Amerika eyungudde bakomando 150 ne beesogga South Sudan

EKIRI e South Sudan, abantu bakwata bannaabwe bwe batali ba kabira emu babatta bussi, ne Bannayuganda batandise okubayigga ng’amagye ga bakyewaggula gabalanga Uganda kweyingiza mu lutalo olutagikwatako.



Bya BASASI BAFFE

EKIRI e South Sudan, abantu bakwata bannaabwe bwe batali ba kabira emu babatta bussi, ne Bannayuganda batandise okubayigga ng’amagye ga bakyewaggula gabalanga Uganda kweyingiza mu lutalo olutagikwatako.

Omuwendo gw’abantu abaakafiira mu lutalo luno oluyingidde ennaku 18 kati gusukka mu 1,400 ng’abantu abalala kumpi 6,500 batuusiddwaako ebisango ate abalala 81,000 bawaliriziddwa okudduka mu maka gaabwe.

Okulwana kati kusaasaanye mu masaza ataano (5) ku 10 ag’omu South Sudan nga Bakyewaggula abawagira abadde omumyuka wa pulezidenti, Dr. Riek Machar baagala okuwamba gavumenti ya Gen. Salva Kiir.

Pulezidenti Kiir avudde mu mbeera
Okumanya ng’okutting’ana okw’amawanga kugenze wala mu lutalo, Pulezidenti Kiir yavuddeyo eggulo n’alabula nti omuntu yenna anaakwatibwako kajja kumujjuutuka.Gen. Kiir yagambye nti tajja kukkiriza kutting’ana kw’amawanga era amaze okulagira abajaasi ba SPLA okukwata omuntu yenna akwenyigiddemu.

Kiir w’akangulidde ku ddoboozi ng’okutting’ana kw’amawanga wakati w’aba Dinka n’aba Nuer kwongedde okusaasaanira eggwanga nga kati ne Bannayuganda nabo bayiggibwa ab’eggwanga ly’aba Nuer ababalumiriza okubeera ku ludda lw’aba Dinka.

Abantu 450 ab’eggwanga lya Nuer be bagambibwa okuba nga battiddwa e Juba, Abadinka nga bawolera eggwanga oluvannyuma lw’amagye ga bakyewaggula abaduumirwa Gen. Peter Gatdet okutemula Abadinka 75 e Bor mu ssaza ly’e Jonglei. E Bentui mu ssaza lya Unity State nayo okuwolera eggwanga kukyagenda mu maaso.

Bazudde entaana gaggadde
Ekibiina ky’amawanga amagatte ekirwanirira eddembe ly’obuntu kyategeezezza nti waliwo entaana gaggadde eyaziikiddwaamu abantu 75 gye baazudde mu kibuga Bentui mu Unity State, bakyewaggula lye baawambye ku gavumenti wiiki ewedde.

Akulira ekibiina kino, Navi Pillay yategeezezza ng’asinziira e Berlin mu Girimaani nti baafunye lipoota okuva e South South nti waliwo entaana gaggadde eyaziikiddwamu emirambo 75 gye baasanze e Bentui nti basabye ekibiina ky’amawanga amagatte okwongera okunoonyereza wadde bo baagambye nti tebannagiraba.

Bawambye essaza eryokusatu

Bakyewaggula ba Dr. Machar baakoze olulumba ssinziggu mu ssaza lya Upper Nile ku Ssekukkulu ne bawamba ekibuga ekikulu Malakal.Upper Nile ly’essaza eryokubiri mu kuvaamu amafuta amangi mu South Sudan nga liddirira Unity State, lye baawambye wiiki ewedde.

Bakyewaggula bagambye nti kati amasaza asatu; Jonglei, Unity ne Upper Nile gali mu mikono gyabwe era bamaze okulonderayo obukulembeze obw’ekiseera.

Wabula Gavana wa Upper Nile, Simon Kun Pouch yategeezezza eggulo ku Lwokuna nti amagye ga SPLA gasindiikiriza abayeekera ne babagoba mu kibuga Malakal n’agamba nti ettundutundu lya Upper Nile likyali mu mikono gya gavumenti.

Gavana Puoch teyayogedde we yasinzidde kwogera kyokka ensonda zaategeezezza nti yabadde adduse mu Malakal nga yeekukumye Paloch, ku nsalo y’essaza.

Ateny Wek Ateny, omwogezi wa Pulezidenti Kiir, yagambye nti okulwana kukyali kwa maanyi mu Upper Nile n’akikkaatiriza nti essaza likyali mu mikono gya gavumenti.

