Eyeefumbiza nga muto alemedde ku poliisi eyakutte muganzi we

OMUWALA ow’emyaka 15 yeesuddemu akambaayaaya n’alemera ku Poliisi y’e Mityana ng’agamba nti ayagala asibwe ne muganzi we, eyakwatiddwa olw’okuganza omuwala atanneetuuka.

Bya Luke Kagiri

OMUWALA ow’emyaka 15 yeesuddemu akambaayaaya n’alemera ku Poliisi y’e Mityana ng’agamba nti ayagala asibwe ne muganzi we, eyakwatiddwa olw’okuganza omuwala atanneetuuka.

Wabula poliisi yakigaanyi n’egezaako okumuzzaayo mu bakadde be kyokka ne yeerema.

Kiddiridde poliisi okukwata Hassan Wasajja nga kigambibwa nti yabadde awasizza omuwala atanneetuuka.

Wasajja yasangiddwa ku kyalo Ttamu ekiri mu Ggombolola y’e Busimbi mu Disitulikiti y’e Mityana gye yabadde apepeyeza n’omuwala ono.

Wasajja yategeezezza nti bwe yatuula S4 e Mukono, yasalawo awase kubanga munne babadde baasiimagana.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Phillip Mukasa yagambye nti Wasajja alina okuvunaanibwa omusango gw’okusobya ku muwala atanneetuuka.

Yagasseeko nti bagenda kufuna abantu abasobola okubuulirira omuwala ono nti kuba bino abikozesa buto.

Eyeefumbiza nga muto alemedde ku poliisi eyakutte muganzi we