Amerika etaddewo obuwumbi 13 ku mutwe gwa Kony

AMERIKA etaddewo ekirabo kya bukadde bwa ddoola butaano (eza Uganda obuwumbi 13) eri omuntu anaagiwa amawulire agabatuusa ku kukwata kyewaggula Joseph Kony.

 

 

 

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

AMERIKA etaddewo ekirabo kya bukadde bwa ddoola butaano (eza Uganda obuwumbi 13) eri omuntu anaagiwa amawulire agabatuusa ku kukwata kyewaggula Joseph Kony.


Amerika yagenze okulangirira ekirabo kino nga Uganda yaakayimiriza ebikwekweto by’okuyigga Kony mu ggwanga lya Central African Republic, aba UPDF nga bayambibwako bakkomando ba Amerika, gye babadde.


Kony, akulira ekibiina ky’abayeekera ekya Lord’s Resistence Army, yeetaagibwa mu kkooti y’ensi yonna ewozesa ab’ebikolobero (ICC. Asuubirwa okubeera mu Central African Republic, eyawambiddwa abayeekera, oba ku miriraano ne basajja be.


Amerika yategeezezza nti ekirabo kino eky’obukadde 5 kikola ne ku basajja ba Kony ab’oku lusegere okuli Okot Odhiambo ne Dominic Ongwen, nabo abaliko ‘bakuntumye’ za kkooti y’ensi yonna (ICC).


Minisita w’ensonga z’ebweru mu Amerika, John Kerry yategeezezza nti Kony kirabika si mwangu kuyigga kubanga ekibiina kye kyetemyemu obubinja obutono bungi, ekikifudde ekizibu okuzuulira ddala Kony w’ali.


Amerika etaddewo obuwumbi 13 ku mutwe gwa Kony