TOP

Ebizuuse ku mutembeyi eyafumise abakozi ba KCCA ebiso

Added 20th July 2020

JUMA Akankwasa bwe yafumise abakozi ba KCCA ebiso mu kifuba bangi beewuunyizza, naye banne baakola nabo ogw’obutembeeyi ku ppaaka enkadde tebeewuunyizza.

Lubega mu ddwaaliro. Ku ddyo, Akankwasa ng'atwalibwa ku City Hall.

Lubega mu ddwaaliro. Ku ddyo, Akankwasa ng'atwalibwa ku City Hall.

Bano be twasanze ku ppaaka enkadde emabbali w'ebibaati bye baagikubako, baategeezezza nti Akankwasa amaze ebbanga ng'alina ekiruyi ku bakozi ba KCCA. Ekiruyi kino kiva ku ky'abakozi ba KCCA okuyigganya abatembeeyi nga bayoola emmaali yaabwe buli we babasanga ne bagyonoona olwo bo ne bafiirwa.

Ku Lwokutaano mu ttuntu, yabaguse n'agwiira abakozi ba KCCA babiri n'abafumita ebiso mu bifuba ebyabalese nga bafuuwa musaayi. Abaserikale bano baabadde bagenze kutaawulula nkaayana mu baddereeva ba takisi ku siteegi ya Kampala - Masaka, abaabadde batabuse ne bannaabwe abakolera ku ya Kampala - Sembabule be baabadde bagaanye okutikka.

Abaserikale ba KCCA olwatuuse ku siteegi eno, Akankwasa amanyiddwa ennyo nga Musiraamu, n'aggyayo ekiso n'afumitako babiri; Lameck Mutebi eyabakuliddemu ne John Lubega, ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa. Bwe yatuusiddwa mu poliisi naye n'awaga nti: Abasajja abo baayagala dda okunzita naye ku luno nze mbeesoose!

EMBEERA ZE ZIBUZAABUZA

Abakola ne Akankwasa bagamba nti embeera ze zibuzaabuza. Bannyonnyodde nti oluusi yeeyisizza ddala ng'omutembeeyi owabulijjo kyokka ate bw'agira n'alabika ng'aliko emirimu emirala gy'akolera abanene nga mu gino mulimu n'okuwa amawulire ku banne b'akola nabo eri abakulu.

Mu 2018 mu ggulire Bukedde lye yafulumya, Akankwasa yatabuka n'abasuubuzi ku ppaaka enkadde ne bamukuba kumpi kwagala kumutta. Baamutuusiza Mulago nga balowooza afudde kyokka yatoloka ku kitanda n'abula! Oluvannyuma lwa wiiki nga talabikako e Mulago ne ku mulimu ssaako n'awaka, batembeeyi banne baatandika okwekalakaasa nga balumiriza poliisi okumukuba n'emutta n'ekweka omulambo.

Baakwata ssanduuke enkalu ne balumba ekitebe kya CPS mu Kampala. Ku CPS ne baabalagira ensonga zaabwe bazitwale ku kitebe kya KCCA, kyokka baba banaatera okutuukayo ne balaba bifaananyi nga Akankwasa eyali alowoozebwa nti yattibwa ng'ali ne minisita wa Kampala ebiseera ebyo, Beti Kamya bawayaamu!

Bonna byabaggwaako nga bamubuuza ogubadde ng'abaddamu nti baamukuba n'azirika, kyokka naye yeesanze bamututte wa minisita! Poliisi yamukwata agibuulire gy'abadde oluvannyuma lwa kkooti okulagira akulira poliisi ya CPS okumuzuula oba mulamu oba mufu.

KCCA KY'EGAMBA

Akola ng'omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwabine yagambye nti abaserikale ba KCCA bayitiddwa bukubirire okuyingira mu nkaayana z'abatakisi wabula baabadde baakatuuka Akankwasa naggyayo ekiso n'afumita Mutebi mu kifuba n'avaamu omusaayi olwo n'alumba Lubega naye n'amufumita ku kibegabega ne baddusibwa mu ddwaaliro lya Novirk Hospital okufuna obujjanjabi.

"Twekyebuuza omusajja atali mu nsonga za takisi gyavudde okufumita abaserikale baffe ababadde bali ku mulimu n'abaleetako ebisago eby'amaanyi,' Nuwabine bwe yeebuuzizza.

Yagambye nti Akankwasa azze atuusa ebisago n'okulwanagana n'abaserikale ba KCCA nga kirabika abadde yabeewereza dda okubakolako obulabe obw'amaanyi.

Akankwasa olwafumise abaserikale ba KCCA ne bava mu mbeera ne bamukwata jjeeke ne bamutwala ku City Hall mu bukambwe nga bagamba nti bamukooye okubatuusaako ebikolobero entakera ate olugira ne bamuta.

Yakwasiddwa poliisi ya City Hall ekola okunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...