TOP

Omubaka Kato Lubwama bamulongoosezza omulundi ogwokubiri

Added 1st July 2020

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi ogwokubiri olw’obulumi obwamaanyi bwe yabadde awulira kyokka we yaviiriddeyo ng'embeera ekkakkanye.

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa





Abasawo baamukozeeko era kati ayogera bulungi, atambula, atuula n'okunyumya n'abantu abagendayo okumulaba wadde nga ekimu ku byenda abasawo kyebaamugyamu nga bamulongoosa omulundi ogusooka ne bakisibira ebweru w,olubuto mu mbiriizi tebanaba kukizaamu era atambula akikwatiridde.

Kato basooka kumulongoosa bizimba bibiri mu lubuto ebyakwata ekyenda ekinene ne babigyayo. Baamuwa wiiki mukaaga nga bamugyanjaba okuwona kyokka abadde akyawulira obulumi era ku Lwokubiri lwebazeemu okumulongooza atereere era yakkakkanye naayogera n,ebyobufuzi nti abaagala entebe ye era ababadde bamubika bamwerinde.

Wabula abasawo bakyamwagala asigale mu kasenge akagyanjabirwamu abalwadde abayi (ICU ) ngasiddwa ku byuuma ebimuyamba okwongera omubiri amaanyi kyokka ye embeera y,akasenge ako emukaluubiriza  navaayo.

Eggulo yatuukiriddwa omusasi ono mu ddwaliro lya Medipal International Hospital erisangibwa ku Acacia Avenue e Kololo n'amunyonyola embeera gyalimu.

Kato yagambye nti yalabuka mangu n'agenda mu ddwaliro ng'ebizimba ebibiri mu lubuto tebinnaba kunafuya nnyo bitundu byamubiri ebirala.

Yagambye nti abasawo baamugaana okulya ku mmere e Nganda kati alya kika kyebayita Diaben nga bino babitabula mu mazzi ne bamuwa n,okunywa ssupu nga ow,ekyenyanja n'enva endiirwa.

Yagambye nti abasawo bakyekebejja kubanga ayinza okubeeramu ne kkansa kyokka kye bamukakasizza nti omutima gwe mulamu era gukwatagana bulungi n'ebitundu by'omubiri ebirala.

Yayogedde ku nsimbi zaakozesa olunaku nti bwabalirira akakadde kaggwaawo era yeebaza abalonzi, ababaka banne ,sipiika Rebecca Kadaga nti bamuyambye nnyo wadde era akyetaaga abamukwatirako bangi mu ssente n,essaala avuunuke ekizibu kyalimu.

Ku byobufuzi yagambye nti emitendera gyokumulongoosa gyawedde kati asuubira abasawo okumusiibula agyanjabibwe ng,ava waka. Kino kugenda kumuyamba okuddamu okuwangula akalulu ke nga tatawanye era abamwesimbyeemu okumuvuganya agenda kubagatta nga mirengo kubanga bakimanye nti akyaliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...