
Kazimba asinzidde mu kusaba kwa leero ku Ssande mu maka ge n'ategeeza nti Uganda ebadde n'abakulembeze ab'enjawulo wabula nga bonna bavaako wakati mu kuyiwa omusaayi ate nga bonna bafiiridde ku buwang'anguse kye yasabye kireme kuddamu kubaawo.

"Nsaba Katonda naffe Uganda tubeereko n'omukulembeze awummudde mu mirembe ate afuuke eyeebuuzibwako eri abazzeewo kuba abasinga ababadde bafuga eggwanga nga bavaako wakati mu kuyiwa omusaayi ogw'amaanyi," Kazimba bw'ategeezezza.

Mu bubaka bwe bweyesigamizaako emyaka 58 bukya Uganda efuna bwetwaze, Kazimba era asabye ebikolwa eby'ettemu ssaako n'enjawukana mu by'obufuzi naddala ezirabikidde mu kulonda abakwatira ebibiina bbendera bikomezebwe abantu basobole okubeera mu mirembe ng'eng'ombo n'oluyimba lw'eggwanga Uganda bwe biri.