TOP

Ziizino akeedi ezitatuusa bisaanyizo

Added 16th July 2020

Akeedi

Akeedi

Abagagga bano abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, baabasindikidde obubaka ku ssimu nga babagamba nti okubateeka ku lukalala lw'ebizimbe ebigenda okuggulwawo balina okusooka okusasula ssente eziri wakati wa 15,000,000/- ne 30,000,000/-.

Akakiiko akaateekebwawo okukola ku nsonga z'akeedi, ku Lwokubiri kaatudde mu kisenge ne bakkaanya okusooka okuggulawo akeedi 48 ne balaga n'endala 35 ezikyaliko akabuuza.

Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yagambye nti, balina ebintu bye baatunuulidde nga tebannasalawo akeedi ziteekeddwa kuggulwa ne bakizuula ng'ezimu zaabadde tezituukiriza bisaanyizo.

Ebisaanyizo ebirala yagambye nti: ebizimbe ebimu byabadde tebirina wasimba mmotoka, balandiroodi baabadde baakookera obuyumba mu nkuubo ne wansi w'amadaala nga ne ku madaala baateekako abapangisa.

Awalala enkuubo zaabadde nfunda nnyo n'enzikiza ng'ekutte ebizimbe. Kyokka abagagga bagamba nti, bino bya kwekwasa, ensonga eyavuddeko obutaggulawo bizimbe byabwe yabadde ku ssente.

Wabula, Thadeus Musoke omukiise wa KACITA ku kakiiko yagambye nti: "Omuntu yenna gwe baasabye ssente atuyambe aveeyo atuwe obukakafu omuntu oyo akwatibwe," Musoke bwe yagambye.

Akeedi ezaatuukirizza ebisaanyizo ezirindiridde okuggulwa kuliko; Mukwano Arcade, Modern Shoplex, Grand Corner plaza, Arua Park Annex, Arua Park Plaza, Magoba Shopping Arcade, Mega Plaza, Ssekaziga House, Teddy's Plaza, Prism, E-Tower, Kampala Plaza, Eagle Plaza, Royal Plaza, Hanifa Towers, Yamaha Center, Zai Plaza, Jjemba Plaza, Market Plaza, Kisekka Auto Cebter, Apple Plaza, Gaggawala ne Shamba Complex.

Endala kuliko, Shauriyako Original, Ddembe Arcade, Sky Shopping Arcade, Trusted Arcade, Byamugisha, KK Trust, Ham Shopping Ground, Zebra House, Galiraaya, Discovery Plaza, E-M Plaza, Light Arcade, Bulamu Bwebugagga, Nabugabo Business Center, Kabala Shopping Arcade, Avema Shopping Center, Ssembatya Arcade, Plot 15 A&B, Gadith House, Vinco Arcade, Kisa kya Maria, Nambuusi Arcade, Capital Center, Angels Arcade ne The Arcade.

Ezikyaliko akabuuza kuliko; Boost Complex, Superior Complex, Kati Kati Complex, Arro Complex, People's Plaza, Park Enkadde Mall, Annet Plaza, Silver Arcade, Nagatule Plaza, JBK Plaza, Temusewo, Park View Shopping Center, Maria's Galleria, Namaganda Plaza, Universal House, California Plaza, City Center Complex ne Gazaland.

Endala kuliko, Royal Complex, Katonga Business Center, Totala Business Center, Nakasule, Zibula Atudde, Victor, Nana, Qualicell Bus Terminal, French Plaza, Nasser Road Mall, Printer's House, Ddembelyo House, Moonlight Arcade, Sal House, Kalungi Plaza ne Haider Plaza.

Yagambye nti akeedi ezimu zaasangiddwa nga tezaawula mulyango guyingira na gufuluma, ate ezimu zaabadde tezirina mulyango bantu mwe bafulumira nga waguddewo ekizibu.

