
Erias Lukwago
Dayirekita wa Kampala, Andrew Kitaka yategeezezza nti olukiiko lwa Loodi meeya Lukwago lwe yasembye okukubiriza mu tteeka ekkadde lwabaddewo ku Lwokubiri era lwayisizza ebintu bingi.
Lwatudde ku City Hall ku kuwabulwa kwa minisita wa Kampala, Betty Amongi Ongom. Lwateesezza ku bintu eby'enjawulo omuli embalirira y'ekitongole ey'omwaka 2020 - 2021 ey'obuwumbi 323 nga tekuli mutemwa gwa buwumbi munaana ogwabaliriddwa okukola ku ofi isi ya sipiika n'abamyuka baabwe.
Ennongoosereza mu tteeka erifuga Kampala yalangiddwa ku Mmande wiiki eno. Ewa Lukwago obuyinza okulonda olukiiko lwe olufuzi lwa bantu bataano nga kuliko omumyuka we gwe yalonda edda, Hajjati Sarah Kanyike, akola ku by'enguudo, ebyensimbi
ssaako n'abakulembeze babiri bonna bagenda okuggya mu bakkansala. Kyokka obuyinza bw'okuyita n'okukubiriza enkiiko bwassiddwa mu ofi isi ya sipiika. Loodi meeya yayongeddwa obuyinza bw'okuteekateeka ebiba bigenda okuteesebwako mu lukiiko ebiyamba okukulaakulanya ekibuga.
Kitaka yategeezezza nti baatandika dda okukola ku nteekateeka y'okufunira basipiika ofi isi n'ebikozesebwa byonna. Bagenda kukola ku ntegeka y'okubalonda emirimu gisobole okutambula nga tewali kisannyaladde.
ABA MUNISIPAALI
Enkiiko zonna mu munisipaali ettaano ezikola Kampala tezikkirizibwa kuddamu kutuuzibwa mu nkola enkadde ebaddewo.
Ofiisi y'akola nga dayirekita wa Kampala, Andrew Mubiru Kitaka eteekwa kusooka kukola ku nteekateeka za kulonda basipiika bonna mu nkiiko zino.
Oluvannyuma basipiika bwe banaamala okulondebwa ng'enkiiko ziddamu okuyitibwa n'okutuuzibwa mu nkola empya.
Eggulo, minisita wa Kampala Betty Amongi ne Andrew Mubiru Kitaka baagenze mu kakiiko ka
palamenti akakola ku nsonga za pulezidenti ne banjula embalirira ya KCCA ey'omwaka 2020 - 2021 mwe baatadde ensimbi obuwumbi munaana ezigenda okukola ku kifo kya sipiika.
ENSIMBI
Mu mbalirira eyayanjuddwa mu palamenti, sipiika wa KCCA agenda kusasulwa omusaala gwa bukadde 13, ate omumyuka we asasulwe obukadde 11. Aba munisipaali bagenda kusasula obukadde mwenda.
Bonna bagenda kuweebwa ofi isi ezirimu buli kimu n'emmotoka z'okukoleramu emirimu.