Ssente z'abavubuka zitabudde ab'e Makindye

Ab'e Makindye beegugunze ne bagaana abakozi b’ekitongole kya KCCA okuyingira mu ofiisi lwa ssente z'abavubuka

Bya HENRY SSENNYONDO

SSENTE obuwumbi 16 ezassibwawo Gavumenti okuyamba abavubuka okwekulaakulanya bawone obwavu, e Makindye zibatabudde bwe beekalakaasizza ne bagaana abakozi b’ekitongole kya KCCA okuyingira mu ofiisi okubadde ne Meeya Dr. Ian Clarke ‘Busuulwa’.

Ku Lwokubiri baakedde kuteeka agayinja aganene ku geeti eyingira ofiisi za KCCA ezisangibwa ku Madirisa ng’oyambuka e Makindye okutangira abakozi okuyingirayo munda.

Obukubo obutono obuyingirayo, baasibyeyo emiguwa nga bwe bakutte ebipande ebiraga obutali bumativu n’okulangira abakungu ba KCCA nga bwe bali abalyake, abannanfuusi n’okwagala okwekkusa bokka ng’ate emyaka gyabwe gibawuubira akatambaala.

Meeya wa Makindye bwe yayingiridde, yasanze geeti ya ofiisi za KCCA esaliddwako ekibinja ky’abavubuka ne bimusobera. Yayagadde okuyingiza emmotoka ye ku kifuba kyokka abavubuka ne balemerawo okutuusa lwe yavuddemu n’abannyonnyola ne bakkakkana n’alyoka agiyisaawo.

Akulira abavubuka mu Makindye, Jamira Navuga yategeezezza nti ebibiina ebyayisiddwamu okugabana ku ssente zino, bya banganda z’abantu bano ate ebimu tebiri mu Makindye.

DPC wa poliisi y’e Katwe, (SP) Richard Ecega n’omubaka wa Gavumenti mu Makindye (RCC), Hussein Kyeyune Lukyamuzi be basooseewo okukkakkanya abavubuka bano abaabadde beesomye nga bagamba nti “okufa n’okuwona bateekwa okufuna ssente zaabwe”.

Lukyamuzi yategeezezza nti ensonga z’abavubuka bano azikolako n’abantu abavunaanyizibwa ku kusunsula ebibiina ebirina okuzifuna. Lukyamuzi yasuubizza okusisinkana Muky. Joan Ssonko avunaanyizibwa ku kugabira ebibiina bino ssente n’abakulu abalala bagonjoole ensonga eno. Wabula Joan Ssonko mu kiseera abavubuka we beekalakaasirizza, mu ofiisi teyabaddemu.

Ssente z’abavubuka zitabudde ab’e Makindye