
Ku Lwomukaaga abasawo basiibye bamwekebejja oba yatandise okutereera . Obulumi bw'alina kati bw'amacupa agamussibwaako n'empiso ezikaza olukindo n'ebiwundu mu pnda mu lubuto ebyasalibwa ng'alongoosebwa.
Omu ku basawo Mariam Muganzi yategeezezza nti emirundi ebiri gye bamulongoosezza bamuzizzaawo bupya era kati alindiridde kusiibulwa addeyo mu by'obufuzi bye.
" Akyawulira obulumi naye bwa biwundu sibulwadde. Omubiri gukyalumizibwa lwa biwundu n'empiso naye obulwadde twabukozeeko ne tumutereeza. Kati mulamu ekyenda kyateredde okuggyako ayinza okwongera okwekebeza kansa ," Muganzi bwe yagambye.
Ku Lwomukaaga Kato yasangiddwa ne batabani be nga be bamuliko. Baabadde baliko akaseko ku matama nti kati ateredde.
Ku by'obufuzi asekeredde abamuvuganya be yagambye nti agenda kubagatta nga mirengo abawangule. Yatandiseewo ekisinde kyeyatuumye BUGANDA WEERI nti kigendererwa kutuukiriza bigendererwa bya Mmengo ku buli nsonga.
Yagambye nti tagenda kuvuganyiza mu kibiina kyonna okuggyako ekisinde ekyo kubanga abalonzi be bonna bakkiririza mu nsonga za Buganda era naye z'akkiririzaamu . Omusawo yagambye nti asuubira mu wiiki bbiri agenda kuba asiibuddwa.
Ku ssente ezimujjanjabye yagambye nti nnyingi ezisoba mu bukadde 150 kyokka ezimu zivudde mu ba mikwano gye n'abalonzi b'akiikirira abamwagala era akakasa nti buli kimu agenda kukisasula mu bulambulukufu.