TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi mu Kikuubo yeekyaye n'aleega ekiso owa KCCA

Omusuubuzi mu Kikuubo yeekyaye n'aleega ekiso owa KCCA

Added 8th July 2020

OMUSUUBUZI mu Kikuubo anyiize n'aleega ekiso afumite owa KCCA abadde alemedde ku mmaali ye kyokka ababaddewo ne babataasa ne bamukwata.





Faisal amanyiddwa nga Musiramu yasoose kwegayirira baserikale nti bamugumiikirize emaali gyeyapanga mu kifo ekyo nyingi. Yazze ku bbali ne yeegayirira abaserikale ne beerema. Kye baamugambye nti kale ye asale emiguwa agyegireyo  naye tebasobola kumukiriza kugirekayo waggulo.

Faisal atunda bya pulasitiika omuli obutebe , emeeza ne kalonda w'ebintu bya masanda. Yakute ekiso ekitemagana nasooka naasala emiguwa nga bwe biyiika. Yalabye ebimu bigenda kwonooneka naava mu mbeera. Yasoose kusala omuguwa gumu biveeyo bikube abaserikale kyokka ne beewogoma naabigenderako nga bwawera . Yakitunuzza mu mudduumizi w';abaserikale ba KCCA Kabiito kyokka naakyewoma.

Kabiito yamugwiiridde n'amukwaata ekiso musiraamu ne bakimugyako ne bamutwaala. Baabadde bamufulumya naalagyana ne bamuyimbula kyokka nga ebimu ku byamaguzi babitute ate ebirala ne bamulaalika okubikima.

Guno gwa kusatu nga KCCA ekola ekikwekweeto mu Kikuubo nga eyoola emaali y'abasuubuzi. KCCA yegasse ne poliisi ssaako ba mbega okutereeza mu kikuubo. Kino kiddiridde abasuubuzi mu madduuka okwemulu8gunya ku mujjuzo nti guvudde ku bakolera mu nguudo okweyiwa mu kitundu kyaabwe ne balemesa abakolera mu madduuka okutunda.

Omukulembeze w'abasuubuzi Musa Ssemwogerere yagambye nti KCCA baali bagisabye ekole ku bayiwa ebintu mu kkubo kyokka yo eyingira ku badduuka gabasuubuzi. Ate omu ku basuubuzi Gerald Lwanga agambye nti baagala KCCA eddemu yeetegereze.

Kyokka KCCA abaserikale ba KCCA bakulirwa Kituuma Rusoke baagambye nti abasuubuzi baabasaba era babadde bamenye ebiragiro bya pulezidenti bagenda kweyongera okubakwaata. Ebikwekweeto bikyagenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...