Gen. kiir yeddizza ekibuga bor
Amagye ga gavumenti gaazinduukirizza bakyewaggula ba Dr. Machar mu ssaza ly’e Jonglei ne gabawambako ekibuga Bor ku Ssekukulu.

Ekibuga Bor kibadde mu mikono gya bakyewaggula okuva ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde lwe baakiwamba nga baakadduka okuva mu kibuga Juba olutalo gye lwatandikira.

Bakyewaggula nga baduumirwa eyali omuduumizi w’ekibinja ekyokuna mu magye ga SPLA, Gen. Peter Gadet baawambye ekibuga kino oluvannyuma lw’okuwamba enkambi y’amagye ne babba emmundu ennene n’entono.

Omwogezi w’amagye ga gavumenti, Col. Phillip Aguer yategeezezza nti ekibuga Bork kye kyabadde ekirabo kya Ssekukkulu.

Bannayuganda bongedde okufa
MINISITA wa Uganda ow’ensonga ez’ebweru, Sam Kuteesa ategeezezza nti gavumenti eri mu kunoonyereza ku bigambibwa nti Bannayuganda nga 20 battiddwa e Bor mu South Sudan ng’amagye ga Gavumenti gasiguukulula bakyewaggula.

Ng’ayogera ne Bukedde eggulo, Kuteesa yagambye nti amawulire ageesisiwaza ago, gaabadde tegannakakasibwa nti kyokka kye yabadde amanyi nti mu kanyoolagano kano abantu baafudde bangi nti era eriyo Bannayuganda 2,000 be basindikidde bbaasi, zibaggyeyo zibazze e Juba okutandika n’enkya ya leero.

Pulezidenti Kiir (ku ddyo), Katikkiro wa Ethiopia, Desalegn (wakati) ne pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta (ku kkono) e Juba gye bagenze okuteesa ku kumalawo olutalo.

Omuwendo gwa Bannayuganda abaakafiira mu lutalo e South Sudan gweyongedde oluvannyuma lw’ebigamibwa nti amagye ga bakyewaggula gatandise okuyigga Bannayuganda nga gabattira obwereere.

Omu ku Bannayuganda, Herbert Nnyanja nga ddereeva wa tuleera akolera ekibiina ky’amawanga amagatte, yategeezezza nti Bannayugana 20 be baakattibwa e Bor mu ssaza ly’e Jonglei nga battibwa amagye ga Dr. Machar.

Yagambye nti okuva ku Ssande, abajaasi ba Machar bakola ebikwekweto mu bifo omuli abantu ababundabunda nga banoonyaamu Bannayuganda era gwe bakwatako batta mutte okwesasuza olwa Uganda okusindika ennyonyi ne ziwandagaza bbomu e Jonglei, mu kaweefube w’okununulayo Bannayuganda.

Bannayuganda 7,977 bakomyewo
Omukungu ku nsalo y’e Elego - Nimule, Patrick Okema yagambye nti Bannayuganda 7,977 be baakasala ensalo okuva e South Sudan gye babadde bakolera bizinensi ne mu bitongole by’obwannakyewa.

Bannayuganda abasinga badduse Juba wabula bangi abakyali munda mu South Sudan olutalo gye lwabakwatidde nga tebannafuna we bayita olw’okulwana okukyayinda. Kiteeberezebwa nti Bannayuganda nga 2,500 bakyawagamidde mu bitundu omuli okulwana naddala e Bentui ne Bor nga tebalina we bayita kudduka lutalo.

Abasudan 2,000 baddukidde Uganda
Omuwendo gw’abantu ababundabunda olw’olutalo gulinnye nga kati bali 81,000 abadduse mu maka gaabwe mu masaza ag’enjawulo emmundu gy’ekyatokota obuteddiza.

Ku bantu 81,000 ababundabunda, abamu baddukidde mu mawanga ag’omuliraano ne South Sudan okuli Kenya, Uganda, Ethiopia, DR Congo ne Sudan.

Omukutu gw’amawulire ogwa Sudan Tribune gwategeezezza nti Abasudan 1,845 basaze ensalo ya Uganda ne South Sudan e Elego, Nimule ne beesogga Uganda.

Omukungu ku nsalo y’e Elego - Nimule, Patrick Okema yategeezezza Sudan Tribune nti ng’oggyeeko Abasudani 1,845, ab’amawanga amalala abaasaze ensalo kuliko; Bannakenya 4,811, Abayindi 360, enzaalwa za Eritrea 406 n’ab’e Ethiopia 225.

