TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Aba akeedi bawanjagidde Gavumenti: 'Ku Mmande mutuggulewo tukole, tuli bubi'

Aba akeedi bawanjagidde Gavumenti: 'Ku Mmande mutuggulewo tukole, tuli bubi'

Added 12th July 2020

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa oba zituukagana n'ebiragiro bya Gavumenti ku kutangira ssenyiga omukambwe.

Beemulugunya nti baminisita ne Gavumenti balina ebigendererwa birala kubanga kati bye balambula bakola ku buvunaanyizibwa bwa KCCA by'ezze erondoola ng'ekolako . Basabye Gavumenti eggule akeedi ku Mmande kubanga bali bubi era ku Lwokubiri bagenda kulangirira kyebazaako.

Ku Lwokuna , abakulembeze baatuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kya KACITA ne balaga obutali bumativu ku bikolebwa akakiiko kubanga ba minisita n'abakungu ba Gavumenti bangi tebabeerayo.

Ssabawandiisi wa KACITA Thadius Musoke Keno eyabadde n'omuteesiteesi Brian Yesigye, David Wangi ne Jjemba Mulondo yategeezezza nti ebintu Gavumenti byesaba ku bizimbe abasuubuzi basobola kubiteekawo nga akeedi n'amadduuka gagguddwa.

"Ogamba otya omuntu nti tekawo amazzi, obupima ebugumu n'okunaaza engalo ate nga omugaddewo.Buli kimu abasuubuzi bakikiriza okukiteekawo kyokka Gavumenti tebaddamu . Bagenda mu maaso n'okuggalawo ng'abasuubuzi tukaaba  lwaaki" Musoke bwe yagambye.

Yategeezezza nti abasuubuzi beetegefu okussaawo amabanga, okuteekawo akasenge akakebererwaamu omulwadde ssaako buli kiragiro kyokka wadde byonna babikiriza , Gavumenti ewoza nti baagenda kukola lipooti. Yagambye nti kiki kyebategeeza mu kukola lipooti nga akeedi teziggulwa.

Wangi yalabudde nti ba mmemba baabwe bakumye emirembe ebbanga erimala kati tebakyasobola kweyongerayo kusukka Mande wiiki eddako. "tusaba Gavumenti eggulewo ku mmande tusobole okulondoola akeedi ezitalina bisaanyizo naye kati tolina kyosobola kulaba nga nziggale" Wangi bwe yagambye.

Ate Jjemba Mulondo yalagyanye nti abasuubuzi ensimbi zibaweddeko zonna baziridde nti embeera gyebalimu mbi nnyo ate nti tebamanyi  Gavumenti kyerowooza ku ssente z'obupangisa wadde amabanja mu bbanka.

Aba KACITA bagamba nti bavudde ku byakakiiko kati basaba kimu Gavumenti kuggulawo era bakyagala obutasukka mande kubanga embeera gyebalimu mbi nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Mwebesa

Omuntu owa 5 afudde Corona

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu...

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...