TOP

Abakolera mu Owino balaajanidde Gav't: "Emmaali yaffe eyonooneka"

Added 7th July 2020

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa emmali yaabwe omuli engoye ezayonooneddwa mukoka eyaleteddwa enkuba eyakedde okutonya ku Mmande ku makya.

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe






Bano abakulembedwa ssentebe w'akatale ka St. Balikuddembe Godfrey Kayongo  beemulugunyiza olwa kye baayise ebitongole bya gavumenti okuli; KCCA n'abeebyokwerinda okuleka abatembeeyi n'abasuubuzi abakolera ku nguudo z'omu Kampala wakati wamu n'ebizimbe ebyenjawulo okuli,Ham ne Kikuubo okugira nga bakola  emirimu gyabwe ng'ate bo tebakirizibwa wadde okuyingira mu katale okukebera ku mmaali yaabwe gye balumiriza nti etandika n'okwonooneka olw'omuggalo. 

"Tuli banyiivu olw'obusosoze gavumeni bwetandise okwoolesa mu kiseera kya COVID-19 kino bwe yakirizaako abatembeeyi n'abasuubuzi okukolera ku nguudo awatali kubatiisa kukwatibwa kirwadde kya COVID-19  mu kibuga wakati kyokka negaana ffe abakolera mu butale omuli' n'amateeka g'okwetangira ekirwadde kino agatuweebwa minisitule y'ebyobulamu",bwatyo Kayongo n'abamu ku bakyala abakulembeddwa Rose Nabunya ne Mary Nankyai bwe bategeezeza wakati mu busungu nga bali mu lukiiko lwa banamawulire. 

Abasuubuzi abalala okwabadde  Winnie Kabanda amanyiddwa nga "ssenga smart" balaze emivumba gy'engoye ze bategeezeza nti zayononeddwa mukoka eyaleteddwa enkuba eyakedde okutonnya ku Mande ku makya ne ganjalira  mu sitoowa zabwe ng'eno bwe bakukuluma olwa loosi gye bagambye nti ebalirirwamu obukadde bw'ensibi gavumenti gye yabakozeseza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...