Ezimu tezaabadde na mazzi gakulukuta, agakozesebwa mu kaabuyonjo baasanze bagasena mu bipipa. Abaserikale nga bagoba

EBY'OKUGGULAWO akeedi mu
Kampala byongedde okuwanvuwa,
bannannyini bizimbe 35 ebitaatuukirizza
bisaanyizo kuggulawo bwe
bategeezezza nti baabasabye ssente
okubateeka ku lukalala kyokka
bwe bataaziwaddeyo ne balekebwa
ebbali.
Abagagga bano abataayagadde
kubaatuukiriza mannya baategeezezza
nti, baabasindikidde obubaka
ku ssimu nga babagamba nti okubateeka
ku lukalala lw'ebizimbe
ebigenda okuggulwawo balina okusooka
okusasula ssente eziri wakati
wa 15,000,000/- ne 30,000,000/-.
Akakiiko akaateekebwawo
okukola ku nsonga z'akeedi, ku
Lwokubiri kaatudde mu kisenge
􀁈􀁎􀁌􀁗􀁈􀁈􀁖􀁈􀁝􀁈􀁅􀁚􀁄􀁐􀁘􀀃􀁎􀁘􀀃􀁒􀁯􀁌􀁖􀁌􀀃􀁜􀁄􀀃
Katikkiro ne bakkaanya okusooka
okuggulawo akeedi 48 ne balaga
n'endala 35 ezikyaliko akabuuza.
Omwogezi wa KCCA, Daniel
Nuwe Abine yagambye nti, balina
ebintu bye baatunuulidde nga
tebannasalawo akeedi ziteekeddwa
kuggulwa ne bakizuula ng'ezimu
zaabadde tezituukiriza bisaanyizo.
Ebisaanyizo ebirala yagambye
nti: ebizimbe ebimu byabadde
tebirina wasimba mmotoka,
balandiroodi baabadde baakookera
obuyumba mu nkuubo ne wansi
w'amadaala nga ne ku madaala
baateekako abapangisa. Awalala
enkuubo zaabadde nfunda nnyo
n'enzikiza ng'ekutte ebizimbe.
Kyokka abagagga bagamba
nti, bino bya kwekwasa, ensonga
eyavuddeko obutaggulawo bizimbe
byabwe yabadde ku ssente.
Wabula, Thadeus Musoke
omukiise wa KACITA ku kakiiko
yagambye nti:
"Omuntu yenna gwe baasabye
ssente atuyambe aveeyo atuwe
obukakafu omuntu oyo akwatibwe,"
Musoke bwe yagambye.
Akeedi ezaatuukirizza ebisaanyizo
ezirindiridde okuggulwa
kuliko; Mukwano Arcade, Modern
Shoplex, Grand Corner plaza, Arua
Park Annex, Arua Park Plaza,
Magoba Shopping Arcade, Mega
Plaza, Ssekaziga House, Teddy's
Plaza, Prism, E-Tower, Kampala
Plaza, Eagle Plaza, Royal Plaza,
Hanifa Towers, Yamaha Center, Zai
Plaza, Jjemba Plaza, Market Plaza,
Kisekka Auto Cebter, Apple Plaza,
Gaggawala ne Shamba Complex.
Endala kuliko, Shauriyako Original,
Ddembe Arcade, Sky Shopping
Arcade, Trusted Arcade, Byamugisha,
KK Trust, Ham Shopping
Ground, Zebra House, Galiraaya,
Discovery Plaza, E-M Plaza, Light
Arcade, Bulamu Bwebugagga,
Nabugabo Business Center, Kabala
Shopping Arcade, Avema Shopping
Center, Ssembatya Arcade, Plot 15
A&B, Gadith House, Vinco Arcade,
Kisa kya Maria, Nambuusi Arcade,
Capital Center, Angels Arcade ne
The Arcade.
Ezikyaliko akabuuza kuliko;
Boost Complex, Superior Complex,
Kati Kati Complex, Arro Complex,
People's Plaza, Park Enkadde Mall,
Annet Plaza, Silver Arcade, Nagatule
Plaza, JBK Plaza, Temusewo,
Park View Shopping Center,
Maria's Galleria, Namaganda Plaza,
Universal House, California Plaza,
City Center Complex ne Gazaland.
Endala kuliko, Royal Complex,
Katonga Business Center, Totala
Business Center, Nakasule, Zibula
Atudde, Victor, Nana, Qualicell
Bus Terminal, French Plaza, Nasser
Road Mall, Printer's House, Ddembelyo
House, Moonlight Arcade,
Sal House, Kalungi Plaza ne Haider
Plaza.
Ziizino akeedi ezitatuusa bisaanyizo
Yagambye nti akeedi ezimu
zaasangiddwa nga tezaawula
mulyango guyingira na gufuluma,
ate ezimu zaabadde tezirina
mulyango bantu mwe bafulumira
nga waguddewo ekizibu. Ezimu
tezaabadde na mazzi gakulukuta,
agakozesebwa mu kaabuyonjo
baasanze bagasena mu bipipa.
Abaserikale nga bagoba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...