TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Aba NRM beerabidde ssenyiga omukambwe nga bayisa ebivvulu n'okukuba olukung'aana

Aba NRM beerabidde ssenyiga omukambwe nga bayisa ebivvulu n'okukuba olukung'aana

Added 19th July 2020

EBIRAGIRO bya Gavumenti ku kulwanyisa ssenyiga omukambwe aba NRM baabyerabidde ne bayisa ebivvulu n’okukuba olukungaana olunene mwebaasaliddewo ku bantu be baagala babakulembere mu bitundu byabwe.

Aba NRM nga bayisa ebivvulu

Aba NRM nga bayisa ebivvulu

Ebibinja by'abavuzi ba bboodabooda nga bakulembeddwa mmotoka eziriko emizindaalo nga gigenda giwaana minisita w'eggwanga atwala akanyigo k'e Luweero Denis Ggalabuzi baatambudde okwetoloola ggombolola y'e Masuliita.

Baabadde bakuba ennyimba eziwaana Pulezidenti Museveni ssaako minisita Ggalabuzi , ssentebe wa NRM atwala Masuliita, Ssaalongo Muwadda Namwanja ne ssentebe omulonde ow'eggombolola Francies Nsimbi Nsubuga ate nga bavumirira eyali omumyuka wa pulezidenti Gilbert Bukenya okuddamu okuvuganya.

Ebibinja byasimbudde mu Kabuga k'e Masuliita ne batambula nga bayisa ebivvulu olukungaana ne balukuba mu maka ga Muwadda Namwanja.

Baasoose kwagala kugoberera mateeka ne batuula nga beewadde amabanga kyokka nga tebambadde bukookoolo. Oluvannyuma baacamuse ebibinja by'abawagizi bwe byatuuse ne batandika okuzina n'okusanyuka eby'obutebe ne babiggyawo ng'ekifo kikwatiridde abantu.

Ssentebe wa NRM Muwadda Namwanja yagambye nti olaba baawona lutalo lwa mizinga n'amasasi ate nga obanyumiza ssenyiga omukambwe.

"Ffe tuteekwa okusalawo ku bakulembeze betwagala. Pulezidenti Museveni waggulo tayogerwaako, Minisita Ggalabuzi mu Palamenti tavuganyizibwa wano ate nga twagala n'enkung'aana zikubwe," Muwadda bwe yagambye.

Yategeezezza nti abakulembeze b'ekibiina waggulu balemeddwa okukola amateeka agalung'amya abakulembeze baabwe abajeemu. Yagambye nti ababaddeko mu bifo ebinene nga eky'omumyuka wa Pulezidenti w'eggwanga ate bwe baawummula baalibadde tebaddamu kudda mu byabufuzi kutabula bavubuka.

Yakubisizza akalulu abakulembeze n'abatuuze mu byalo ebyenjawulo nga bagamba nti bo bagenda kuwagira minisita. Wabula minisita Galabuzi teyabaddewo mu lukiiko gwe baabadde boogerako.

Baagambye nti bo baagala nkung'aana za bonna akalulu kanyooke basobole okulonda omuntu nga bamutegedde bulungi.

Beemulugunyizza nti Bobi Wine atambula mu bibinja nga buli poliisi bwe yeenyoola naye bamwongera buwagizi nti kyokka bo batudde batunula. "ebyokusirika tubivuddeko kati naffe akalulu ka Pulezidenti tutandise okukayigga," Muwadda bwe yagambye.

Ssentebe w'eggombolola omulonde Francies Nsimbi Nsubuga yagambye nti e Masuulita Pulezidenti Museveni agenda kuyoola buyoozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...