
Kalumba n'abawagizi be
BYA JAMES MAGALA
EYALIKO Meeya w'e Nakawa Benjamin Kalumba akukkulumidde Pulezidenti Yoweri Museveni bw'awanguddwa mu kamyufu ka NRM ka konsityuwensi ya Nakawa West n'alangirira nga bw'agenda okwesimbawo ku bwannamunigina.
Kalumba okuva mu mbeera kiddiridde eyabadde akuliddemu okulondesa akamyufu mu Nakawa West, Sharifah Namwaase okulangira Margaret Nantongo Zziwa ku buwanguzi n'obululu 1991 n'addirirwa Omuyindi Mukesh Shukla n'obululu 1275 ate ye Benjamin Kalumba n'asemba n'obululu 1240.
Namwaase yalangiridde mu butongole nga Margret Nantongo Zziwa bw'akwasiddwa bbendera ya NRM mu Nakawa West.

Wakati mu butali bumativu Kalumba yawakanyizza ebyavudde mu mu Kalulu kano nga kino yakitadde ku nguzi n'obusosoze ebisusse mu kibiina kya NRM nga wano akukkulumidde Pulezidenti Museveni okumuwuddisanga ne yeerayirira obutadda mabega nti ye yasalawo dda agenda kwesimbawo mu kifo kino.
Yagambye nti mu 2016 yali ayagala okwesimbawo ku Kifo ky'omumyuka wa ssentebe wa NRM kyoka Pulezidenti Museveni n'amugaana ng'agamba akyali muto ekifo ekyo kya bakadde era n'amusuubiza omulimu kati emyaka 5 abadde ku katebe, Museveni yamulimba .
Yagambye nti waakiri bandiyimirizza Nantonogo obutesimba ku kifo kino kubanga ye yakolerera konsityuwensi eno okutandikibwawo bwatyo tayinza kuvaamu bwatyo ng'abadde atuuse ku kye yali alwanirira.

Yagambye nti yalabira ddala nga Nantongo agulirira abalonzi yagulira abantu obubizzi era abadde agabira abantu ssente mu mabaasa era yagambye nti yawaaba ku nsonga eno era bw'eba NRM emugoba mu kibiina emugobe Museveni esigaze abakadde be kubanga ye abadde n'empisa naye alabye tezimuyambye..
Wabula ye Omuyindi Mukesh Shukla eyakutte eky'okubiri yasambazze ebigambo ebibabadde biyiting'ana nga bw'ateelonze era nga yalaze n'akatambi bwe yabadde ali ku layini mu kukuba akalulu.
Nantongo yawakanyizza ebya Kalumba n'agamba nti abadde munafu kati yeekwata ku bisuubi .
