TOP

Buubuno obuwaayiro obuli mu ndagaano ya KCCA ne Nabugabo

Added 21st December 2018

ENDAGAANO KCCA gye yakola ne kkampuni ya Nabugabo Joint Venture Ltd ebadde egulumbya abasuubuzi b’omu Kampala wakati omutwe yiino.

 Ssentebe w’aba suubuzi abeegattira mu kibiina kya KATA Katongole (ku kkono) n’abamu ku basuubuzi be ku kkooti y’ebyobusuubuzi e Nakasero. Amuddiridde (ku ddyo) ye looya waabwe Tomusange.

Ssentebe w’aba suubuzi abeegattira mu kibiina kya KATA Katongole (ku kkono) n’abamu ku basuubuzi be ku kkooti y’ebyobusuubuzi e Nakasero. Amuddiridde (ku ddyo) ye looya waabwe Tomusange.

Erimu obuwaayiro obwewuunyisizza abasuubuzi ababaddenga bakakibwa okusasula ssente za kasasiro ekibatuusizza n'okutwalibwa mu kkooti y'ebyobusuubuzi ebakake okuzisasula.

  • Kkampuni za kasasiro ziteekeddwa okuwa buli musuubuzi gwe ziyoolera kasasiro akaveera akasitula liita 100 ate nga kalina obugazi n'obuwanvu bwa 60 x 90 cm. Bateekeddwa okuba nga kasasiro bamunona ku dduuka oba mu mulyango gw'omusuubuzi abeera yakkaanya nabo mu nkola ya ‘door to door services'.
  • Mu bukwakkulizo obulala mulimu; Okugaana kkampuni za kasasiro okusasuza abasuubuzi ssente ezisuka 30,000 buli mwezi.
  • Kkopi y'endagaano eno eyafuniddwa olupapula lwa Bukedde gye buvuddeko, erimu akawaayiro akawa omusuubuzi omukisa okukkiriza oba okugaana okukolagana ne kkampuni yonna eyagala okumuyoolera kasasiro kasita abeera nga takkaanyizza na bukwakkulizo bwayo.
  • Omusuubuzi akkirizza okuzisasula bateekeddwa okumuyoolera kasasiro azitowa liita 100 emirundi esatu mu mwezi.
  • Ewa omusuubuzi atalina busobozi kusasula mitwalo esatu okusasula 3,000/- zokka omwezi ng'ayita mu nkola ya ‘Premium waste services' ey'okwetwalirayo kasasiro ku mmotoka ebeera ekimye kasasiro ku kizimbe waali.

Abasuubuzi abaakulembeddwa Godfrey Katongole ssentebbe w'ekibiina kya KATA omwegattira abasuubuzi baakeedi abattunka ne Nabugabo mu kkooti y'ebyobusuubuzi ku nsonga za kasasiro, beewuunyizza obuwaayiro obuli mu ndagaano kyokka ng'aba Nabugabo babaddenga babutuulira mu bugenderevu ne babaggyako ssente ezimenya amateeka.

Baweze okufaafaagana ne kkampuni eziri mu kiti kya Nabugabo mu mbuga z'amateeka nti bakooye okubbibwa.

Peter Kaujju atangaazizza KCCA kitongole kya Gavumenti ekikolera emirimu gyakyo mu mateeka era tusaba abasuubuzi bwe baba balina okwemulugunya ku nzirukanya y'emirimu gya kkampuni ya kasasiro yonna bakututuuseeko tusobole okuzirondoola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...