
NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera ng'akola emirimu gye mu Kampala n'emiriraano.
Bino byabaddewo ku Lwamukaaga bwe yabadde alambula pulojekiti za gavumenti ezenjawulo mu kibuga wakati n'embeera abamu ku Bannakibuga mwe bakolera.
Yatandikidde Lubigi (awali ofiisi z'ekitongole ky'amazzi ezikola ku kulongoosa kazambi) gye yaweeredde abazikoleramu ebimu ku bikozesebwa mu kwetangira ekirwadde kya COVID-19.
Oluvanyuma yeeyongedeyo e Nakawa gye yeetabidde mu mulimu gw'okuyoola kasasiro n'okuyonja ekifo kino ng'ali wamu n'abasuubuzi (abakolera mu katale) wamu n'abakulembeze b'omukitundu kino okubadde Meeya wa Nakawa Ronald Balimwezo, bakansala ne ssentebe w'akatale kano Charles Okuni.
Yayimye ku leediyo y'akatale kano (ak' e Nakawa) n'ayanjulira Banakampala enteekateeka okuli ,okunyweza enkolagana n'abantu abenjawulo abalina akakwate ku kibuga, okutandika okukubaganya ebirowoozo ku ngeri entuufu (KCCA )gy'erina okutambuzaamu emirimu ne Bannakibuga wamu n'okuteesanga nga waliwo obutakwatagana ku nteekateeka z'ekitongole (kyakulembera) ezenjawulo mu kibuga wakati.











