Muggya wa Bad Black alaze bbebi gwe yazaalidde Omuzungu

MUGGYA wa Bad Black alaze bbebi gwe yazaalidde Omuzungu n’akuddaalira Black nti owuwe Muzungu ddala.



Bya MARTIN  NDIJJO NE MOSES NSUBUGA

MUGGYA wa Bad Black alaze bbebi gwe yazaalidde Omuzungu n’akuddaalira Black nti owuwe Muzungu ddala.

Janet Apuyo eyasangiddwa e Nyanama ku Lwomukaaga ku kisaawe kya Bakery bwe yabadde awerekeddeko bba (David Greenhalgh) ku mukolo kwe yayanjulidde enteekateeka z’okuyamba okutwala mu maaso ttiimu y’omupiira gw’ebigere eya Kigezi Good Samaritan FC (KGS FC) gye yaakegattako ng’omu ku badayirekita era omuyima waayo nga bano be bagenda okuttunka ne Rutoma FC ku fayinolo mu bugwanjuba okusalawo agenda okwesoga Big league.

Yabawadde ebintu eby’okukozesa ebibarirwamu obukadde 5.

Janet omwana ono yamuzadde ku nkomerero ya mwaka guwedde kyokka abadde amukwese. Bombibajjidde mu mmotoka y’ekika kya Ipsum era bwe baatuuse, Greenhalgh yavuddemu okwegatta ku bantu abaabadde bamulindiridde mu kisaawe ate ye Apuyo yasigadde mu mmotoka.

Kyokka oluvannyuma lw’akabanga Janet yavuddeyo ayoote ku musana ne bebbi we gwe yabadde asitulidde mu kasawo k’abaana mu maaso.

Janet eyabadde n’omusajja obwedda amukwatiridde minvuuli okutangira akasana okutuuka obutereevu ku mwana, yalabise nga musanyufu ng’aliko n’akanyiriro okwawukanako ne bwe yali afaanana omwaka oguwedde bwe yalabikako ku kkooti e Kololo gye bawaanyisiganyiza ebisongovu ne Black mu kiseera ekyo eyali awoza omusango gw’okubba ssente z’Omuzungu era bano beerangira n’okukaayanira omusajja.

Janet yalangira Black okuba akakazi akenzi kyokka ne Black oluvannyuma yazza omuliro n’agamba nti abakazi abamu balabye kubanga baagala abasajja nga tebalina ke babafunyeemu sso ye avulumula mmotoka ez’ebbeeyi ze yafuna ku Greenhalgh.

Black ng’amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa ye yasooka okuzaala mu mwezi gwokutaano kyokka nga muddugavu kagongolo n’agumya bannamawulire nti balindeko ajja kweruka kubanga nti wa Greenhalgh kyokka ate oluvannyuma n’aga-mba nti omwana ono wa musambi wa Cranes, Eugene Sseppuya.

Kyokka Sseppuuya eby’okuba kitaawe w’omwana wa Black yabyegaana n’agamba nti ye tasobola kuwugira mu kidiba. 

Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okuzaalira Omuzungu bbebi Janet yamutaddeko obukwakkulizo ng’akamu ku bwo bwe butaddayo kumuwulira ng’ayogera ku Black oba okuba n’enkolagana naye ey’engeri yonna.

Black mu kiseera kino ali bweru wa ggwanga oluvannyuma lw’okweyimirirwa ng’agamba nti agenda kujjanjabwa mabeere kyokka n’atakomawo.

KKOOTI ERAGIDDE OMUZUNGU KU BY’OBUGAGGA BWA MEDDIE SSENTONGO NE BLACK

Ku Lwokutano, David Greenhalgh yazzeemu okulabikako mu kkooti y’ebyobusuubuzi omulamuzi n’amulagira okuleeta obukakafu obulaga ng’ebintu by’ayagala okuwamba bya Ssentongo ne Black so si bya bantu balala.

Wabula Omuzungu ono yasoose kulya matereke ne balooya ba Ssentongo bwe babadde bamusooya ebibuuzo ku bikwatagana n’ebyobugagga bya Ssentongo by’ayagala okuwamba.

Balooya nga bakulembeddwaamu James Muhumuza baabuuzizza Greenhalgh oba nga yali akolaganyeko ne Ssentongo mu bizinensi yonna wadde okumuwa ssente zayogerako nti mwe yagula eby’obugagga n’ezimu okuziteeka ku akawunta mu bbanka, Greenhalgh yabazzeemu nti takolaganangako na Ssentongo, yamumanyira ku Bad Black eyamuwaayo nti gwe yapookeranga omusimbi gwa kkampuni eya Davishan omuzungu gye yali akoze ne Black.

Muggya wa Bad Black alaze bbebi gwe yazaalidde Omuzungu