TOP

Pulaani za Bannakampala 2,000 ziri mu KCCA zikutte enfuufu

Added 16th December 2020

PULAANI za Bannakampala ezisoba mu 2,000 zeetuumye mu kitongole ekiziyisa ekireeseewo akasattiro abamu ne batiisa n’okutandika okuzimba nga tebalinze bya KCCA kubakakkasa.

Ekifo awaali Pioneer Mall ekikubaganya abakulu mu KCCA empawa nti pulaani yayita dda ate abalala nti tennaba.

Ekifo awaali Pioneer Mall ekikubaganya abakulu mu KCCA empawa nti pulaani yayita dda ate abalala nti tennaba.

Waliwo ebiwandiiko ebyassiddwa ku mikutu egy'enjawulo nga biraga nti abamu baateekayo pulaani zaabwe mu KCCA kati emyezi gisobye mu ena kyokka bye babannyonnyola tebimatiza kubanga ensonga y'etteeka lye baali beekwasa lyayisibwa dda.

Omu ku bagagga (amannya gasirikiddwa) yagambye nti kati okuzimba mu Kampala osooka kusimba kaggo ‘n'ova gy'oli'. Yagambye nti alinayo pulaani kati ewezezza emyezi ena kyokka tebagiyisa.

"Tukozesa ssente nnyingi ku mutendera gwa pulaani. Ebiseera ebiyita aba KCCA tebabilowoozaako ate nga tukozesa ssente nneewole nga tubaze nti mu wiiki bbiri pulaani eba ewedde naye kyennyamiza okugenda mu myezi etaano nga tofunye pulaani.

Ssente zaffe zifa aba KCCA tebafaayo", bwe yagambye. Abamu baakitadde ku bakungu abassibwa mu ofiisi be bagambye nti okwetegereza pulaani ezibatwalira obudde ate oluusi ne bakikola nga bagenderedde.

Yagambye nti bagenda kwekubira nduulu ewa Pulezidenti ne minisita ku buvuyo obuli mu kitongole ekiyisa pulaani kubanga tebalina abayamba.

ENKOLA EGOBERERWA

Bajuliza nti waliwo enkola eyali ereeteddwa nga pulaani bagiyisa mu wiiki emu oba bbiri ate ng'abamu bagisindika bakozesa yintaneeti naye byonna byasannyalala lwa nkyukakyuka mu bakulu.

Enkyukakyuka mu KCCCA okutandikira ku dayirekita wa KCCA Jennifer Musisi Ssemakula, Andrew Kitaka eyamuddira mu bigere, Moses Atwine ne Katongole eyali amuddidde mu bigere bonna baagenda kati ebifo birimu bapya.

ALAZE AWALI OBUZIBU

Omu ku batuula ku lukiiko olusembayo oluyisa pulaani zino kkansala Moses Kataabu yategeezezza nti, ekizibu kibadde kukyusa mu tteeka okuva ku kkadde okudda ku ppya.

Yagambye nti byonna byaggwa kati balina olukiiko olujjudde era okuva mu September batuula era bayisa pulaani z'abantu lwa kuba kati emitendera pulaani mw'eyita miwanvu. Yagambye nti baakayisa pulaani ezisoba mu 300 mu myezi esatu.

Yagambye nti ekizibu kibadde ku tteeka era kati pulaani z'abantu ezibadde ennyingi bagenda bazikendeeza bannannyizo batandike okuzimba. Yagambye nti olw'okuba emitendera pulaani z abantu mwe ziyita gyeyongerako y'ensonga nti zikeerewa ate endala ne baziyimiriza okusobola okwongera okuzeekenneenya.

Yagambye nti ezimu ku ze batannaba kuyisa era ze bakyekenneenya kuliko; eziriko emyaliiro emingi okutandikira ku15 okudda waggulu.

"Awabadde Pioneer Mall mu poloti 1/3 ku luguudo lwa Burton ne poloti 2 ku Johnston pulaani twagitunulamu nga nnannyini yo ayagala kuzimbawo emyaliiro 19 kyokka eyo tukyagiyimirizza lwa kugyekenneenya", Moses Kataabu bwe yagambye.

Kyokka ensonda mu KCCA zaategeezezza nti, pulaani y'ekifo ekyo yayisibwa dda era bannannyini yo baatandika n'okusenda. Wabula Kataabu yategeezezza nti, okwekenneenya kati kungi kubanga ebizimbe byali biyitiridde okugwa.

KCCA KY'EGAMBA

Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwa Abine yagambye nti olukiiko olwali lwetaagisa okutuula mu tteeka eppya lwajjula era pulaani z'abantu ziyisibwa bulungi. Emitendera gyonna mituufu era pulaani z'abantu nnyingi ziyisiddwa era tuzibawa.

Yagambye nti abeemulugunya bagende mu KCCA babannyonnyole ekizibu ku pulaani zaabwe kwe kiva. Kyokka abamu baakitadde ku bamu ku bakulu mu kitongole abatalina bumanyirivu n'ebesaanyizo mu kitongole ekiyisa pulaani.

EBISAANYIZO Okukulira ekitongole ekitegekera ekibuga omuntu ateekwa okuba ne diguli bbiri naye ng'etteeka liragira nti oteekwa okuba ne diguli esooka mu kutegekera ebibuga (Urban Planing).

Abalala waakiri diguli emu ate nga bayise mu kakiiko akakulira abakozi mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...