzi b'omu Kampala nga beemulugunya.

Abamu ku basuubuzi b'omu Kampala nga beemulugunya.

Bya MOSES KIGONGO 

ABASUUBUZI abakolera mu maduuka g’ebizimbe ebyenjawulo okwetoloola ekibuga bakedde kuva mu mbeera olwa kye bayise abaserikale ba KCCA okubatulugunyiza obwerere nga bakola emirimu gyabwe. 

Bano abaabade abakambwe battotode ennaku n’okusoomozebwa kwe bayiseemu ku Mande akawungeezi oluvannyuma lw’ekibinja ky’abaserikale ba KCCA abagambibwa okukulemberwa Ibrahim Kalule (akulira ekibinja ekikwasisa amateeka mu kibuga wakati) okubalumba mu maduuka gaabwe ne babakuba jjeeke n’okubateeka ku mpingu mu ngeri ebaswaza olwo ne babakasuka ku kabangali okubatwala ku CPS. 

“Tukooye embeera y’abaserikale ba KCCA okututulungunya ng’ate tubasasula ssente za trade licence, singa tebaakomye muze guno tugenda kwerwanako nga tukozesa amakubo agenjawulo”,bwatyo .Meddie Kiruuta omu ku basuubuzi mu kikuubo bwe yategeezeza. 

Bano era baawandiikide, Jeniffer Musisi ekiwandiiko mwe baamuloopede abamu ku baserikale okuli amanyidwa nga Okaayi gwe balumiriza okukulembera omuze gw’okubatulugunya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...