TOP

KCCA ekyusizza yunifoomu y'abaserikale baayo

Added 5th October 2019

EKITONGOLE KYA Kampala Capital City Authority (KCCA) kikyusizza yunifoomu y’abaserikale baakyo abakwasisa amateeka okuva ku nkadde ebaddewo ey’essaati ya kyenvu n’empale enzirugavu kati bambala bbulu.

Aba KCCA nga bambadde yunifoomu empya.

Aba KCCA nga bambadde yunifoomu empya.

Kino KCCA ekikola wakati mu kaweefube w'okwongera okubbulula ekifaananyi kyayo ekibadde kyonoonese nga bakibateekako nti abaserikale baayo abambala kyenvu basusse okutulugunya abantu n'okweyisa mu ngeri etesaana.

Omwogezi w'ekitongole kya KCCA, Peter Kaujju yagambye nti okukyusa yunfoomu y'abaserikale b'ekitongole kino kyaddiridde okuzuula nti gye babadde bayambala ebadde tekyatuukana na mutindo ne basalawo okufuna eri mu langi endala gye balina okwambala.

"KCCA yasazeewo okyusa yunifoomu y'abaserikale baayo kuba kyazuuliddwa nti yunifoomu gye babadde bakoleramu emirimu ebadde ekaddiye nga tekyatuukana n'ennono y'ekibuga kwe kusalawo tubawe langi endala mwe balina okukolera." Kaujju bwe yategeezezza.

Yagambye nti KCCA yalaga nti abaserikale baayo bagenda kuyusa yunifoomu gye bambala era nga mu butongole yunfoomu empya baatandise okugyambala nga October 2, 2019 nga tewakyali akkirizibwa kwambala yunifoomu ya kyenvu kuba yadibiziddwa.

Yategeezezza nti okwambala yufoomu empya y'omu ku kaweefube w'okubbulula n'okweyubula kw'ekitongole ekikwasiza amateeka n'okulaga nti enkola yaabwe ey'emirimu ekyuse okuva kw'eyo gye babadde bakolamu nga bali mu yunifoomu enkadde abantu gye babadde balaba nga ebatulugunya.

Yagaseeko nti KCCA yasazeewo okulonda ku emu ku langi zaayo etaano nga ekitongole ze kikozesa omuli emmyuufu, eya kiragala, enzirugavu, eyakyeevu ne bululu nga abanti tebalina kubeera ne ndoowaza endala yonna.

Eyali akulira ekitongole kya KCCA Jennifer Musisi Ssemakula bwe yali yaakayingira ekitongole kino kyakyusa yunifoomu y'abaserikale ba KCC mu kiseera ekyo abaali bambala essaati eza kyenvu n'empale eza kiragala n'asalawo abaserikale bambale essaati eza kyenvu n'empale enzirugavu nga kati ku mulembe gwa Kitaka yunifoomu yazzeemu okukyusibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...