Okema yagambye nti abantu bonna awamu abaakasala ensalo y’e Elegu-Nimule okwesogga Uganda bali 16,002 nga bali mu mbeera ey’obwetaavu era abasinga bassiddwa mu nkambi.


Omusajja ng’akwataganye n’ebibye adduka olutalo e Bor.

Kenyatta n’owa Ethiopia bali Juba
Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta ne Katikkiro wa Ethiopia, Hailemariam Desalegn baagenze kipayoppayo mu South Sudan ku Lwokuna okuteeseganya ne Pulezidenti Salva Kiir mu kaweefu ow’okukomya olutalo.

Kenyatta ne Desalegn baatuuse ku kisaawe e Juba ku ssaawa nga bbiri ez’oku nkya eggulo ne bagenda butereevu mu maka g’obwapulezidenti gye beevumbye akafubo ak’ekyama ne Pulezidenti Kiir n’abamu ku baminisita be.

Kenyatta ne Desalegn okugenda ku South Sudan baasabiddwa omukago gwa African Union (AU) okutuula ne Kiir bamumatize akkirize okusirisa mu kulwana wabeewo okuteesa n’abamulwanyisa ku lw’okubulungi bwa South Sudan.

Ekitongole ky’amawulire ekya AFP kyategeezezza nti abakulembeze bombi baabadde bateekateeka n’okusisinkana Dr. Machar naye bamumatize okussa wansi emmundu ateeseganye ne Kiir maaso ku maaso.

Minisita wa Kenya ow’ensonga z’ebweru, Mohammad Amina, eyawerekeddeko Pulezidenti Kenyatta yategeezezza nti Kenya nneeteefuteefu okutuuza enjuyi ezirwana e Nairobi, zikkaanye.

Ne Minisita wa Ethiopia ow’ensonga ez’ebweru, Tedros Adhanom naye yagambye nti Ethiopia nayo nneetegefu okutuuza enteeseganya ez’okuzza emirembe mu South Sudan.

Ensonda mu Juba zaategeezezza nti Pulezidenti Kenyatta ne Katikkiro Desalegn baasabye Pulezidenti Kiir okulowooza ku ky’okuyimbula abantu bonna abaakwatiddwa olw’ebigambibwa nti babadde baagala okuwamba gavumenti.

Kyokka Gen. Kiir yagambye nti ekyo tayinza kukikola kubanga omusango gwe bazzizza gwa nnagomolola nti okubayimbula balina kusooka kwogera bannaabwe bonna bwe baabadde mu lukwe.

Machar akkirizza okuteesa
Dr. Machar, yategeezezza leediyo ya Bufalansa eya RFI nti mwetegefu okuteesa era nti yamaze n’okulonda abali mu ttiimu ye abaneetaba mu nteseeganya.

Wabula yataddewo akakwakkulizo nti, Gen. Kiir ateekwa okusooka okuyimbula bannabyabufuzi n’abawagizi be abakwatiddwa ne baggalirwa olw’ebyobufuzi.

Aba UN bongedde abakuumaddembe
Abajaasi 6,000 b’ongeddwa ku ggye ly’ekibiina kya United Nations Mission in South Sudan (UNMISS) ne bawera 12,500.

Akakiiko ka UN ak’ebyokwerinda kaayisizza ekiteeso ku Lwokubiri okwongerayo abajaasi oluvannyuma lw’okulwana okwongera okusaasaana mu masaza amalala mukaaga.

Ku bajaasi bano, UN yayunguliddeko n’abapoliisi 1323 nga bakolera wansi w’egye lya UNMISS.

Bakkomando ba Amerika nga baakatuuka mu South Sudan.

Obama ayungudde bakomando
Pulezidenti wa Amerika, Barack Obama ayungudde Bakomando 150 abaasindikiddwa mu South Sudan nga baasookedde Djibouti, okubeera obulindaala okwesogga eddwaaniro.

Obama yagambye nti abajaasi bano baakuyambako mu ngeri yonna eneebeera yeetaagisizza naddala mu kukuuma obulamu bwa bannansi ba Amerika abaliyo.

Ku Mmande, Obama yalabudde nti Amerika tejja kulonzalonza kwesogga ddwaaniro singa embeera eneetaagisa nga kino kyaddiridde amagye ga bakyewaggula okukuba amasasi ku nnyonyi za Amerika ezaabadde zisindikiddwa okununula bannansi ba Amerika.

Bannansi ba Amerika 400 be baakaggyibwa e South Sudan gye babadde bakolera emirimu egy’enjawulo naddala mu makampuni g’amafuta.

Amerika eyungudde bakomando 150 ne beesogga South Sudan