TOP

Abakulembeze baloopedde Kisaka ebizibu by'omu Kisenyi

Added 9th August 2020

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy Kisaka ku kasasiro omungi mu zooni ezenjawulo.





Abakolera ku nguudo balaagyanye nti baagala babafunire ebifo n'okumusisinkana bamunyonyole embeera embi mwebakolera olwa baserikale ku nguudo abatwaala emmaali yaabwe .

Ba kansala ku ggombolola ya Kampala Central n'abakulembeze b'abasuubuzi baateese Kisaka ng'ava okutongoza okugaba Masiki ku Monisipaali ya Kampala Central ne bamubuulira.

Kansala Kayigo Kikulwe owa Mmengo Kisenyi yagambye nti basaba abawulirize nga ensonga za Kampala bazikolerako wamu. "tulina ekizibu kya Kasasiro mu byaalo byaffe atayoolebwa mu budde. Obukyaafu mu Kampala ssaako twagala tukolaganire wamu era tukwanirizza n'essanyu" Kayigo bwe yagambye.

Yalaze nti abakulembeze ku mitendera gyonna basaba akolagane nabo okukulaakulanya Kampala kubanga omuntu omu tasobola kukola ku kibuga yekka.

Ate atwaala abaolera ku mwaala gwa Nakivubo Ismail Mubiru yalaagyanidde Kisaka nti abaserikale be abakwasisa amateeka emaali yaabwe bagibamazeeko ate nga tebayambiddwa kubategekera.

Yasabye nti baagala bamusisinkane bamwanjulire ebizibu byebalina naye embeera ebasuseeko obubi. Wabula Kisaka yabakakkasizza nti agenda kubasisinkana bamunyonyole era yagambye nti agenda kukola enteekateeka abasisinkane bamubuulire.

Kisaka bweyali alayizibwa yategeezezza nti ayagala ekibuga ekirimu abantu abalina essanyu era abakyeyagaliramu nti agenda kukolagana ne bannakampala bonna okulaba nti bakolera wamu okukikulaakulanya.

Yagambye Kayigo nti byonna ebizibu bye bamugambye mwetegefu okubiwuliriza abitegeere  okusobola okubikolerako awamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...