
Ahaji Nasser Sebaggala ng’awerekerwa abapoliisi ekkakkanya obujagalalo bwe yali ava ku kisaawe e Ntebe mu 2003.
Seya:Bwe yeesimbawo ku bwa mmeeya wa Kampala mu 1997, yatandikaokulya emmere mu butale naddala mu Owino ng'agamba nti abantu bonna basseya be okuva olwo erinnya lya ‘Seya' ne limukalako.
Akaveera:Bwe yaddamu okwesimbawo ku bwammeeya mu 2006, Sebaggala yajja n'ehhombo y'akaveera, nti bw'anaawangula buli muntu ayingira Kampala ajja kuddayo n'akaveera olw'eggulo ng'annyuse .
Hajji Alagidde:Bwe yadda mu 2000 ng'amazeeko ekibonerezo kye mu Amerika, Sebaggala yayagala okwesimbawo ku bwapulezidenti kyokka ebiwandiiko bye ne kizuulwa nga tebiwera n'ateesimbawo.Yakuhhaanya abawagizi be e Bugoloobi n'abalagira bawe Besigye akalulu. Ekibinja ky'abawagizi be kyava e Bugolobi ku bigere ne bayingira ekibuga nga bayimba nti ‘Hajji alagidde tuwe Besigye akalulu'. Awo enjogera ya Hajji Alagidde n'etandika.
Youth Brigade:Ekibinja Sebaggala kye yassaawo okukuuma akalulu mu 1997 lwe yavuganya Wasswa Biiggwa ne Christopher Iga
Ebicupuli:Ekigambo kino kyatandika okukozesa nga Sebaggala bamukwatidde mu Amerika ku bigambibwa nti ‘yasiimuula' Traveler's Cheque n'awandika ddoola n'afuna ssente mu Bazungu.
Seruganda:Buli muntu yenna mukulu oba muto, Ssebaggala abadde amwaniriza n'ekigambo 'Sseruganda'