Nkonge asaba bba afuulibwe omuzira

SARAH Nkonge asabye Museveni nti n’abantu abakoleredde ennyo ebyenjigiriza nga bba omugenzi Francis Xavier Muwonge bafuulibwe abazira.

Bya JOSEPH MUTEBI

OMUWABUZI wa Pulezidenti ow’ekyama ku nsonga z’e byettaka, Sarah Nkonge asabye Pulezidenti Museveni nti n’abantu abakoleredde ennyo ebyenjigiriza nga bba omugenzi Francis Xavier Muwonge bafuulibwe abazira.

“Mu biseera bba wange Muwonge we yasalirawo okutandika okubangula Bannayuganda mu by’enjigiriza mu gy’e 80 ke kamu ku bubonero nti yali alumirirwa nnyo eggwanga lye Uganda era w’afiiridde ng’aweza amasomero agasukka mu ana (4)era y’e nsonga lwaki asaanidde okufuulibwa omuzira” bw’atyo bwe yategeezezza.

Bino Nkonge yabyogeredde ku mukolo kwe baasabidde omwoyo gw’omugenzi Muwonge eyafa mu May wa 2008 ekitambiro kya mmisa ekyabadde ku ssomero lye erya Kampala SS ku Lwomukaaga ekyakulembeddwa Fr. I. Kiboowa, Bwanamukulu w’ekigo ky’e Mbikko.

Omugenzi ne mukyala we Sarah Nkonge be baatandikawo amasomero okuli: Kampala SS, Jinja Modern SS, St. Francis High School Buloba, Mbiriizi SS n’amalala.

Nkonge asaba bba afuulibwe omuzira