Minisita Alupo alabudde abakulu b'amasomero g'e Nakasongola 'abafere'

Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Jessica Alupo alabudde kkampuni eziri ku gw’okuzimba ebizimbe ku masomero ga gavumenti nti bwe zitaamalirize mirimu gyazo mu budde zaakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.



Bya FRANCIS SSENJOBE
Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Jessica Alupo alabudde kkampuni eziri ku gw’okuzimba ebizimbe ku masomero ga gavumenti nti bwe zitaamalirize mirimu gyazo mu budde zaakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.

Alupo okukambuwala bwati, yabadde ku ssomero lya Namikka P/S mu ggombolola y’e Lwabiyata mu disitulikiti y’e Nakasongola ku kabaga akaategekeddwa minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga era omubaka w’e Budyebo, Muruuli Mukasa nga yeebaza abalonzi olw’okumuyiira obululu ng’omubaka wabwe mu palamenti.

Alupo yasoose kulambula ssomero lya Lwabiyata Seed Secondary School gye yasanze
nga kkampuni ezimba ekizimbe ekinaasomesezebwangamu amasomo ga ssaayansi
tennakimaliriza era n’assa omukulembeze w’essomero lino Gideon Koire ku nninga
annyonnyole obuzibu we buli.

Alupo yennyamidde kuba ekizimbe kyalina kumalirizibwa mu June w’omwaka oguwedde, kyokka kati abayizi bafiirizibwa olw’abakizimba okukola akasoobo.

“Kyennyamiza okulaba ng’ekizimbe kino tekinnaggwa ate ng’amasomero
amalala ebyago byaggwa dda wadde byatandika okuzimbibwa mu kiseera kye kimu.

Ensangi zino Gavumenti essira eritadde nnyo ku masomo ga ssaayansi era tetugenda kutunula butunuzi ng’abantu bataataaganya entekateeka za gavumenti,” minisita
bwe yalabudde.

Yategeezezza nga bwe waliwo kkampuni endala 31 mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu ezimaze okuyimirizibwa ku mirimu era ne zikubwa mu mbuga z’amateeka wamu
n’abakulembeze b’amasomero abeekobaana nazo okulemesa enteekateeka za Gavumenti.

Kigambibwa nti abakulembeze b’amasomero bangi beekobaana ne kkampuni zino ne bagaana okumaliriza emirimu ate ne bapeeka Gavumenti ensimbi mu ngeri ey’ekikuluppya.

Yasuubizza nga Gavumenti bw’egenda okuzimba ekifo awasomesebwa kompyuta ku ssomero lino nga kirimu kompyuta 40 ssaako okuzimba ekisulo ky’abaana abawala.

Minisita Mukasa yategeezezza nga Gavumenti bw’erina enteekaeeka z’okuzimba ettendekero ly’ebyemikono eddala e Migyera, okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu Nakasongola.

Yawaddeyo ssente ezisoba mu kakadde ziyambeko mu kuzimba ekkanisa okuli eya Namikka C.U ne Kirenge Church of God.

Minisita Alupo alabudde abakulu b’amasomero g’e Nakasongola ‘abafere’